Deuteronomy 26 (BOLCB)

1 Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, 2 oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo MUKAMA Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. 3 Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri MUKAMA Katonda wo nti ntuuse mu nsi MUKAMA gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” 4 Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya MUKAMA Katonda wo. 5 Kale nno oliyatula mu maaso ga MUKAMA Katonda wo nti, “Jjajjaffe yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. 6 Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. 7 Bwe tutyo ne tukaabirira MUKAMA, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. 8 Bw’atyo MUKAMA n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. 9 Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi MUKAMA.” Olibiteeka mu maaso ga MUKAMA Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 11 Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, MUKAMA Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna. 12 Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. 13 Awo onooyogeranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo. 14 Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde MUKAMA Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira. 15 Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” 16 MUKAMA Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna. 17 Ku lunaku lwa leero oyatudde nga MUKAMA bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga. 18 Ku lunaku lwa leero MUKAMA alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. 19 Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri MUKAMA Katonda wo, nga bwe yasuubiza.

In Other Versions

Deuteronomy 26 in the ANGEFD

Deuteronomy 26 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 26 in the AS21

Deuteronomy 26 in the BAGH

Deuteronomy 26 in the BBPNG

Deuteronomy 26 in the BBT1E

Deuteronomy 26 in the BDS

Deuteronomy 26 in the BEV

Deuteronomy 26 in the BHAD

Deuteronomy 26 in the BIB

Deuteronomy 26 in the BLPT

Deuteronomy 26 in the BNT

Deuteronomy 26 in the BNTABOOT

Deuteronomy 26 in the BNTLV

Deuteronomy 26 in the BOATCB

Deuteronomy 26 in the BOATCB2

Deuteronomy 26 in the BOBCV

Deuteronomy 26 in the BOCNT

Deuteronomy 26 in the BOECS

Deuteronomy 26 in the BOGWICC

Deuteronomy 26 in the BOHCB

Deuteronomy 26 in the BOHCV

Deuteronomy 26 in the BOHLNT

Deuteronomy 26 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 26 in the BOICB

Deuteronomy 26 in the BOILNTAP

Deuteronomy 26 in the BOITCV

Deuteronomy 26 in the BOKCV

Deuteronomy 26 in the BOKCV2

Deuteronomy 26 in the BOKHWOG

Deuteronomy 26 in the BOKSSV

Deuteronomy 26 in the BOLCB2

Deuteronomy 26 in the BOMCV

Deuteronomy 26 in the BONAV

Deuteronomy 26 in the BONCB

Deuteronomy 26 in the BONLT

Deuteronomy 26 in the BONUT2

Deuteronomy 26 in the BOPLNT

Deuteronomy 26 in the BOSCB

Deuteronomy 26 in the BOSNC

Deuteronomy 26 in the BOTLNT

Deuteronomy 26 in the BOVCB

Deuteronomy 26 in the BOYCB

Deuteronomy 26 in the BPBB

Deuteronomy 26 in the BPH

Deuteronomy 26 in the BSB

Deuteronomy 26 in the CCB

Deuteronomy 26 in the CUV

Deuteronomy 26 in the CUVS

Deuteronomy 26 in the DBT

Deuteronomy 26 in the DGDNT

Deuteronomy 26 in the DHNT

Deuteronomy 26 in the DNT

Deuteronomy 26 in the ELBE

Deuteronomy 26 in the EMTV

Deuteronomy 26 in the ESV

Deuteronomy 26 in the FBV

Deuteronomy 26 in the FEB

Deuteronomy 26 in the GGMNT

Deuteronomy 26 in the GNT

Deuteronomy 26 in the HARY

Deuteronomy 26 in the HNT

Deuteronomy 26 in the IRVA

Deuteronomy 26 in the IRVB

Deuteronomy 26 in the IRVG

Deuteronomy 26 in the IRVH

Deuteronomy 26 in the IRVK

Deuteronomy 26 in the IRVM

Deuteronomy 26 in the IRVM2

Deuteronomy 26 in the IRVO

Deuteronomy 26 in the IRVP

Deuteronomy 26 in the IRVT

Deuteronomy 26 in the IRVT2

Deuteronomy 26 in the IRVU

Deuteronomy 26 in the ISVN

Deuteronomy 26 in the JSNT

Deuteronomy 26 in the KAPI

Deuteronomy 26 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 26 in the KBV

