Daniel 8 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka. 2 Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi. 3 Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma. 4 Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo. 5 Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka. 6 N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga. 7 Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume. 8 Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu. 9 Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi. 10 Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. 11 Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa. 13 Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?” 14 N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.” 15 Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 16 Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.” 17 Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.” 18 Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa. 19 N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 21 N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe. 23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 24 Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu. 26 “Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.” 27 Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.

In Other Versions

Daniel 8 in the ANGEFD

Daniel 8 in the ANTPNG2D

Daniel 8 in the AS21

Daniel 8 in the BAGH

Daniel 8 in the BBPNG

Daniel 8 in the BBT1E

Daniel 8 in the BDS

Daniel 8 in the BEV

Daniel 8 in the BHAD

Daniel 8 in the BIB

Daniel 8 in the BLPT

Daniel 8 in the BNT

Daniel 8 in the BNTABOOT

Daniel 8 in the BNTLV

Daniel 8 in the BOATCB

Daniel 8 in the BOATCB2

Daniel 8 in the BOBCV

Daniel 8 in the BOCNT

Daniel 8 in the BOECS

Daniel 8 in the BOGWICC

Daniel 8 in the BOHCB

Daniel 8 in the BOHCV

Daniel 8 in the BOHLNT

Daniel 8 in the BOHNTLTAL

Daniel 8 in the BOICB

Daniel 8 in the BOILNTAP

Daniel 8 in the BOITCV

Daniel 8 in the BOKCV

Daniel 8 in the BOKCV2

Daniel 8 in the BOKHWOG

Daniel 8 in the BOKSSV

Daniel 8 in the BOLCB2

Daniel 8 in the BOMCV

Daniel 8 in the BONAV

Daniel 8 in the BONCB

Daniel 8 in the BONLT

Daniel 8 in the BONUT2

Daniel 8 in the BOPLNT

Daniel 8 in the BOSCB

Daniel 8 in the BOSNC

Daniel 8 in the BOTLNT

Daniel 8 in the BOVCB

Daniel 8 in the BOYCB

Daniel 8 in the BPBB

Daniel 8 in the BPH

Daniel 8 in the BSB

Daniel 8 in the CCB

Daniel 8 in the CUV

Daniel 8 in the CUVS

Daniel 8 in the DBT

Daniel 8 in the DGDNT

Daniel 8 in the DHNT

Daniel 8 in the DNT

Daniel 8 in the ELBE

Daniel 8 in the EMTV

Daniel 8 in the ESV

Daniel 8 in the FBV

Daniel 8 in the FEB

Daniel 8 in the GGMNT

Daniel 8 in the GNT

Daniel 8 in the HARY

Daniel 8 in the HNT

Daniel 8 in the IRVA

Daniel 8 in the IRVB

Daniel 8 in the IRVG

Daniel 8 in the IRVH

Daniel 8 in the IRVK

Daniel 8 in the IRVM

Daniel 8 in the IRVM2

Daniel 8 in the IRVO

Daniel 8 in the IRVP

Daniel 8 in the IRVT

Daniel 8 in the IRVT2

Daniel 8 in the IRVU

Daniel 8 in the ISVN

Daniel 8 in the JSNT

Daniel 8 in the KAPI

Daniel 8 in the KBT1ETNIK

Daniel 8 in the KBV

Daniel 8 in the KJV

Daniel 8 in the KNFD

Daniel 8 in the LBA

Daniel 8 in the LBLA

Daniel 8 in the LNT

Daniel 8 in the LSV

Daniel 8 in the MAAL

Daniel 8 in the MBV

Daniel 8 in the MBV2

Daniel 8 in the MHNT

Daniel 8 in the MKNFD

Daniel 8 in the MNG

Daniel 8 in the MNT

Daniel 8 in the MNT2

Daniel 8 in the MRS1T

Daniel 8 in the NAA

Daniel 8 in the NASB

Daniel 8 in the NBLA

Daniel 8 in the NBS

Daniel 8 in the NBVTP

Daniel 8 in the NET2

Daniel 8 in the NIV11

Daniel 8 in the NNT

Daniel 8 in the NNT2

Daniel 8 in the NNT3

Daniel 8 in the PDDPT

Daniel 8 in the PFNT

Daniel 8 in the RMNT

Daniel 8 in the SBIAS

Daniel 8 in the SBIBS

Daniel 8 in the SBIBS2

Daniel 8 in the SBICS

Daniel 8 in the SBIDS

Daniel 8 in the SBIGS

Daniel 8 in the SBIHS

Daniel 8 in the SBIIS

Daniel 8 in the SBIIS2

Daniel 8 in the SBIIS3

Daniel 8 in the SBIKS

Daniel 8 in the SBIKS2

Daniel 8 in the SBIMS

Daniel 8 in the SBIOS

Daniel 8 in the SBIPS

Daniel 8 in the SBISS

Daniel 8 in the SBITS

Daniel 8 in the SBITS2

Daniel 8 in the SBITS3

Daniel 8 in the SBITS4

Daniel 8 in the SBIUS

Daniel 8 in the SBIVS

Daniel 8 in the SBT

Daniel 8 in the SBT1E

Daniel 8 in the SCHL

Daniel 8 in the SNT

Daniel 8 in the SUSU

Daniel 8 in the SUSU2

Daniel 8 in the SYNO

Daniel 8 in the TBIAOTANT

Daniel 8 in the TBT1E

Daniel 8 in the TBT1E2

Daniel 8 in the TFTIP

Daniel 8 in the TFTU

Daniel 8 in the TGNTATF3T

Daniel 8 in the THAI

Daniel 8 in the TNFD

Daniel 8 in the TNT

Daniel 8 in the TNTIK

Daniel 8 in the TNTIL

Daniel 8 in the TNTIN

Daniel 8 in the TNTIP

Daniel 8 in the TNTIZ

Daniel 8 in the TOMA

Daniel 8 in the TTENT

Daniel 8 in the UBG

Daniel 8 in the UGV

Daniel 8 in the UGV2

Daniel 8 in the UGV3

Daniel 8 in the VBL

Daniel 8 in the VDCC

Daniel 8 in the YALU

Daniel 8 in the YAPE

Daniel 8 in the YBVTP

Daniel 8 in the ZBP