Esther 5 (BOLCB)
1 Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene. 2 Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo. 3 Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.” 4 Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.” 5 Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.” 6 Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.” 7 Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino. 8 Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.” 9 Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi. 10 Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka.Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye, 11 era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be. 12 “Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka. 13 Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.” 14 Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
In Other Versions
Esther 5 in the ANGEFD
Esther 5 in the ANTPNG2D
Esther 5 in the AS21
Esther 5 in the BAGH
Esther 5 in the BBPNG
Esther 5 in the BBT1E
Esther 5 in the BDS
Esther 5 in the BEV
Esther 5 in the BHAD
Esther 5 in the BIB
Esther 5 in the BLPT
Esther 5 in the BNT
Esther 5 in the BNTABOOT
Esther 5 in the BNTLV
Esther 5 in the BOATCB
Esther 5 in the BOATCB2
Esther 5 in the BOBCV
Esther 5 in the BOCNT
Esther 5 in the BOECS
Esther 5 in the BOGWICC
Esther 5 in the BOHCB
Esther 5 in the BOHCV
Esther 5 in the BOHLNT
Esther 5 in the BOHNTLTAL
Esther 5 in the BOICB
Esther 5 in the BOILNTAP
Esther 5 in the BOITCV
Esther 5 in the BOKCV
Esther 5 in the BOKCV2
Esther 5 in the BOKHWOG
Esther 5 in the BOKSSV
Esther 5 in the BOLCB2
Esther 5 in the BOMCV
Esther 5 in the BONAV
Esther 5 in the BONCB
Esther 5 in the BONLT
Esther 5 in the BONUT2
Esther 5 in the BOPLNT
Esther 5 in the BOSCB
Esther 5 in the BOSNC
Esther 5 in the BOTLNT
Esther 5 in the BOVCB
Esther 5 in the BOYCB
Esther 5 in the BPBB
Esther 5 in the BPH
Esther 5 in the BSB
Esther 5 in the CCB
Esther 5 in the CUV
Esther 5 in the CUVS
Esther 5 in the DBT
Esther 5 in the DGDNT
Esther 5 in the DHNT
Esther 5 in the DNT
Esther 5 in the ELBE
Esther 5 in the EMTV
Esther 5 in the ESV
Esther 5 in the FBV
Esther 5 in the FEB
Esther 5 in the GGMNT
Esther 5 in the GNT
Esther 5 in the HARY
Esther 5 in the HNT
Esther 5 in the IRVA
Esther 5 in the IRVB
Esther 5 in the IRVG
Esther 5 in the IRVH
Esther 5 in the IRVK
Esther 5 in the IRVM
Esther 5 in the IRVM2
Esther 5 in the IRVO
Esther 5 in the IRVP
Esther 5 in the IRVT
Esther 5 in the IRVT2
Esther 5 in the IRVU
Esther 5 in the ISVN
Esther 5 in the JSNT
Esther 5 in the KAPI
Esther 5 in the KBT1ETNIK
Esther 5 in the KBV
Esther 5 in the KJV
Esther 5 in the KNFD
Esther 5 in the LBA
Esther 5 in the LBLA
Esther 5 in the LNT
Esther 5 in the LSV
Esther 5 in the MAAL
Esther 5 in the MBV
Esther 5 in the MBV2
Esther 5 in the MHNT
Esther 5 in the MKNFD
Esther 5 in the MNG
Esther 5 in the MNT
Esther 5 in the MNT2
Esther 5 in the MRS1T
Esther 5 in the NAA
Esther 5 in the NASB
Esther 5 in the NBLA
Esther 5 in the NBS
Esther 5 in the NBVTP
Esther 5 in the NET2
Esther 5 in the NIV11
Esther 5 in the NNT
Esther 5 in the NNT2
Esther 5 in the NNT3
Esther 5 in the PDDPT
Esther 5 in the PFNT
Esther 5 in the RMNT
Esther 5 in the SBIAS
Esther 5 in the SBIBS
Esther 5 in the SBIBS2
Esther 5 in the SBICS
Esther 5 in the SBIDS
Esther 5 in the SBIGS
Esther 5 in the SBIHS
Esther 5 in the SBIIS
Esther 5 in the SBIIS2
Esther 5 in the SBIIS3
Esther 5 in the SBIKS
Esther 5 in the SBIKS2
Esther 5 in the SBIMS
Esther 5 in the SBIOS
Esther 5 in the SBIPS
Esther 5 in the SBISS
Esther 5 in the SBITS
Esther 5 in the SBITS2
Esther 5 in the SBITS3
Esther 5 in the SBITS4
Esther 5 in the SBIUS
Esther 5 in the SBIVS
Esther 5 in the SBT
Esther 5 in the SBT1E
Esther 5 in the SCHL
Esther 5 in the SNT
Esther 5 in the SUSU
Esther 5 in the SUSU2
Esther 5 in the SYNO
Esther 5 in the TBIAOTANT
Esther 5 in the TBT1E
Esther 5 in the TBT1E2
Esther 5 in the TFTIP
Esther 5 in the TFTU
Esther 5 in the TGNTATF3T
Esther 5 in the THAI
Esther 5 in the TNFD
Esther 5 in the TNT
Esther 5 in the TNTIK
Esther 5 in the TNTIL
Esther 5 in the TNTIN
Esther 5 in the TNTIP
Esther 5 in the TNTIZ
Esther 5 in the TOMA
Esther 5 in the TTENT
Esther 5 in the UBG
Esther 5 in the UGV
Esther 5 in the UGV2
Esther 5 in the UGV3
Esther 5 in the VBL
Esther 5 in the VDCC
Esther 5 in the YALU
Esther 5 in the YAPE
Esther 5 in the YBVTP
Esther 5 in the ZBP