2 Samuel 7 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, MUKAMA n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola. 2 N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.” 3 Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga MUKAMA ali wamu naawe.” 4 Ekiro ekyo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Nasani nti, 5 “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu? 6 Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema. 7 Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’  8 “Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 9 Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi. 10 Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, 11 okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.“ ‘ “MUKAMA akugamba nti MUKAMA Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo. 12 Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ” 17 Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe. 18 Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga MUKAMA, n’ayogera nti,“Nze ani, Ayi MUKAMA Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? 19 Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi MUKAMA Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi MUKAMA Katonda? 20 “Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi MUKAMA Katonda omanyi omuddu wo. 21 Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo. 22 “Ng’oli mukulu, Ayi MUKAMA Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe. 23 Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri? 24 Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi MUKAMA wafuuka Katonda waabwe. 25 “Kaakano, Ayi MUKAMA Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza, 26 erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘MUKAMA ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go. 27 “Ayi MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli. 28 Ayi MUKAMA Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi. 29 Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi MUKAMA Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”

In Other Versions

2 Samuel 7 in the ANGEFD

2 Samuel 7 in the ANTPNG2D

2 Samuel 7 in the AS21

2 Samuel 7 in the BAGH

2 Samuel 7 in the BBPNG

2 Samuel 7 in the BBT1E

2 Samuel 7 in the BDS

2 Samuel 7 in the BEV

2 Samuel 7 in the BHAD

2 Samuel 7 in the BIB

2 Samuel 7 in the BLPT

2 Samuel 7 in the BNT

2 Samuel 7 in the BNTABOOT

2 Samuel 7 in the BNTLV

2 Samuel 7 in the BOATCB

2 Samuel 7 in the BOATCB2

2 Samuel 7 in the BOBCV

2 Samuel 7 in the BOCNT

2 Samuel 7 in the BOECS

2 Samuel 7 in the BOGWICC

2 Samuel 7 in the BOHCB

2 Samuel 7 in the BOHCV

2 Samuel 7 in the BOHLNT

2 Samuel 7 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 7 in the BOICB

2 Samuel 7 in the BOILNTAP

2 Samuel 7 in the BOITCV

2 Samuel 7 in the BOKCV

2 Samuel 7 in the BOKCV2

2 Samuel 7 in the BOKHWOG

2 Samuel 7 in the BOKSSV

2 Samuel 7 in the BOLCB2

2 Samuel 7 in the BOMCV

2 Samuel 7 in the BONAV

2 Samuel 7 in the BONCB

2 Samuel 7 in the BONLT

2 Samuel 7 in the BONUT2

2 Samuel 7 in the BOPLNT

2 Samuel 7 in the BOSCB

2 Samuel 7 in the BOSNC

2 Samuel 7 in the BOTLNT

2 Samuel 7 in the BOVCB

2 Samuel 7 in the BOYCB

2 Samuel 7 in the BPBB

2 Samuel 7 in the BPH

2 Samuel 7 in the BSB

2 Samuel 7 in the CCB

2 Samuel 7 in the CUV

2 Samuel 7 in the CUVS

2 Samuel 7 in the DBT

2 Samuel 7 in the DGDNT

2 Samuel 7 in the DHNT

2 Samuel 7 in the DNT

2 Samuel 7 in the ELBE

2 Samuel 7 in the EMTV

2 Samuel 7 in the ESV

2 Samuel 7 in the FBV

2 Samuel 7 in the FEB

2 Samuel 7 in the GGMNT

2 Samuel 7 in the GNT

2 Samuel 7 in the HARY

2 Samuel 7 in the HNT

2 Samuel 7 in the IRVA

2 Samuel 7 in the IRVB

2 Samuel 7 in the IRVG

2 Samuel 7 in the IRVH

2 Samuel 7 in the IRVK

2 Samuel 7 in the IRVM

2 Samuel 7 in the IRVM2

2 Samuel 7 in the IRVO

2 Samuel 7 in the IRVP

2 Samuel 7 in the IRVT

2 Samuel 7 in the IRVT2

2 Samuel 7 in the IRVU

2 Samuel 7 in the ISVN

2 Samuel 7 in the JSNT

2 Samuel 7 in the KAPI

2 Samuel 7 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 7 in the KBV

2 Samuel 7 in the KJV

2 Samuel 7 in the KNFD

2 Samuel 7 in the LBA

2 Samuel 7 in the LBLA

2 Samuel 7 in the LNT

2 Samuel 7 in the LSV

2 Samuel 7 in the MAAL

2 Samuel 7 in the MBV

2 Samuel 7 in the MBV2

2 Samuel 7 in the MHNT

2 Samuel 7 in the MKNFD

2 Samuel 7 in the MNG

2 Samuel 7 in the MNT

2 Samuel 7 in the MNT2

2 Samuel 7 in the MRS1T

2 Samuel 7 in the NAA

2 Samuel 7 in the NASB

2 Samuel 7 in the NBLA

2 Samuel 7 in the NBS

2 Samuel 7 in the NBVTP

2 Samuel 7 in the NET2

2 Samuel 7 in the NIV11

2 Samuel 7 in the NNT

2 Samuel 7 in the NNT2

2 Samuel 7 in the NNT3

2 Samuel 7 in the PDDPT

2 Samuel 7 in the PFNT

2 Samuel 7 in the RMNT

2 Samuel 7 in the SBIAS

2 Samuel 7 in the SBIBS

2 Samuel 7 in the SBIBS2

2 Samuel 7 in the SBICS

2 Samuel 7 in the SBIDS

2 Samuel 7 in the SBIGS

2 Samuel 7 in the SBIHS

2 Samuel 7 in the SBIIS

2 Samuel 7 in the SBIIS2

2 Samuel 7 in the SBIIS3

2 Samuel 7 in the SBIKS

2 Samuel 7 in the SBIKS2

2 Samuel 7 in the SBIMS

2 Samuel 7 in the SBIOS

2 Samuel 7 in the SBIPS

2 Samuel 7 in the SBISS

2 Samuel 7 in the SBITS

2 Samuel 7 in the SBITS2

2 Samuel 7 in the SBITS3

2 Samuel 7 in the SBITS4

2 Samuel 7 in the SBIUS

2 Samuel 7 in the SBIVS

2 Samuel 7 in the SBT

2 Samuel 7 in the SBT1E

2 Samuel 7 in the SCHL

2 Samuel 7 in the SNT

2 Samuel 7 in the SUSU

2 Samuel 7 in the SUSU2

2 Samuel 7 in the SYNO

2 Samuel 7 in the TBIAOTANT

2 Samuel 7 in the TBT1E

2 Samuel 7 in the TBT1E2

2 Samuel 7 in the TFTIP

2 Samuel 7 in the TFTU

2 Samuel 7 in the TGNTATF3T

2 Samuel 7 in the THAI

2 Samuel 7 in the TNFD

2 Samuel 7 in the TNT

2 Samuel 7 in the TNTIK

2 Samuel 7 in the TNTIL

2 Samuel 7 in the TNTIN

2 Samuel 7 in the TNTIP

2 Samuel 7 in the TNTIZ

2 Samuel 7 in the TOMA

2 Samuel 7 in the TTENT

2 Samuel 7 in the UBG

2 Samuel 7 in the UGV

2 Samuel 7 in the UGV2

2 Samuel 7 in the UGV3

2 Samuel 7 in the VBL

2 Samuel 7 in the VDCC

2 Samuel 7 in the YALU

2 Samuel 7 in the YAPE

2 Samuel 7 in the YBVTP

2 Samuel 7 in the ZBP