Exodus 13 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, 2 “Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.” 3 Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga MUKAMA yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa. 4 Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri. 5 MUKAMA bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno. 6 Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya MUKAMA. 7 Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe. 8 Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo MUKAMA bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ 9 Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya MUKAMA eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga MUKAMA yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 10 Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka. 11 “MUKAMA ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa, 12 MUKAMA mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za MUKAMA. 13 Buli kalogoyi akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga. 14 “Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga MUKAMA yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. 15 Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, MUKAMA n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri MUKAMA ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’ 16 Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga MUKAMA yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.” 17 Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi. Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.” 18 Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana. 19 Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala MUKAMA agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.” 20 Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira. 21 Emisana MUKAMA yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22 Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.
In Other Versions
Exodus 13 in the ANGEFD
Exodus 13 in the ANTPNG2D
Exodus 13 in the AS21
Exodus 13 in the BAGH
Exodus 13 in the BBPNG
Exodus 13 in the BBT1E
Exodus 13 in the BDS
Exodus 13 in the BEV
Exodus 13 in the BHAD
Exodus 13 in the BIB
Exodus 13 in the BLPT
Exodus 13 in the BNT
Exodus 13 in the BNTABOOT
Exodus 13 in the BNTLV
Exodus 13 in the BOATCB
Exodus 13 in the BOATCB2
Exodus 13 in the BOBCV
Exodus 13 in the BOCNT
Exodus 13 in the BOECS
Exodus 13 in the BOGWICC
Exodus 13 in the BOHCB
Exodus 13 in the BOHCV
Exodus 13 in the BOHLNT
Exodus 13 in the BOHNTLTAL
Exodus 13 in the BOICB
Exodus 13 in the BOILNTAP
Exodus 13 in the BOITCV
Exodus 13 in the BOKCV
Exodus 13 in the BOKCV2
Exodus 13 in the BOKHWOG
Exodus 13 in the BOKSSV
Exodus 13 in the BOLCB2
Exodus 13 in the BOMCV
Exodus 13 in the BONAV
Exodus 13 in the BONCB
Exodus 13 in the BONLT
Exodus 13 in the BONUT2
Exodus 13 in the BOPLNT
Exodus 13 in the BOSCB
Exodus 13 in the BOSNC
Exodus 13 in the BOTLNT
Exodus 13 in the BOVCB
Exodus 13 in the BOYCB
Exodus 13 in the BPBB
Exodus 13 in the BPH
Exodus 13 in the BSB
Exodus 13 in the CCB
Exodus 13 in the CUV
Exodus 13 in the CUVS
Exodus 13 in the DBT
Exodus 13 in the DGDNT
Exodus 13 in the DHNT
Exodus 13 in the DNT
Exodus 13 in the ELBE
Exodus 13 in the EMTV
Exodus 13 in the ESV
Exodus 13 in the FBV
Exodus 13 in the FEB
Exodus 13 in the GGMNT
Exodus 13 in the GNT
Exodus 13 in the HARY
Exodus 13 in the HNT
Exodus 13 in the IRVA
Exodus 13 in the IRVB
Exodus 13 in the IRVG
Exodus 13 in the IRVH
Exodus 13 in the IRVK
Exodus 13 in the IRVM
Exodus 13 in the IRVM2
Exodus 13 in the IRVO
Exodus 13 in the IRVP
Exodus 13 in the IRVT
Exodus 13 in the IRVT2
Exodus 13 in the IRVU
Exodus 13 in the ISVN
Exodus 13 in the JSNT
Exodus 13 in the KAPI
Exodus 13 in the KBT1ETNIK
Exodus 13 in the KBV
Exodus 13 in the KJV
Exodus 13 in the KNFD
Exodus 13 in the LBA
Exodus 13 in the LBLA
Exodus 13 in the LNT
Exodus 13 in the LSV
Exodus 13 in the MAAL
Exodus 13 in the MBV
Exodus 13 in the MBV2
Exodus 13 in the MHNT
Exodus 13 in the MKNFD
Exodus 13 in the MNG
Exodus 13 in the MNT
Exodus 13 in the MNT2
Exodus 13 in the MRS1T
Exodus 13 in the NAA
Exodus 13 in the NASB
Exodus 13 in the NBLA
Exodus 13 in the NBS
Exodus 13 in the NBVTP
Exodus 13 in the NET2
Exodus 13 in the NIV11
Exodus 13 in the NNT
Exodus 13 in the NNT2
Exodus 13 in the NNT3
Exodus 13 in the PDDPT
Exodus 13 in the PFNT
Exodus 13 in the RMNT
Exodus 13 in the SBIAS
Exodus 13 in the SBIBS
Exodus 13 in the SBIBS2
Exodus 13 in the SBICS
Exodus 13 in the SBIDS
Exodus 13 in the SBIGS
Exodus 13 in the SBIHS
Exodus 13 in the SBIIS
Exodus 13 in the SBIIS2
Exodus 13 in the SBIIS3
Exodus 13 in the SBIKS
Exodus 13 in the SBIKS2
Exodus 13 in the SBIMS
Exodus 13 in the SBIOS
Exodus 13 in the SBIPS
Exodus 13 in the SBISS
Exodus 13 in the SBITS
Exodus 13 in the SBITS2
Exodus 13 in the SBITS3
Exodus 13 in the SBITS4
Exodus 13 in the SBIUS
Exodus 13 in the SBIVS
Exodus 13 in the SBT
Exodus 13 in the SBT1E
Exodus 13 in the SCHL
Exodus 13 in the SNT
Exodus 13 in the SUSU
Exodus 13 in the SUSU2
Exodus 13 in the SYNO
Exodus 13 in the TBIAOTANT
Exodus 13 in the TBT1E
Exodus 13 in the TBT1E2
Exodus 13 in the TFTIP
Exodus 13 in the TFTU
Exodus 13 in the TGNTATF3T
Exodus 13 in the THAI
Exodus 13 in the TNFD
Exodus 13 in the TNT
Exodus 13 in the TNTIK
Exodus 13 in the TNTIL
Exodus 13 in the TNTIN
Exodus 13 in the TNTIP
Exodus 13 in the TNTIZ
Exodus 13 in the TOMA
Exodus 13 in the TTENT
Exodus 13 in the UBG
Exodus 13 in the UGV
Exodus 13 in the UGV2
Exodus 13 in the UGV3
Exodus 13 in the VBL
Exodus 13 in the VDCC
Exodus 13 in the YALU
Exodus 13 in the YAPE
Exodus 13 in the YBVTP
Exodus 13 in the ZBP