Ezekiel 1 (BOLCB)

1 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. 2 Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, 3 ekigambo kya MUKAMA ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa MUKAMA gwali ku ye. 4 Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. 5 Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. 6 Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. 7 Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. 8 Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, 9 era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega. 10 Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu. 15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo, zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso. 19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga. 22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. 24 Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo. 25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya MUKAMA.Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

In Other Versions

Ezekiel 1 in the ANGEFD

Ezekiel 1 in the ANTPNG2D

Ezekiel 1 in the AS21

Ezekiel 1 in the BAGH

Ezekiel 1 in the BBPNG

Ezekiel 1 in the BBT1E

Ezekiel 1 in the BDS

Ezekiel 1 in the BEV

Ezekiel 1 in the BHAD

Ezekiel 1 in the BIB

Ezekiel 1 in the BLPT

Ezekiel 1 in the BNT

Ezekiel 1 in the BNTABOOT

Ezekiel 1 in the BNTLV

Ezekiel 1 in the BOATCB

Ezekiel 1 in the BOATCB2

Ezekiel 1 in the BOBCV

Ezekiel 1 in the BOCNT

Ezekiel 1 in the BOECS

Ezekiel 1 in the BOGWICC

Ezekiel 1 in the BOHCB

Ezekiel 1 in the BOHCV

Ezekiel 1 in the BOHLNT

Ezekiel 1 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 1 in the BOICB

Ezekiel 1 in the BOILNTAP

Ezekiel 1 in the BOITCV

Ezekiel 1 in the BOKCV

Ezekiel 1 in the BOKCV2

Ezekiel 1 in the BOKHWOG

Ezekiel 1 in the BOKSSV

Ezekiel 1 in the BOLCB2

Ezekiel 1 in the BOMCV

Ezekiel 1 in the BONAV

Ezekiel 1 in the BONCB

Ezekiel 1 in the BONLT

Ezekiel 1 in the BONUT2

Ezekiel 1 in the BOPLNT

Ezekiel 1 in the BOSCB

Ezekiel 1 in the BOSNC

Ezekiel 1 in the BOTLNT

Ezekiel 1 in the BOVCB

Ezekiel 1 in the BOYCB

Ezekiel 1 in the BPBB

Ezekiel 1 in the BPH

Ezekiel 1 in the BSB

Ezekiel 1 in the CCB

Ezekiel 1 in the CUV

Ezekiel 1 in the CUVS

Ezekiel 1 in the DBT

Ezekiel 1 in the DGDNT

Ezekiel 1 in the DHNT

Ezekiel 1 in the DNT

Ezekiel 1 in the ELBE

Ezekiel 1 in the EMTV

Ezekiel 1 in the ESV

Ezekiel 1 in the FBV

Ezekiel 1 in the FEB

Ezekiel 1 in the GGMNT

Ezekiel 1 in the GNT

Ezekiel 1 in the HARY

Ezekiel 1 in the HNT

Ezekiel 1 in the IRVA

Ezekiel 1 in the IRVB

Ezekiel 1 in the IRVG

Ezekiel 1 in the IRVH

Ezekiel 1 in the IRVK

Ezekiel 1 in the IRVM

Ezekiel 1 in the IRVM2

Ezekiel 1 in the IRVO

Ezekiel 1 in the IRVP

Ezekiel 1 in the IRVT

Ezekiel 1 in the IRVT2

Ezekiel 1 in the IRVU

Ezekiel 1 in the ISVN

Ezekiel 1 in the JSNT

Ezekiel 1 in the KAPI

Ezekiel 1 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 1 in the KBV

Ezekiel 1 in the KJV

Ezekiel 1 in the KNFD

Ezekiel 1 in the LBA

Ezekiel 1 in the LBLA

Ezekiel 1 in the LNT

Ezekiel 1 in the LSV

Ezekiel 1 in the MAAL

Ezekiel 1 in the MBV

Ezekiel 1 in the MBV2

Ezekiel 1 in the MHNT

Ezekiel 1 in the MKNFD

Ezekiel 1 in the MNG

Ezekiel 1 in the MNT

Ezekiel 1 in the MNT2

Ezekiel 1 in the MRS1T

Ezekiel 1 in the NAA

Ezekiel 1 in the NASB

Ezekiel 1 in the NBLA

Ezekiel 1 in the NBS

Ezekiel 1 in the NBVTP

Ezekiel 1 in the NET2

Ezekiel 1 in the NIV11

Ezekiel 1 in the NNT

Ezekiel 1 in the NNT2

Ezekiel 1 in the NNT3

Ezekiel 1 in the PDDPT

Ezekiel 1 in the PFNT

Ezekiel 1 in the RMNT

Ezekiel 1 in the SBIAS

Ezekiel 1 in the SBIBS

Ezekiel 1 in the SBIBS2

Ezekiel 1 in the SBICS

Ezekiel 1 in the SBIDS

Ezekiel 1 in the SBIGS

Ezekiel 1 in the SBIHS

Ezekiel 1 in the SBIIS

Ezekiel 1 in the SBIIS2

Ezekiel 1 in the SBIIS3

Ezekiel 1 in the SBIKS

Ezekiel 1 in the SBIKS2

Ezekiel 1 in the SBIMS

Ezekiel 1 in the SBIOS

Ezekiel 1 in the SBIPS

Ezekiel 1 in the SBISS

Ezekiel 1 in the SBITS

Ezekiel 1 in the SBITS2

Ezekiel 1 in the SBITS3

Ezekiel 1 in the SBITS4

Ezekiel 1 in the SBIUS

Ezekiel 1 in the SBIVS

Ezekiel 1 in the SBT

Ezekiel 1 in the SBT1E

Ezekiel 1 in the SCHL

Ezekiel 1 in the SNT

Ezekiel 1 in the SUSU

Ezekiel 1 in the SUSU2

Ezekiel 1 in the SYNO

Ezekiel 1 in the TBIAOTANT

Ezekiel 1 in the TBT1E

Ezekiel 1 in the TBT1E2

Ezekiel 1 in the TFTIP

Ezekiel 1 in the TFTU

Ezekiel 1 in the TGNTATF3T

Ezekiel 1 in the THAI

Ezekiel 1 in the TNFD

Ezekiel 1 in the TNT

Ezekiel 1 in the TNTIK

Ezekiel 1 in the TNTIL

Ezekiel 1 in the TNTIN

Ezekiel 1 in the TNTIP

Ezekiel 1 in the TNTIZ

Ezekiel 1 in the TOMA

Ezekiel 1 in the TTENT

Ezekiel 1 in the UBG

Ezekiel 1 in the UGV

Ezekiel 1 in the UGV2

Ezekiel 1 in the UGV3

Ezekiel 1 in the VBL

Ezekiel 1 in the VDCC

Ezekiel 1 in the YALU

Ezekiel 1 in the YAPE

Ezekiel 1 in the YBVTP

Ezekiel 1 in the ZBP