Exodus 20 (BOLCB)

1 Awo Katonda n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti: 2 “Nze MUKAMA Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu. 3 “Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka. 4 Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 5 Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze MUKAMA Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 6 Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo. 7 Tokozesanga linnya lya MUKAMA Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga MUKAMA talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye. 8 Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. 9 Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya MUKAMA Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 Kubanga mu nnaku omukaaga MUKAMA Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. MUKAMA kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza. 12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa. 13 Tottanga. 14 Toyendanga. 15 Tobbanga. 16 Towaayirizanga muntu munno. 17 Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.” 18 Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.” 20 Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.” 21 Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 22 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 23 Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu. 24 “ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. 25 Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange. 26 Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”

In Other Versions

Exodus 20 in the ANGEFD

Exodus 20 in the ANTPNG2D

Exodus 20 in the AS21

Exodus 20 in the BAGH

Exodus 20 in the BBPNG

Exodus 20 in the BBT1E

Exodus 20 in the BDS

Exodus 20 in the BEV

Exodus 20 in the BHAD

Exodus 20 in the BIB

Exodus 20 in the BLPT

Exodus 20 in the BNT

Exodus 20 in the BNTABOOT

Exodus 20 in the BNTLV

Exodus 20 in the BOATCB

Exodus 20 in the BOATCB2

Exodus 20 in the BOBCV

Exodus 20 in the BOCNT

Exodus 20 in the BOECS

Exodus 20 in the BOGWICC

Exodus 20 in the BOHCB

Exodus 20 in the BOHCV

Exodus 20 in the BOHLNT

Exodus 20 in the BOHNTLTAL

Exodus 20 in the BOICB

Exodus 20 in the BOILNTAP

Exodus 20 in the BOITCV

Exodus 20 in the BOKCV

Exodus 20 in the BOKCV2

Exodus 20 in the BOKHWOG

Exodus 20 in the BOKSSV

Exodus 20 in the BOLCB2

Exodus 20 in the BOMCV

Exodus 20 in the BONAV

Exodus 20 in the BONCB

Exodus 20 in the BONLT

Exodus 20 in the BONUT2

Exodus 20 in the BOPLNT

Exodus 20 in the BOSCB

Exodus 20 in the BOSNC

Exodus 20 in the BOTLNT

Exodus 20 in the BOVCB

Exodus 20 in the BOYCB

Exodus 20 in the BPBB

Exodus 20 in the BPH

Exodus 20 in the BSB

Exodus 20 in the CCB

Exodus 20 in the CUV

Exodus 20 in the CUVS

Exodus 20 in the DBT

Exodus 20 in the DGDNT

Exodus 20 in the DHNT

Exodus 20 in the DNT

Exodus 20 in the ELBE

Exodus 20 in the EMTV

Exodus 20 in the ESV

Exodus 20 in the FBV

Exodus 20 in the FEB

Exodus 20 in the GGMNT

Exodus 20 in the GNT

Exodus 20 in the HARY

Exodus 20 in the HNT

Exodus 20 in the IRVA

Exodus 20 in the IRVB

Exodus 20 in the IRVG

Exodus 20 in the IRVH

Exodus 20 in the IRVK

Exodus 20 in the IRVM

Exodus 20 in the IRVM2

Exodus 20 in the IRVO

Exodus 20 in the IRVP

Exodus 20 in the IRVT

Exodus 20 in the IRVT2

Exodus 20 in the IRVU

Exodus 20 in the ISVN

Exodus 20 in the JSNT

Exodus 20 in the KAPI

Exodus 20 in the KBT1ETNIK

Exodus 20 in the KBV

Exodus 20 in the KJV

Exodus 20 in the KNFD

Exodus 20 in the LBA

Exodus 20 in the LBLA

Exodus 20 in the LNT

Exodus 20 in the LSV

Exodus 20 in the MAAL

Exodus 20 in the MBV

Exodus 20 in the MBV2

Exodus 20 in the MHNT

Exodus 20 in the MKNFD

Exodus 20 in the MNG

Exodus 20 in the MNT

Exodus 20 in the MNT2

Exodus 20 in the MRS1T

Exodus 20 in the NAA

Exodus 20 in the NASB

Exodus 20 in the NBLA

Exodus 20 in the NBS

Exodus 20 in the NBVTP

Exodus 20 in the NET2

Exodus 20 in the NIV11

Exodus 20 in the NNT

Exodus 20 in the NNT2

Exodus 20 in the NNT3

Exodus 20 in the PDDPT

Exodus 20 in the PFNT

Exodus 20 in the RMNT

Exodus 20 in the SBIAS

Exodus 20 in the SBIBS

Exodus 20 in the SBIBS2

Exodus 20 in the SBICS

Exodus 20 in the SBIDS

Exodus 20 in the SBIGS

Exodus 20 in the SBIHS

Exodus 20 in the SBIIS

Exodus 20 in the SBIIS2

Exodus 20 in the SBIIS3

Exodus 20 in the SBIKS

Exodus 20 in the SBIKS2

Exodus 20 in the SBIMS

Exodus 20 in the SBIOS

Exodus 20 in the SBIPS

Exodus 20 in the SBISS

Exodus 20 in the SBITS

Exodus 20 in the SBITS2

Exodus 20 in the SBITS3

Exodus 20 in the SBITS4

Exodus 20 in the SBIUS

Exodus 20 in the SBIVS

Exodus 20 in the SBT

Exodus 20 in the SBT1E

Exodus 20 in the SCHL

Exodus 20 in the SNT

Exodus 20 in the SUSU

Exodus 20 in the SUSU2

Exodus 20 in the SYNO

Exodus 20 in the TBIAOTANT

Exodus 20 in the TBT1E

Exodus 20 in the TBT1E2

Exodus 20 in the TFTIP

Exodus 20 in the TFTU

Exodus 20 in the TGNTATF3T

Exodus 20 in the THAI

Exodus 20 in the TNFD

Exodus 20 in the TNT

Exodus 20 in the TNTIK

Exodus 20 in the TNTIL

Exodus 20 in the TNTIN

Exodus 20 in the TNTIP

Exodus 20 in the TNTIZ

Exodus 20 in the TOMA

Exodus 20 in the TTENT

Exodus 20 in the UBG

Exodus 20 in the UGV

Exodus 20 in the UGV2

Exodus 20 in the UGV3

Exodus 20 in the VBL

Exodus 20 in the VDCC

Exodus 20 in the YALU

Exodus 20 in the YAPE

Exodus 20 in the YBVTP

Exodus 20 in the ZBP