Exodus 1 (BOLCB)
1 Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye: 2 Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda, 3 ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini, 4 ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri. 5 Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri. 6 Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. 7 Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali. 8 Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9 N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 10 Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.” 11 Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 13 Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 14 Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe. 15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa, n’abagamba nti, 16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 17 Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?” 19 Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.” 20 Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21 Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde. 22 Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
In Other Versions
Exodus 1 in the ANGEFD
Exodus 1 in the ANTPNG2D
Exodus 1 in the AS21
Exodus 1 in the BAGH
Exodus 1 in the BBPNG
Exodus 1 in the BBT1E
Exodus 1 in the BDS
Exodus 1 in the BEV
Exodus 1 in the BHAD
Exodus 1 in the BIB
Exodus 1 in the BLPT
Exodus 1 in the BNT
Exodus 1 in the BNTABOOT
Exodus 1 in the BNTLV
Exodus 1 in the BOATCB
Exodus 1 in the BOATCB2
Exodus 1 in the BOBCV
Exodus 1 in the BOCNT
Exodus 1 in the BOECS
Exodus 1 in the BOGWICC
Exodus 1 in the BOHCB
Exodus 1 in the BOHCV
Exodus 1 in the BOHLNT
Exodus 1 in the BOHNTLTAL
Exodus 1 in the BOICB
Exodus 1 in the BOILNTAP
Exodus 1 in the BOITCV
Exodus 1 in the BOKCV
Exodus 1 in the BOKCV2
Exodus 1 in the BOKHWOG
Exodus 1 in the BOKSSV
Exodus 1 in the BOLCB2
Exodus 1 in the BOMCV
Exodus 1 in the BONAV
Exodus 1 in the BONCB
Exodus 1 in the BONLT
Exodus 1 in the BONUT2
Exodus 1 in the BOPLNT
Exodus 1 in the BOSCB
Exodus 1 in the BOSNC
Exodus 1 in the BOTLNT
Exodus 1 in the BOVCB
Exodus 1 in the BOYCB
Exodus 1 in the BPBB
Exodus 1 in the BPH
Exodus 1 in the BSB
Exodus 1 in the CCB
Exodus 1 in the CUV
Exodus 1 in the CUVS
Exodus 1 in the DBT
Exodus 1 in the DGDNT
Exodus 1 in the DHNT
Exodus 1 in the DNT
Exodus 1 in the ELBE
Exodus 1 in the EMTV
Exodus 1 in the ESV
Exodus 1 in the FBV
Exodus 1 in the FEB
Exodus 1 in the GGMNT
Exodus 1 in the GNT
Exodus 1 in the HARY
Exodus 1 in the HNT
Exodus 1 in the IRVA
Exodus 1 in the IRVB
Exodus 1 in the IRVG
Exodus 1 in the IRVH
Exodus 1 in the IRVK
Exodus 1 in the IRVM
Exodus 1 in the IRVM2
Exodus 1 in the IRVO
Exodus 1 in the IRVP
Exodus 1 in the IRVT
Exodus 1 in the IRVT2
Exodus 1 in the IRVU
Exodus 1 in the ISVN
Exodus 1 in the JSNT
Exodus 1 in the KAPI
Exodus 1 in the KBT1ETNIK
Exodus 1 in the KBV
Exodus 1 in the KJV
Exodus 1 in the KNFD
Exodus 1 in the LBA
Exodus 1 in the LBLA
Exodus 1 in the LNT
Exodus 1 in the LSV
Exodus 1 in the MAAL
Exodus 1 in the MBV
Exodus 1 in the MBV2
Exodus 1 in the MHNT
Exodus 1 in the MKNFD
Exodus 1 in the MNG
Exodus 1 in the MNT
Exodus 1 in the MNT2
Exodus 1 in the MRS1T
Exodus 1 in the NAA
Exodus 1 in the NASB
Exodus 1 in the NBLA
Exodus 1 in the NBS
Exodus 1 in the NBVTP
Exodus 1 in the NET2
Exodus 1 in the NIV11
Exodus 1 in the NNT
Exodus 1 in the NNT2
Exodus 1 in the NNT3
Exodus 1 in the PDDPT
Exodus 1 in the PFNT
Exodus 1 in the RMNT
Exodus 1 in the SBIAS
Exodus 1 in the SBIBS
Exodus 1 in the SBIBS2
Exodus 1 in the SBICS
Exodus 1 in the SBIDS
Exodus 1 in the SBIGS
Exodus 1 in the SBIHS
Exodus 1 in the SBIIS
Exodus 1 in the SBIIS2
Exodus 1 in the SBIIS3
Exodus 1 in the SBIKS
Exodus 1 in the SBIKS2
Exodus 1 in the SBIMS
Exodus 1 in the SBIOS
Exodus 1 in the SBIPS
Exodus 1 in the SBISS
Exodus 1 in the SBITS
Exodus 1 in the SBITS2
Exodus 1 in the SBITS3
Exodus 1 in the SBITS4
Exodus 1 in the SBIUS
Exodus 1 in the SBIVS
Exodus 1 in the SBT
Exodus 1 in the SBT1E
Exodus 1 in the SCHL
Exodus 1 in the SNT
Exodus 1 in the SUSU
Exodus 1 in the SUSU2
Exodus 1 in the SYNO
Exodus 1 in the TBIAOTANT
Exodus 1 in the TBT1E
Exodus 1 in the TBT1E2
Exodus 1 in the TFTIP
Exodus 1 in the TFTU
Exodus 1 in the TGNTATF3T
Exodus 1 in the THAI
Exodus 1 in the TNFD
Exodus 1 in the TNT
Exodus 1 in the TNTIK
Exodus 1 in the TNTIL
Exodus 1 in the TNTIN
Exodus 1 in the TNTIP
Exodus 1 in the TNTIZ
Exodus 1 in the TOMA
Exodus 1 in the TTENT
Exodus 1 in the UBG
Exodus 1 in the UGV
Exodus 1 in the UGV2
Exodus 1 in the UGV3
Exodus 1 in the VBL
Exodus 1 in the VDCC
Exodus 1 in the YALU
Exodus 1 in the YAPE
Exodus 1 in the YBVTP
Exodus 1 in the ZBP