Daniel 9 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya, 2 mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu. 3 Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu. 4 Ne nsaba MUKAMA Katonda wange ne mwatulira nti,“Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, 5 twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era 6 tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi. 7 “MUKAMA oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli. 8 Ayi MUKAMA, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye. 9 MUKAMA Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde, 10 ne tutawuliriza ddoboozi lya MUKAMA Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi. 11 Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.“Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa MUKAMA kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go. 12 Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi. 13 Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya MUKAMA Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima. 14 MUKAMA kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga MUKAMA Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye. 15 “Ggwe, Ayi MUKAMA Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu. 16 Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna. 17 “Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu. 18 Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi. 19 Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.” 20 Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira MUKAMA Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu, 21 awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi. 22 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera. 23 Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa. 24 “Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu. 25 “Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. 26 N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. 27 Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”

In Other Versions

Daniel 9 in the ANGEFD

Daniel 9 in the ANTPNG2D

Daniel 9 in the AS21

Daniel 9 in the BAGH

Daniel 9 in the BBPNG

Daniel 9 in the BBT1E

Daniel 9 in the BDS

Daniel 9 in the BEV

Daniel 9 in the BHAD

Daniel 9 in the BIB

Daniel 9 in the BLPT

Daniel 9 in the BNT

Daniel 9 in the BNTABOOT

Daniel 9 in the BNTLV

Daniel 9 in the BOATCB

Daniel 9 in the BOATCB2

Daniel 9 in the BOBCV

Daniel 9 in the BOCNT

Daniel 9 in the BOECS

Daniel 9 in the BOGWICC

Daniel 9 in the BOHCB

Daniel 9 in the BOHCV

Daniel 9 in the BOHLNT

Daniel 9 in the BOHNTLTAL

Daniel 9 in the BOICB

Daniel 9 in the BOILNTAP

Daniel 9 in the BOITCV

Daniel 9 in the BOKCV

Daniel 9 in the BOKCV2

Daniel 9 in the BOKHWOG

Daniel 9 in the BOKSSV

Daniel 9 in the BOLCB2

Daniel 9 in the BOMCV

Daniel 9 in the BONAV

Daniel 9 in the BONCB

Daniel 9 in the BONLT

Daniel 9 in the BONUT2

Daniel 9 in the BOPLNT

Daniel 9 in the BOSCB

Daniel 9 in the BOSNC

Daniel 9 in the BOTLNT

Daniel 9 in the BOVCB

Daniel 9 in the BOYCB

Daniel 9 in the BPBB

Daniel 9 in the BPH

Daniel 9 in the BSB

Daniel 9 in the CCB

Daniel 9 in the CUV

Daniel 9 in the CUVS

Daniel 9 in the DBT

Daniel 9 in the DGDNT

Daniel 9 in the DHNT

Daniel 9 in the DNT

Daniel 9 in the ELBE

Daniel 9 in the EMTV

Daniel 9 in the ESV

Daniel 9 in the FBV

Daniel 9 in the FEB

Daniel 9 in the GGMNT

Daniel 9 in the GNT

Daniel 9 in the HARY

Daniel 9 in the HNT

Daniel 9 in the IRVA

Daniel 9 in the IRVB

Daniel 9 in the IRVG

Daniel 9 in the IRVH

Daniel 9 in the IRVK

Daniel 9 in the IRVM

Daniel 9 in the IRVM2

Daniel 9 in the IRVO

Daniel 9 in the IRVP

Daniel 9 in the IRVT

Daniel 9 in the IRVT2

Daniel 9 in the IRVU

Daniel 9 in the ISVN

Daniel 9 in the JSNT

Daniel 9 in the KAPI

Daniel 9 in the KBT1ETNIK

Daniel 9 in the KBV

Daniel 9 in the KJV

Daniel 9 in the KNFD

Daniel 9 in the LBA

Daniel 9 in the LBLA

Daniel 9 in the LNT

Daniel 9 in the LSV

Daniel 9 in the MAAL

Daniel 9 in the MBV

Daniel 9 in the MBV2

Daniel 9 in the MHNT

Daniel 9 in the MKNFD

Daniel 9 in the MNG

Daniel 9 in the MNT

Daniel 9 in the MNT2

Daniel 9 in the MRS1T

Daniel 9 in the NAA

Daniel 9 in the NASB

Daniel 9 in the NBLA

Daniel 9 in the NBS

Daniel 9 in the NBVTP

Daniel 9 in the NET2

Daniel 9 in the NIV11

Daniel 9 in the NNT

Daniel 9 in the NNT2

Daniel 9 in the NNT3

Daniel 9 in the PDDPT

Daniel 9 in the PFNT

Daniel 9 in the RMNT

Daniel 9 in the SBIAS

Daniel 9 in the SBIBS

Daniel 9 in the SBIBS2

Daniel 9 in the SBICS

Daniel 9 in the SBIDS

Daniel 9 in the SBIGS

Daniel 9 in the SBIHS

Daniel 9 in the SBIIS

Daniel 9 in the SBIIS2

Daniel 9 in the SBIIS3

Daniel 9 in the SBIKS

Daniel 9 in the SBIKS2

Daniel 9 in the SBIMS

Daniel 9 in the SBIOS

Daniel 9 in the SBIPS

Daniel 9 in the SBISS

Daniel 9 in the SBITS

Daniel 9 in the SBITS2

Daniel 9 in the SBITS3

Daniel 9 in the SBITS4

Daniel 9 in the SBIUS

Daniel 9 in the SBIVS

Daniel 9 in the SBT

Daniel 9 in the SBT1E

Daniel 9 in the SCHL

Daniel 9 in the SNT

Daniel 9 in the SUSU

Daniel 9 in the SUSU2

Daniel 9 in the SYNO

Daniel 9 in the TBIAOTANT

Daniel 9 in the TBT1E

Daniel 9 in the TBT1E2

Daniel 9 in the TFTIP

Daniel 9 in the TFTU

Daniel 9 in the TGNTATF3T

Daniel 9 in the THAI

Daniel 9 in the TNFD

Daniel 9 in the TNT

Daniel 9 in the TNTIK

Daniel 9 in the TNTIL

Daniel 9 in the TNTIN

Daniel 9 in the TNTIP

Daniel 9 in the TNTIZ

Daniel 9 in the TOMA

Daniel 9 in the TTENT

Daniel 9 in the UBG

Daniel 9 in the UGV

Daniel 9 in the UGV2

Daniel 9 in the UGV3

Daniel 9 in the VBL

Daniel 9 in the VDCC

Daniel 9 in the YALU

Daniel 9 in the YAPE

Daniel 9 in the YBVTP

Daniel 9 in the ZBP