Ezekiel 34 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? 3 Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. 4 Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. 5 Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. 6 Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza. 7 “ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya MUKAMA: 8 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera MUKAMA Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, 9 kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya MUKAMA. 10 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe. 11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. 12 Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. 14 Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. 15 Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 16 Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya. 17 “ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi. 18 Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe! 19 Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe? 20 “ ‘MUKAMA Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu. 21 Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, 22 ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga. 23 Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. 24 Nze MUKAMA ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze MUKAMA njogedde. 25 “ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. 26 Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. 27 Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze MUKAMA bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. 28 Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa. 29 Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga. 30 Era zirimanya nga nze MUKAMA Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 31 Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera MUKAMA Katonda.’ ”

In Other Versions

Ezekiel 34 in the ANGEFD

Ezekiel 34 in the ANTPNG2D

Ezekiel 34 in the AS21

Ezekiel 34 in the BAGH

Ezekiel 34 in the BBPNG

Ezekiel 34 in the BBT1E

Ezekiel 34 in the BDS

Ezekiel 34 in the BEV

Ezekiel 34 in the BHAD

Ezekiel 34 in the BIB

Ezekiel 34 in the BLPT

Ezekiel 34 in the BNT

Ezekiel 34 in the BNTABOOT

Ezekiel 34 in the BNTLV

Ezekiel 34 in the BOATCB

Ezekiel 34 in the BOATCB2

Ezekiel 34 in the BOBCV

Ezekiel 34 in the BOCNT

Ezekiel 34 in the BOECS

Ezekiel 34 in the BOGWICC

Ezekiel 34 in the BOHCB

Ezekiel 34 in the BOHCV

Ezekiel 34 in the BOHLNT

Ezekiel 34 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 34 in the BOICB

Ezekiel 34 in the BOILNTAP

Ezekiel 34 in the BOITCV

Ezekiel 34 in the BOKCV

Ezekiel 34 in the BOKCV2

Ezekiel 34 in the BOKHWOG

Ezekiel 34 in the BOKSSV

Ezekiel 34 in the BOLCB2

Ezekiel 34 in the BOMCV

Ezekiel 34 in the BONAV

Ezekiel 34 in the BONCB

Ezekiel 34 in the BONLT

Ezekiel 34 in the BONUT2

Ezekiel 34 in the BOPLNT

Ezekiel 34 in the BOSCB

Ezekiel 34 in the BOSNC

Ezekiel 34 in the BOTLNT

Ezekiel 34 in the BOVCB

Ezekiel 34 in the BOYCB

Ezekiel 34 in the BPBB

Ezekiel 34 in the BPH

Ezekiel 34 in the BSB

Ezekiel 34 in the CCB

Ezekiel 34 in the CUV

Ezekiel 34 in the CUVS

Ezekiel 34 in the DBT

Ezekiel 34 in the DGDNT

Ezekiel 34 in the DHNT

Ezekiel 34 in the DNT

Ezekiel 34 in the ELBE

Ezekiel 34 in the EMTV

Ezekiel 34 in the ESV

Ezekiel 34 in the FBV

Ezekiel 34 in the FEB

Ezekiel 34 in the GGMNT

Ezekiel 34 in the GNT

Ezekiel 34 in the HARY

Ezekiel 34 in the HNT

Ezekiel 34 in the IRVA

Ezekiel 34 in the IRVB

Ezekiel 34 in the IRVG

Ezekiel 34 in the IRVH

Ezekiel 34 in the IRVK

Ezekiel 34 in the IRVM

Ezekiel 34 in the IRVM2

Ezekiel 34 in the IRVO

Ezekiel 34 in the IRVP

Ezekiel 34 in the IRVT

Ezekiel 34 in the IRVT2

Ezekiel 34 in the IRVU

Ezekiel 34 in the ISVN

Ezekiel 34 in the JSNT

Ezekiel 34 in the KAPI

Ezekiel 34 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 34 in the KBV

Ezekiel 34 in the KJV

Ezekiel 34 in the KNFD

Ezekiel 34 in the LBA

Ezekiel 34 in the LBLA

Ezekiel 34 in the LNT

Ezekiel 34 in the LSV

Ezekiel 34 in the MAAL

Ezekiel 34 in the MBV

Ezekiel 34 in the MBV2

Ezekiel 34 in the MHNT

Ezekiel 34 in the MKNFD

Ezekiel 34 in the MNG

Ezekiel 34 in the MNT

Ezekiel 34 in the MNT2

Ezekiel 34 in the MRS1T

Ezekiel 34 in the NAA

Ezekiel 34 in the NASB

Ezekiel 34 in the NBLA

Ezekiel 34 in the NBS

Ezekiel 34 in the NBVTP

Ezekiel 34 in the NET2

Ezekiel 34 in the NIV11

Ezekiel 34 in the NNT

Ezekiel 34 in the NNT2

Ezekiel 34 in the NNT3

Ezekiel 34 in the PDDPT

Ezekiel 34 in the PFNT

Ezekiel 34 in the RMNT

Ezekiel 34 in the SBIAS

Ezekiel 34 in the SBIBS

Ezekiel 34 in the SBIBS2

Ezekiel 34 in the SBICS

Ezekiel 34 in the SBIDS

Ezekiel 34 in the SBIGS

Ezekiel 34 in the SBIHS

Ezekiel 34 in the SBIIS

Ezekiel 34 in the SBIIS2

Ezekiel 34 in the SBIIS3

Ezekiel 34 in the SBIKS

Ezekiel 34 in the SBIKS2

Ezekiel 34 in the SBIMS

Ezekiel 34 in the SBIOS

Ezekiel 34 in the SBIPS

Ezekiel 34 in the SBISS

Ezekiel 34 in the SBITS

Ezekiel 34 in the SBITS2

Ezekiel 34 in the SBITS3

Ezekiel 34 in the SBITS4

Ezekiel 34 in the SBIUS

Ezekiel 34 in the SBIVS

Ezekiel 34 in the SBT

Ezekiel 34 in the SBT1E

Ezekiel 34 in the SCHL

Ezekiel 34 in the SNT

Ezekiel 34 in the SUSU

Ezekiel 34 in the SUSU2

Ezekiel 34 in the SYNO

Ezekiel 34 in the TBIAOTANT

Ezekiel 34 in the TBT1E

Ezekiel 34 in the TBT1E2

Ezekiel 34 in the TFTIP

Ezekiel 34 in the TFTU

Ezekiel 34 in the TGNTATF3T

Ezekiel 34 in the THAI

Ezekiel 34 in the TNFD

Ezekiel 34 in the TNT

Ezekiel 34 in the TNTIK

Ezekiel 34 in the TNTIL

Ezekiel 34 in the TNTIN

Ezekiel 34 in the TNTIP

Ezekiel 34 in the TNTIZ

Ezekiel 34 in the TOMA

Ezekiel 34 in the TTENT

Ezekiel 34 in the UBG

Ezekiel 34 in the UGV

Ezekiel 34 in the UGV2

Ezekiel 34 in the UGV3

Ezekiel 34 in the VBL

Ezekiel 34 in the VDCC

Ezekiel 34 in the YALU

Ezekiel 34 in the YAPE

Ezekiel 34 in the YBVTP

Ezekiel 34 in the ZBP