Deuteronomy 10 (BOLCB)
1 Mu kiseera ekyo MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi. 2 Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.” 3 Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. 4 MUKAMA Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. MUKAMA Katonda n’abinkwasa. 5 Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga MUKAMA Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri. 6 Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona. 7 Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi. 8 Mu kiseera ekyo MUKAMA n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya MUKAMA, n’okuyimiriranga mu maaso ga MUKAMA Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero. 9 Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga MUKAMA bwe busika bwabwe, nga MUKAMA Katonda wo bwe yabagamba. 10 Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno MUKAMA yampuliriza. MUKAMA Katonda yali tayagala kukuzikiriza. 11 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.” 12 Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki MUKAMA Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya MUKAMA Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga MUKAMA Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13 n’okugonderanga amateeka ga MUKAMA n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo? 14 Laba, MUKAMA Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. 15 Kyokka era MUKAMA yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. 16 Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. 17 Kubanga MUKAMA Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye MUKAMA w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. 18 Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. 19 Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. 20 Otyanga MUKAMA Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. 21 Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. 22 Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano MUKAMA Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.
In Other Versions
Deuteronomy 10 in the ANGEFD
Deuteronomy 10 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 10 in the AS21
Deuteronomy 10 in the BAGH
Deuteronomy 10 in the BBPNG
Deuteronomy 10 in the BBT1E
Deuteronomy 10 in the BDS
Deuteronomy 10 in the BEV
Deuteronomy 10 in the BHAD
Deuteronomy 10 in the BIB
Deuteronomy 10 in the BLPT
Deuteronomy 10 in the BNT
Deuteronomy 10 in the BNTABOOT
Deuteronomy 10 in the BNTLV
Deuteronomy 10 in the BOATCB
Deuteronomy 10 in the BOATCB2
Deuteronomy 10 in the BOBCV
Deuteronomy 10 in the BOCNT
Deuteronomy 10 in the BOECS
Deuteronomy 10 in the BOGWICC
Deuteronomy 10 in the BOHCB
Deuteronomy 10 in the BOHCV
Deuteronomy 10 in the BOHLNT
Deuteronomy 10 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 10 in the BOICB
Deuteronomy 10 in the BOILNTAP
Deuteronomy 10 in the BOITCV
Deuteronomy 10 in the BOKCV
Deuteronomy 10 in the BOKCV2
Deuteronomy 10 in the BOKHWOG
Deuteronomy 10 in the BOKSSV
Deuteronomy 10 in the BOLCB2
Deuteronomy 10 in the BOMCV
Deuteronomy 10 in the BONAV
Deuteronomy 10 in the BONCB
Deuteronomy 10 in the BONLT
Deuteronomy 10 in the BONUT2
Deuteronomy 10 in the BOPLNT
Deuteronomy 10 in the BOSCB
Deuteronomy 10 in the BOSNC
Deuteronomy 10 in the BOTLNT
Deuteronomy 10 in the BOVCB
