Exodus 24 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga, 2 Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.” 3 Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna MUKAMA bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna MUKAMA by’agambye tunaabikola.” 4 Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna MUKAMA bye yayogera.Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali. 5 N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente. 6 Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto. 7 N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna MUKAMA by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.” 8 Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano MUKAMA Katonda gye yabalagira okukwata.” 9 Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka; 10 ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire. 11 Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa. 12 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.” 13 Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda. 14 N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.” 15 Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. 16 Ekitiibwa kya MUKAMA ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu MUKAMA n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire. 17 Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya MUKAMA, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. 18 Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.

In Other Versions

Exodus 24 in the ANGEFD

Exodus 24 in the ANTPNG2D

Exodus 24 in the AS21

Exodus 24 in the BAGH

Exodus 24 in the BBPNG

Exodus 24 in the BBT1E

Exodus 24 in the BDS

Exodus 24 in the BEV

Exodus 24 in the BHAD

Exodus 24 in the BIB

Exodus 24 in the BLPT

Exodus 24 in the BNT

Exodus 24 in the BNTABOOT

Exodus 24 in the BNTLV

Exodus 24 in the BOATCB

Exodus 24 in the BOATCB2

Exodus 24 in the BOBCV

Exodus 24 in the BOCNT

Exodus 24 in the BOECS

Exodus 24 in the BOGWICC

Exodus 24 in the BOHCB

Exodus 24 in the BOHCV

Exodus 24 in the BOHLNT

Exodus 24 in the BOHNTLTAL

Exodus 24 in the BOICB

Exodus 24 in the BOILNTAP

Exodus 24 in the BOITCV

Exodus 24 in the BOKCV

Exodus 24 in the BOKCV2

Exodus 24 in the BOKHWOG

Exodus 24 in the BOKSSV

Exodus 24 in the BOLCB2

Exodus 24 in the BOMCV

Exodus 24 in the BONAV

Exodus 24 in the BONCB

Exodus 24 in the BONLT

Exodus 24 in the BONUT2

Exodus 24 in the BOPLNT

Exodus 24 in the BOSCB

Exodus 24 in the BOSNC

Exodus 24 in the BOTLNT

Exodus 24 in the BOVCB

Exodus 24 in the BOYCB

Exodus 24 in the BPBB

Exodus 24 in the BPH

Exodus 24 in the BSB

Exodus 24 in the CCB

Exodus 24 in the CUV

Exodus 24 in the CUVS

Exodus 24 in the DBT

Exodus 24 in the DGDNT

Exodus 24 in the DHNT

Exodus 24 in the DNT

Exodus 24 in the ELBE

Exodus 24 in the EMTV

Exodus 24 in the ESV

Exodus 24 in the FBV

Exodus 24 in the FEB

Exodus 24 in the GGMNT

Exodus 24 in the GNT

Exodus 24 in the HARY

Exodus 24 in the HNT

Exodus 24 in the IRVA

Exodus 24 in the IRVB

Exodus 24 in the IRVG

Exodus 24 in the IRVH

Exodus 24 in the IRVK

Exodus 24 in the IRVM

Exodus 24 in the IRVM2

Exodus 24 in the IRVO

Exodus 24 in the IRVP

Exodus 24 in the IRVT

Exodus 24 in the IRVT2

Exodus 24 in the IRVU

Exodus 24 in the ISVN

Exodus 24 in the JSNT

Exodus 24 in the KAPI

Exodus 24 in the KBT1ETNIK

Exodus 24 in the KBV

Exodus 24 in the KJV

Exodus 24 in the KNFD

Exodus 24 in the LBA

Exodus 24 in the LBLA

Exodus 24 in the LNT

Exodus 24 in the LSV

Exodus 24 in the MAAL

Exodus 24 in the MBV

Exodus 24 in the MBV2

Exodus 24 in the MHNT

Exodus 24 in the MKNFD

Exodus 24 in the MNG

Exodus 24 in the MNT

Exodus 24 in the MNT2

Exodus 24 in the MRS1T

Exodus 24 in the NAA

Exodus 24 in the NASB

Exodus 24 in the NBLA

Exodus 24 in the NBS

Exodus 24 in the NBVTP

Exodus 24 in the NET2

Exodus 24 in the NIV11

Exodus 24 in the NNT

Exodus 24 in the NNT2

Exodus 24 in the NNT3

Exodus 24 in the PDDPT

Exodus 24 in the PFNT

Exodus 24 in the RMNT

Exodus 24 in the SBIAS

Exodus 24 in the SBIBS

Exodus 24 in the SBIBS2

Exodus 24 in the SBICS

Exodus 24 in the SBIDS

Exodus 24 in the SBIGS

Exodus 24 in the SBIHS

Exodus 24 in the SBIIS

Exodus 24 in the SBIIS2

Exodus 24 in the SBIIS3

Exodus 24 in the SBIKS

Exodus 24 in the SBIKS2

Exodus 24 in the SBIMS

Exodus 24 in the SBIOS

Exodus 24 in the SBIPS

Exodus 24 in the SBISS

Exodus 24 in the SBITS

Exodus 24 in the SBITS2

Exodus 24 in the SBITS3

Exodus 24 in the SBITS4

Exodus 24 in the SBIUS

Exodus 24 in the SBIVS

Exodus 24 in the SBT

Exodus 24 in the SBT1E

Exodus 24 in the SCHL

Exodus 24 in the SNT

Exodus 24 in the SUSU

Exodus 24 in the SUSU2

Exodus 24 in the SYNO

Exodus 24 in the TBIAOTANT

Exodus 24 in the TBT1E

Exodus 24 in the TBT1E2

Exodus 24 in the TFTIP

Exodus 24 in the TFTU

Exodus 24 in the TGNTATF3T

Exodus 24 in the THAI

Exodus 24 in the TNFD

Exodus 24 in the TNT

Exodus 24 in the TNTIK

Exodus 24 in the TNTIL

Exodus 24 in the TNTIN

Exodus 24 in the TNTIP

Exodus 24 in the TNTIZ

Exodus 24 in the TOMA

Exodus 24 in the TTENT

Exodus 24 in the UBG

Exodus 24 in the UGV

Exodus 24 in the UGV2

Exodus 24 in the UGV3

Exodus 24 in the VBL

Exodus 24 in the VDCC

Exodus 24 in the YALU

Exodus 24 in the YAPE

Exodus 24 in the YBVTP

Exodus 24 in the ZBP