Exodus 5 (BOLCB)
1 Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa MUKAMA Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ” 2 Naye Falaawo n’abaddamu nti, “MUKAMA ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri okugenda? MUKAMA ssimumanyi, era sijja kubakkiriza kugenda.” 3 Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri MUKAMA Katonda waffe; aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.” 4 Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” 5 Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.” 6 Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu nti, 7 “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe. 8 Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9 Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.” 10 Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11 Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12 Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13 Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 14 Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?” 15 Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri MUKAMA.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.” 19 Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20 Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21 Bannampala ne babagamba nti, “MUKAMA abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.” 22 Awo Musa n’akomawo awali MUKAMA, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma? 23 Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”
In Other Versions
Exodus 5 in the ANGEFD
Exodus 5 in the ANTPNG2D
Exodus 5 in the AS21
Exodus 5 in the BAGH
Exodus 5 in the BBPNG
Exodus 5 in the BBT1E
Exodus 5 in the BDS
Exodus 5 in the BEV
Exodus 5 in the BHAD
Exodus 5 in the BIB
Exodus 5 in the BLPT
Exodus 5 in the BNT
Exodus 5 in the BNTABOOT
Exodus 5 in the BNTLV
Exodus 5 in the BOATCB
Exodus 5 in the BOATCB2
Exodus 5 in the BOBCV
Exodus 5 in the BOCNT
Exodus 5 in the BOECS
Exodus 5 in the BOGWICC
Exodus 5 in the BOHCB
Exodus 5 in the BOHCV
Exodus 5 in the BOHLNT
Exodus 5 in the BOHNTLTAL
Exodus 5 in the BOICB
Exodus 5 in the BOILNTAP
Exodus 5 in the BOITCV
Exodus 5 in the BOKCV
Exodus 5 in the BOKCV2
Exodus 5 in the BOKHWOG
Exodus 5 in the BOKSSV
Exodus 5 in the BOLCB2
Exodus 5 in the BOMCV
Exodus 5 in the BONAV
Exodus 5 in the BONCB
Exodus 5 in the BONLT
Exodus 5 in the BONUT2
Exodus 5 in the BOPLNT
Exodus 5 in the BOSCB
Exodus 5 in the BOSNC
Exodus 5 in the BOTLNT
Exodus 5 in the BOVCB
Exodus 5 in the BOYCB
Exodus 5 in the BPBB
Exodus 5 in the BPH
Exodus 5 in the BSB
Exodus 5 in the CCB
Exodus 5 in the CUV
Exodus 5 in the CUVS
Exodus 5 in the DBT
Exodus 5 in the DGDNT
Exodus 5 in the DHNT
Exodus 5 in the DNT
Exodus 5 in the ELBE
Exodus 5 in the EMTV
Exodus 5 in the ESV
Exodus 5 in the FBV
Exodus 5 in the FEB
Exodus 5 in the GGMNT
Exodus 5 in the GNT
Exodus 5 in the HARY
Exodus 5 in the HNT
Exodus 5 in the IRVA
Exodus 5 in the IRVB
Exodus 5 in the IRVG
Exodus 5 in the IRVH
Exodus 5 in the IRVK
Exodus 5 in the IRVM
Exodus 5 in the IRVM2
Exodus 5 in the IRVO
Exodus 5 in the IRVP
Exodus 5 in the IRVT
Exodus 5 in the IRVT2
Exodus 5 in the IRVU
Exodus 5 in the ISVN
Exodus 5 in the JSNT
Exodus 5 in the KAPI
Exodus 5 in the KBT1ETNIK
Exodus 5 in the KBV
Exodus 5 in the KJV
Exodus 5 in the KNFD
Exodus 5 in the LBA
Exodus 5 in the LBLA
Exodus 5 in the LNT
Exodus 5 in the LSV
Exodus 5 in the MAAL
Exodus 5 in the MBV
Exodus 5 in the MBV2
Exodus 5 in the MHNT
Exodus 5 in the MKNFD
Exodus 5 in the MNG
Exodus 5 in the MNT
Exodus 5 in the MNT2
Exodus 5 in the MRS1T
Exodus 5 in the NAA
Exodus 5 in the NASB
Exodus 5 in the NBLA
Exodus 5 in the NBS
Exodus 5 in the NBVTP
Exodus 5 in the NET2
Exodus 5 in the NIV11
Exodus 5 in the NNT
Exodus 5 in the NNT2
Exodus 5 in the NNT3
Exodus 5 in the PDDPT
Exodus 5 in the PFNT
Exodus 5 in the RMNT
Exodus 5 in the SBIAS
Exodus 5 in the SBIBS
Exodus 5 in the SBIBS2
Exodus 5 in the SBICS
Exodus 5 in the SBIDS
Exodus 5 in the SBIGS
Exodus 5 in the SBIHS
Exodus 5 in the SBIIS
Exodus 5 in the SBIIS2
Exodus 5 in the SBIIS3
Exodus 5 in the SBIKS
Exodus 5 in the SBIKS2
Exodus 5 in the SBIMS
Exodus 5 in the SBIOS
Exodus 5 in the SBIPS
Exodus 5 in the SBISS
Exodus 5 in the SBITS
Exodus 5 in the SBITS2
Exodus 5 in the SBITS3
Exodus 5 in the SBITS4
Exodus 5 in the SBIUS
Exodus 5 in the SBIVS
Exodus 5 in the SBT
Exodus 5 in the SBT1E
Exodus 5 in the SCHL
Exodus 5 in the SNT
Exodus 5 in the SUSU
Exodus 5 in the SUSU2
Exodus 5 in the SYNO
Exodus 5 in the TBIAOTANT
Exodus 5 in the TBT1E
Exodus 5 in the TBT1E2
Exodus 5 in the TFTIP
Exodus 5 in the TFTU
Exodus 5 in the TGNTATF3T
Exodus 5 in the THAI
Exodus 5 in the TNFD
Exodus 5 in the TNT
Exodus 5 in the TNTIK
Exodus 5 in the TNTIL
Exodus 5 in the TNTIN
Exodus 5 in the TNTIP
Exodus 5 in the TNTIZ
Exodus 5 in the TOMA
Exodus 5 in the TTENT
Exodus 5 in the UBG
Exodus 5 in the UGV
Exodus 5 in the UGV2
Exodus 5 in the UGV3
Exodus 5 in the VBL
Exodus 5 in the VDCC
Exodus 5 in the YALU
Exodus 5 in the YAPE
Exodus 5 in the YBVTP
Exodus 5 in the ZBP