Deuteronomy 10 in the BOYCB
Deuteronomy 10 in the BPBB
Deuteronomy 10 in the BPH
Deuteronomy 10 in the BSB
Deuteronomy 10 in the CCB
Deuteronomy 10 in the CUV
Deuteronomy 10 in the CUVS
Deuteronomy 10 in the DBT
Deuteronomy 10 in the DGDNT
Deuteronomy 10 in the DHNT
Deuteronomy 10 in the DNT
Deuteronomy 10 in the ELBE
Deuteronomy 10 in the EMTV
Deuteronomy 10 in the ESV
Deuteronomy 10 in the FBV
Deuteronomy 10 in the FEB
Deuteronomy 10 in the GGMNT
Deuteronomy 10 in the GNT
Deuteronomy 10 in the HARY
Deuteronomy 10 in the HNT
Deuteronomy 10 in the IRVA
Deuteronomy 10 in the IRVB
Deuteronomy 10 in the IRVG
Deuteronomy 10 in the IRVH
Deuteronomy 10 in the IRVK
Deuteronomy 10 in the IRVM
Deuteronomy 10 in the IRVM2
Deuteronomy 10 in the IRVO
Deuteronomy 10 in the IRVP
Deuteronomy 10 in the IRVT
Deuteronomy 10 in the IRVT2
Deuteronomy 10 in the IRVU
Deuteronomy 10 in the ISVN
Deuteronomy 10 in the JSNT
Deuteronomy 10 in the KAPI
Deuteronomy 10 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 10 in the KBV
Deuteronomy 10 in the KJV
Deuteronomy 10 in the KNFD
Deuteronomy 10 in the LBA
Deuteronomy 10 in the LBLA
Deuteronomy 10 in the LNT
Deuteronomy 10 in the LSV
Deuteronomy 10 in the MAAL
Deuteronomy 10 in the MBV
Deuteronomy 10 in the MBV2
Deuteronomy 10 in the MHNT
Deuteronomy 10 in the MKNFD
Deuteronomy 10 in the MNG
Deuteronomy 10 in the MNT
Deuteronomy 10 in the MNT2
Deuteronomy 10 in the MRS1T
Deuteronomy 10 in the NAA
Deuteronomy 10 in the NASB
Deuteronomy 10 in the NBLA
Deuteronomy 10 in the NBS
Deuteronomy 10 in the NBVTP
Deuteronomy 10 in the NET2
Deuteronomy 10 in the NIV11
Deuteronomy 10 in the NNT
Deuteronomy 10 in the NNT2
Deuteronomy 10 in the NNT3
Deuteronomy 10 in the PDDPT
Deuteronomy 10 in the PFNT
Deuteronomy 10 in the RMNT
Deuteronomy 10 in the SBIAS
Deuteronomy 10 in the SBIBS
Deuteronomy 10 in the SBIBS2
Deuteronomy 10 in the SBICS
Deuteronomy 10 in the SBIDS
Deuteronomy 10 in the SBIGS
Deuteronomy 10 in the SBIHS
Deuteronomy 10 in the SBIIS
Deuteronomy 10 in the SBIIS2
Deuteronomy 10 in the SBIIS3
Deuteronomy 10 in the SBIKS
Deuteronomy 10 in the SBIKS2
Deuteronomy 10 in the SBIMS
Deuteronomy 10 in the SBIOS
Deuteronomy 10 in the SBIPS
Deuteronomy 10 in the SBISS
Deuteronomy 10 in the SBITS
Deuteronomy 10 in the SBITS2
Deuteronomy 10 in the SBITS3
Deuteronomy 10 in the SBITS4
Deuteronomy 10 in the SBIUS
Deuteronomy 10 in the SBIVS
Deuteronomy 10 in the SBT
Deuteronomy 10 in the SBT1E
Deuteronomy 10 in the SCHL
Deuteronomy 10 in the SNT
Deuteronomy 10 in the SUSU
Deuteronomy 10 in the SUSU2
Deuteronomy 10 in the SYNO
Deuteronomy 10 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 10 in the TBT1E
Deuteronomy 10 in the TBT1E2
Deuteronomy 10 in the TFTIP
Deuteronomy 10 in the TFTU
Deuteronomy 10 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 10 in the THAI
Deuteronomy 10 in the TNFD
Deuteronomy 10 in the TNT
Deuteronomy 10 in the TNTIK
Deuteronomy 10 in the TNTIL
Deuteronomy 10 in the TNTIN
Deuteronomy 10 in the TNTIP
Deuteronomy 10 in the TNTIZ
Deuteronomy 10 in the TOMA
Deuteronomy 10 in the TTENT
Deuteronomy 10 in the UBG
Deuteronomy 10 in the UGV
Deuteronomy 10 in the UGV2
Deuteronomy 10 in the UGV3
Deuteronomy 10 in the VBL
Deuteronomy 10 in the VDCC
Deuteronomy 10 in the YALU
Deuteronomy 10 in the YAPE
Deuteronomy 10 in the YBVTP
Deuteronomy 10 in the ZBP