Deuteronomy 19 (BOLCB)
1 MUKAMA Katonda wo bw’alimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gy’akuwa, n’ogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, n’amaka gaabwe n’obeera omwo, 2 weeyawulirangako ebibuga bisatu nga biri wakati mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okugirya. 3 Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo. 4 Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. 5 Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa. 6 Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. 7 Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. 8 MUKAMA Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, 9 kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga MUKAMA Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. 10 Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe. 11 Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13 Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe. 14 Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okugirya. 15 Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa. 16 Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya, 17 abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga MUKAMA Katonda awali bakabona n’abalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo. 18 Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo n’obwegendereza. Omujulizi oyo bw’anaakakasibwanga nga mulimba, ng’obujulizi bw’awadde ku munne bugingirire, 19 munaamukolangako nga naye bw’abadde ayagala munne akolweko. Bw’atyo n’omalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe. 20 Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ng’olwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ng’ogwo. 21 Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono n’ekigere olw’ekigere.
In Other Versions
Deuteronomy 19 in the ANGEFD
Deuteronomy 19 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 19 in the AS21
Deuteronomy 19 in the BAGH
Deuteronomy 19 in the BBPNG
Deuteronomy 19 in the BBT1E
Deuteronomy 19 in the BDS
Deuteronomy 19 in the BEV
Deuteronomy 19 in the BHAD
Deuteronomy 19 in the BIB
Deuteronomy 19 in the BLPT
Deuteronomy 19 in the BNT
Deuteronomy 19 in the BNTABOOT
Deuteronomy 19 in the BNTLV
Deuteronomy 19 in the BOATCB
Deuteronomy 19 in the BOATCB2
Deuteronomy 19 in the BOBCV
Deuteronomy 19 in the BOCNT
Deuteronomy 19 in the BOECS
Deuteronomy 19 in the BOGWICC
Deuteronomy 19 in the BOHCB
Deuteronomy 19 in the BOHCV
Deuteronomy 19 in the BOHLNT
Deuteronomy 19 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 19 in the BOICB
Deuteronomy 19 in the BOILNTAP
Deuteronomy 19 in the BOITCV
Deuteronomy 19 in the BOKCV
Deuteronomy 19 in the BOKCV2
Deuteronomy 19 in the BOKHWOG
Deuteronomy 19 in the BOKSSV
Deuteronomy 19 in the BOLCB2
Deuteronomy 19 in the BOMCV
Deuteronomy 19 in the BONAV
Deuteronomy 19 in the BONCB
Deuteronomy 19 in the BONLT
Deuteronomy 19 in the BONUT2
Deuteronomy 19 in the BOPLNT
Deuteronomy 19 in the BOSCB
Deuteronomy 19 in the BOSNC
Deuteronomy 19 in the BOTLNT
Deuteronomy 19 in the BOVCB
Deuteronomy 19 in the BOYCB
Deuteronomy 19 in the BPBB
Deuteronomy 19 in the BPH
Deuteronomy 19 in the BSB
Deuteronomy 19 in the CCB
