Ezekiel 11 (BOLCB)
1 Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya MUKAMA. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. 2 MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. 3 Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ 4 Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.” 5 Awo Omwoyo wa MUKAMA n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. 6 Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu. 7 “MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. 8 Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 9 Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 10 Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze MUKAMA. 11 Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 12 Mulitegeera nga nze MUKAMA, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.” 13 Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi MUKAMA Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?” 14 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 15 “Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne MUKAMA, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ” 16 “Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 17 Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’ 18 “Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 21 Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera MUKAMA Katonda.” 22 Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 23 Ekitiibwa kya MUKAMA ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 24 Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 25 Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna MUKAMA bye yali andaze.
In Other Versions
Ezekiel 11 in the ANGEFD
Ezekiel 11 in the ANTPNG2D
Ezekiel 11 in the AS21
Ezekiel 11 in the BAGH
Ezekiel 11 in the BBPNG
Ezekiel 11 in the BBT1E
Ezekiel 11 in the BDS
Ezekiel 11 in the BEV
Ezekiel 11 in the BHAD
Ezekiel 11 in the BIB
Ezekiel 11 in the BLPT
Ezekiel 11 in the BNT
Ezekiel 11 in the BNTABOOT
Ezekiel 11 in the BNTLV
Ezekiel 11 in the BOATCB
Ezekiel 11 in the BOATCB2
Ezekiel 11 in the BOBCV
Ezekiel 11 in the BOCNT
Ezekiel 11 in the BOECS
Ezekiel 11 in the BOGWICC
Ezekiel 11 in the BOHCB
Ezekiel 11 in the BOHCV
Ezekiel 11 in the BOHLNT
Ezekiel 11 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 11 in the BOICB
Ezekiel 11 in the BOILNTAP
Ezekiel 11 in the BOITCV
Ezekiel 11 in the BOKCV
Ezekiel 11 in the BOKCV2
Ezekiel 11 in the BOKHWOG
Ezekiel 11 in the BOKSSV
Ezekiel 11 in the BOLCB2
Ezekiel 11 in the BOMCV
Ezekiel 11 in the BONAV
Ezekiel 11 in the BONCB
Ezekiel 11 in the BONLT
Ezekiel 11 in the BONUT2
Ezekiel 11 in the BOPLNT
Ezekiel 11 in the BOSCB
Ezekiel 11 in the BOSNC
Ezekiel 11 in the BOTLNT
Ezekiel 11 in the BOVCB
Ezekiel 11 in the BOYCB
Ezekiel 11 in the BPBB
Ezekiel 11 in the BPH
Ezekiel 11 in the BSB
Ezekiel 11 in the CCB
Ezekiel 11 in the CUV
Ezekiel 11 in the CUVS
Ezekiel 11 in the DBT
Ezekiel 11 in the DGDNT
Ezekiel 11 in the DHNT
Ezekiel 11 in the DNT
Ezekiel 11 in the ELBE
Ezekiel 11 in the EMTV
Ezekiel 11 in the ESV
Ezekiel 11 in the FBV
Ezekiel 11 in the FEB
Ezekiel 11 in the GGMNT
Ezekiel 11 in the GNT
Ezekiel 11 in the HARY
Ezekiel 11 in the HNT
Ezekiel 11 in the IRVA
Ezekiel 11 in the IRVB
Ezekiel 11 in the IRVG
Ezekiel 11 in the IRVH
Ezekiel 11 in the IRVK
Ezekiel 11 in the IRVM
Ezekiel 11 in the IRVM2
Ezekiel 11 in the IRVO
Ezekiel 11 in the IRVP
Ezekiel 11 in the IRVT
Ezekiel 11 in the IRVT2
Ezekiel 11 in the IRVU
Ezekiel 11 in the ISVN
Ezekiel 11 in the JSNT
Ezekiel 11 in the KAPI
Ezekiel 11 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 11 in the KBV
Ezekiel 11 in the KJV
Ezekiel 11 in the KNFD
Ezekiel 11 in the LBA
Ezekiel 11 in the LBLA
Ezekiel 11 in the LNT
Ezekiel 11 in the LSV
Ezekiel 11 in the MAAL
Ezekiel 11 in the MBV
Ezekiel 11 in the MBV2
Ezekiel 11 in the MHNT
Ezekiel 11 in the MKNFD
Ezekiel 11 in the MNG
Ezekiel 11 in the MNT
Ezekiel 11 in the MNT2
Ezekiel 11 in the MRS1T
Ezekiel 11 in the NAA
Ezekiel 11 in the NASB
Ezekiel 11 in the NBLA
Ezekiel 11 in the NBS
Ezekiel 11 in the NBVTP
Ezekiel 11 in the NET2
Ezekiel 11 in the NIV11
Ezekiel 11 in the NNT
Ezekiel 11 in the NNT2
Ezekiel 11 in the NNT3
Ezekiel 11 in the PDDPT
Ezekiel 11 in the PFNT
Ezekiel 11 in the RMNT
Ezekiel 11 in the SBIAS
Ezekiel 11 in the SBIBS
Ezekiel 11 in the SBIBS2
Ezekiel 11 in the SBICS
Ezekiel 11 in the SBIDS
Ezekiel 11 in the SBIGS
Ezekiel 11 in the SBIHS
Ezekiel 11 in the SBIIS
Ezekiel 11 in the SBIIS2
Ezekiel 11 in the SBIIS3
Ezekiel 11 in the SBIKS
Ezekiel 11 in the SBIKS2
Ezekiel 11 in the SBIMS
Ezekiel 11 in the SBIOS
Ezekiel 11 in the SBIPS
Ezekiel 11 in the SBISS
Ezekiel 11 in the SBITS
Ezekiel 11 in the SBITS2
Ezekiel 11 in the SBITS3
Ezekiel 11 in the SBITS4
Ezekiel 11 in the SBIUS
Ezekiel 11 in the SBIVS
Ezekiel 11 in the SBT
Ezekiel 11 in the SBT1E
Ezekiel 11 in the SCHL
Ezekiel 11 in the SNT
Ezekiel 11 in the SUSU
Ezekiel 11 in the SUSU2
Ezekiel 11 in the SYNO
Ezekiel 11 in the TBIAOTANT
Ezekiel 11 in the TBT1E
Ezekiel 11 in the TBT1E2
Ezekiel 11 in the TFTIP
Ezekiel 11 in the TFTU
Ezekiel 11 in the TGNTATF3T
Ezekiel 11 in the THAI
Ezekiel 11 in the TNFD
Ezekiel 11 in the TNT
Ezekiel 11 in the TNTIK
Ezekiel 11 in the TNTIL
Ezekiel 11 in the TNTIN
Ezekiel 11 in the TNTIP
Ezekiel 11 in the TNTIZ
Ezekiel 11 in the TOMA
Ezekiel 11 in the TTENT
Ezekiel 11 in the UBG
Ezekiel 11 in the UGV
Ezekiel 11 in the UGV2
Ezekiel 11 in the UGV3
Ezekiel 11 in the VBL
Ezekiel 11 in the VDCC
Ezekiel 11 in the YALU
Ezekiel 11 in the YAPE
Ezekiel 11 in the YBVTP
Ezekiel 11 in the ZBP