Deuteronomy 26 in the KJV

Deuteronomy 26 in the KNFD

Deuteronomy 26 in the LBA

Deuteronomy 26 in the LBLA

Deuteronomy 26 in the LNT

Deuteronomy 26 in the LSV

Deuteronomy 26 in the MAAL

Deuteronomy 26 in the MBV

Deuteronomy 26 in the MBV2

Deuteronomy 26 in the MHNT

Deuteronomy 26 in the MKNFD

Deuteronomy 26 in the MNG

Deuteronomy 26 in the MNT

Deuteronomy 26 in the MNT2

Deuteronomy 26 in the MRS1T

Deuteronomy 26 in the NAA

Deuteronomy 26 in the NASB

Deuteronomy 26 in the NBLA

Deuteronomy 26 in the NBS

Deuteronomy 26 in the NBVTP

Deuteronomy 26 in the NET2

Deuteronomy 26 in the NIV11

Deuteronomy 26 in the NNT

Deuteronomy 26 in the NNT2

Deuteronomy 26 in the NNT3

Deuteronomy 26 in the PDDPT

Deuteronomy 26 in the PFNT

Deuteronomy 26 in the RMNT

Deuteronomy 26 in the SBIAS

Deuteronomy 26 in the SBIBS

Deuteronomy 26 in the SBIBS2

Deuteronomy 26 in the SBICS

Deuteronomy 26 in the SBIDS

Deuteronomy 26 in the SBIGS

Deuteronomy 26 in the SBIHS

Deuteronomy 26 in the SBIIS

Deuteronomy 26 in the SBIIS2

Deuteronomy 26 in the SBIIS3

Deuteronomy 26 in the SBIKS

Deuteronomy 26 in the SBIKS2

Deuteronomy 26 in the SBIMS

Deuteronomy 26 in the SBIOS

Deuteronomy 26 in the SBIPS

Deuteronomy 26 in the SBISS

Deuteronomy 26 in the SBITS

Deuteronomy 26 in the SBITS2

Deuteronomy 26 in the SBITS3

Deuteronomy 26 in the SBITS4

Deuteronomy 26 in the SBIUS

Deuteronomy 26 in the SBIVS

Deuteronomy 26 in the SBT

Deuteronomy 26 in the SBT1E

Deuteronomy 26 in the SCHL

Deuteronomy 26 in the SNT

Deuteronomy 26 in the SUSU

Deuteronomy 26 in the SUSU2

Deuteronomy 26 in the SYNO

Deuteronomy 26 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 26 in the TBT1E

Deuteronomy 26 in the TBT1E2

Deuteronomy 26 in the TFTIP

Deuteronomy 26 in the TFTU

Deuteronomy 26 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 26 in the THAI

Deuteronomy 26 in the TNFD

Deuteronomy 26 in the TNT

Deuteronomy 26 in the TNTIK

Deuteronomy 26 in the TNTIL

Deuteronomy 26 in the TNTIN

Deuteronomy 26 in the TNTIP

Deuteronomy 26 in the TNTIZ

Deuteronomy 26 in the TOMA

Deuteronomy 26 in the TTENT

Deuteronomy 26 in the UBG

Deuteronomy 26 in the UGV

Deuteronomy 26 in the UGV2

Deuteronomy 26 in the UGV3

Deuteronomy 26 in the VBL

Deuteronomy 26 in the VDCC

Deuteronomy 26 in the YALU

Deuteronomy 26 in the YAPE

Deuteronomy 26 in the YBVTP

Deuteronomy 26 in the ZBP