Deuteronomy 19 in the CUV
Deuteronomy 19 in the CUVS
Deuteronomy 19 in the DBT
Deuteronomy 19 in the DGDNT
Deuteronomy 19 in the DHNT
Deuteronomy 19 in the DNT
Deuteronomy 19 in the ELBE
Deuteronomy 19 in the EMTV
Deuteronomy 19 in the ESV
Deuteronomy 19 in the FBV
Deuteronomy 19 in the FEB
Deuteronomy 19 in the GGMNT
Deuteronomy 19 in the GNT
Deuteronomy 19 in the HARY
Deuteronomy 19 in the HNT
Deuteronomy 19 in the IRVA
Deuteronomy 19 in the IRVB
Deuteronomy 19 in the IRVG
Deuteronomy 19 in the IRVH
Deuteronomy 19 in the IRVK
Deuteronomy 19 in the IRVM
Deuteronomy 19 in the IRVM2
Deuteronomy 19 in the IRVO
Deuteronomy 19 in the IRVP
Deuteronomy 19 in the IRVT
Deuteronomy 19 in the IRVT2
Deuteronomy 19 in the IRVU
Deuteronomy 19 in the ISVN
Deuteronomy 19 in the JSNT
Deuteronomy 19 in the KAPI
Deuteronomy 19 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 19 in the KBV
Deuteronomy 19 in the KJV
Deuteronomy 19 in the KNFD
Deuteronomy 19 in the LBA
Deuteronomy 19 in the LBLA
Deuteronomy 19 in the LNT
Deuteronomy 19 in the LSV
Deuteronomy 19 in the MAAL
Deuteronomy 19 in the MBV
Deuteronomy 19 in the MBV2
Deuteronomy 19 in the MHNT
Deuteronomy 19 in the MKNFD
Deuteronomy 19 in the MNG
Deuteronomy 19 in the MNT
Deuteronomy 19 in the MNT2
Deuteronomy 19 in the MRS1T
Deuteronomy 19 in the NAA
Deuteronomy 19 in the NASB
Deuteronomy 19 in the NBLA
Deuteronomy 19 in the NBS
Deuteronomy 19 in the NBVTP
Deuteronomy 19 in the NET2
Deuteronomy 19 in the NIV11
Deuteronomy 19 in the NNT
Deuteronomy 19 in the NNT2
Deuteronomy 19 in the NNT3
Deuteronomy 19 in the PDDPT
Deuteronomy 19 in the PFNT
Deuteronomy 19 in the RMNT
Deuteronomy 19 in the SBIAS
Deuteronomy 19 in the SBIBS
Deuteronomy 19 in the SBIBS2
Deuteronomy 19 in the SBICS
Deuteronomy 19 in the SBIDS
Deuteronomy 19 in the SBIGS
Deuteronomy 19 in the SBIHS
Deuteronomy 19 in the SBIIS
Deuteronomy 19 in the SBIIS2
Deuteronomy 19 in the SBIIS3
Deuteronomy 19 in the SBIKS
Deuteronomy 19 in the SBIKS2
Deuteronomy 19 in the SBIMS
Deuteronomy 19 in the SBIOS
Deuteronomy 19 in the SBIPS
Deuteronomy 19 in the SBISS
Deuteronomy 19 in the SBITS
Deuteronomy 19 in the SBITS2
Deuteronomy 19 in the SBITS3
Deuteronomy 19 in the SBITS4
Deuteronomy 19 in the SBIUS
Deuteronomy 19 in the SBIVS
Deuteronomy 19 in the SBT
Deuteronomy 19 in the SBT1E
Deuteronomy 19 in the SCHL
Deuteronomy 19 in the SNT
Deuteronomy 19 in the SUSU
Deuteronomy 19 in the SUSU2
Deuteronomy 19 in the SYNO
Deuteronomy 19 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 19 in the TBT1E
Deuteronomy 19 in the TBT1E2
Deuteronomy 19 in the TFTIP
Deuteronomy 19 in the TFTU
Deuteronomy 19 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 19 in the THAI
Deuteronomy 19 in the TNFD
Deuteronomy 19 in the TNT
Deuteronomy 19 in the TNTIK
Deuteronomy 19 in the TNTIL
Deuteronomy 19 in the TNTIN
Deuteronomy 19 in the TNTIP
Deuteronomy 19 in the TNTIZ
Deuteronomy 19 in the TOMA
Deuteronomy 19 in the TTENT
Deuteronomy 19 in the UBG
Deuteronomy 19 in the UGV
Deuteronomy 19 in the UGV2
Deuteronomy 19 in the UGV3
Deuteronomy 19 in the VBL
Deuteronomy 19 in the VDCC
Deuteronomy 19 in the YALU
Deuteronomy 19 in the YAPE
Deuteronomy 19 in the YBVTP
Deuteronomy 19 in the ZBP