Deuteronomy 13 (BOLCB)
1 Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, 2 era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), 3 towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga MUKAMA Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. 4 MUKAMA Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. 5 Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere MUKAMA Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu MUKAMA Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu. 6 Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, 7 bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, 8 tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. 9 Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10 Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku MUKAMA Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11 Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo. 12 Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga MUKAMA Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, 13 nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, 14 kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, 15 kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. 16 Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri MUKAMA Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa. 17 Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa MUKAMA obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, 18 kubanga onoogonderanga eddoboozi lya MUKAMA Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga MUKAMA Katonda wo.
In Other Versions
Deuteronomy 13 in the ANGEFD
Deuteronomy 13 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 13 in the AS21
Deuteronomy 13 in the BAGH
Deuteronomy 13 in the BBPNG
Deuteronomy 13 in the BBT1E
Deuteronomy 13 in the BDS
Deuteronomy 13 in the BEV
Deuteronomy 13 in the BHAD
Deuteronomy 13 in the BIB
Deuteronomy 13 in the BLPT
Deuteronomy 13 in the BNT
Deuteronomy 13 in the BNTABOOT
Deuteronomy 13 in the BNTLV
Deuteronomy 13 in the BOATCB
Deuteronomy 13 in the BOATCB2
Deuteronomy 13 in the BOBCV
Deuteronomy 13 in the BOCNT
Deuteronomy 13 in the BOECS
Deuteronomy 13 in the BOGWICC
Deuteronomy 13 in the BOHCB
Deuteronomy 13 in the BOHCV
Deuteronomy 13 in the BOHLNT
Deuteronomy 13 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 13 in the BOICB
Deuteronomy 13 in the BOILNTAP
Deuteronomy 13 in the BOITCV
Deuteronomy 13 in the BOKCV
Deuteronomy 13 in the BOKCV2
Deuteronomy 13 in the BOKHWOG
Deuteronomy 13 in the BOKSSV
Deuteronomy 13 in the BOLCB2
Deuteronomy 13 in the BOMCV
Deuteronomy 13 in the BONAV
Deuteronomy 13 in the BONCB
Deuteronomy 13 in the BONLT
Deuteronomy 13 in the BONUT2
Deuteronomy 13 in the BOPLNT
Deuteronomy 13 in the BOSCB
Deuteronomy 13 in the BOSNC
Deuteronomy 13 in the BOTLNT
Deuteronomy 13 in the BOVCB
Deuteronomy 13 in the BOYCB
Deuteronomy 13 in the BPBB
Deuteronomy 13 in the BPH
Deuteronomy 13 in the BSB
Deuteronomy 13 in the CCB
Deuteronomy 13 in the CUV
Deuteronomy 13 in the CUVS
Deuteronomy 13 in the DBT
Deuteronomy 13 in the DGDNT
Deuteronomy 13 in the DHNT
Deuteronomy 13 in the DNT
Deuteronomy 13 in the ELBE
Deuteronomy 13 in the EMTV
Deuteronomy 13 in the ESV
Deuteronomy 13 in the FBV
Deuteronomy 13 in the FEB
Deuteronomy 13 in the GGMNT
Deuteronomy 13 in the GNT
Deuteronomy 13 in the HARY
Deuteronomy 13 in the HNT
Deuteronomy 13 in the IRVA
Deuteronomy 13 in the IRVB
Deuteronomy 13 in the IRVG
Deuteronomy 13 in the IRVH
Deuteronomy 13 in the IRVK
Deuteronomy 13 in the IRVM
Deuteronomy 13 in the IRVM2
Deuteronomy 13 in the IRVO
Deuteronomy 13 in the IRVP
Deuteronomy 13 in the IRVT
Deuteronomy 13 in the IRVT2
Deuteronomy 13 in the IRVU
Deuteronomy 13 in the ISVN
Deuteronomy 13 in the JSNT
Deuteronomy 13 in the KAPI
Deuteronomy 13 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 13 in the KBV
Deuteronomy 13 in the KJV
Deuteronomy 13 in the KNFD
Deuteronomy 13 in the LBA
Deuteronomy 13 in the LBLA
Deuteronomy 13 in the LNT
Deuteronomy 13 in the LSV
Deuteronomy 13 in the MAAL
Deuteronomy 13 in the MBV
Deuteronomy 13 in the MBV2
Deuteronomy 13 in the MHNT
Deuteronomy 13 in the MKNFD
Deuteronomy 13 in the MNG
Deuteronomy 13 in the MNT
Deuteronomy 13 in the MNT2
Deuteronomy 13 in the MRS1T
Deuteronomy 13 in the NAA
Deuteronomy 13 in the NASB
Deuteronomy 13 in the NBLA
Deuteronomy 13 in the NBS
Deuteronomy 13 in the NBVTP
Deuteronomy 13 in the NET2
Deuteronomy 13 in the NIV11
Deuteronomy 13 in the NNT
Deuteronomy 13 in the NNT2
Deuteronomy 13 in the NNT3
Deuteronomy 13 in the PDDPT
Deuteronomy 13 in the PFNT
Deuteronomy 13 in the RMNT
Deuteronomy 13 in the SBIAS
Deuteronomy 13 in the SBIBS
Deuteronomy 13 in the SBIBS2
Deuteronomy 13 in the SBICS
Deuteronomy 13 in the SBIDS
Deuteronomy 13 in the SBIGS
Deuteronomy 13 in the SBIHS
Deuteronomy 13 in the SBIIS
Deuteronomy 13 in the SBIIS2
Deuteronomy 13 in the SBIIS3
Deuteronomy 13 in the SBIKS
Deuteronomy 13 in the SBIKS2
Deuteronomy 13 in the SBIMS
Deuteronomy 13 in the SBIOS
Deuteronomy 13 in the SBIPS
Deuteronomy 13 in the SBISS
Deuteronomy 13 in the SBITS
Deuteronomy 13 in the SBITS2
Deuteronomy 13 in the SBITS3
Deuteronomy 13 in the SBITS4
Deuteronomy 13 in the SBIUS
Deuteronomy 13 in the SBIVS
Deuteronomy 13 in the SBT
Deuteronomy 13 in the SBT1E
Deuteronomy 13 in the SCHL
Deuteronomy 13 in the SNT
Deuteronomy 13 in the SUSU
Deuteronomy 13 in the SUSU2
Deuteronomy 13 in the SYNO
Deuteronomy 13 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 13 in the TBT1E
Deuteronomy 13 in the TBT1E2
Deuteronomy 13 in the TFTIP
Deuteronomy 13 in the TFTU
Deuteronomy 13 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 13 in the THAI
Deuteronomy 13 in the TNFD
Deuteronomy 13 in the TNT
Deuteronomy 13 in the TNTIK
Deuteronomy 13 in the TNTIL
Deuteronomy 13 in the TNTIN
Deuteronomy 13 in the TNTIP
Deuteronomy 13 in the TNTIZ
Deuteronomy 13 in the TOMA
Deuteronomy 13 in the TTENT
Deuteronomy 13 in the UBG
Deuteronomy 13 in the UGV
Deuteronomy 13 in the UGV2
Deuteronomy 13 in the UGV3
Deuteronomy 13 in the VBL
Deuteronomy 13 in the VDCC
Deuteronomy 13 in the YALU
Deuteronomy 13 in the YAPE
Deuteronomy 13 in the YBVTP
Deuteronomy 13 in the ZBP