Ezekiel 39 (BOLCB)

1 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. 2 Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri. 3 Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; n’obusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza. 4 Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo. 5 Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 6 Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lw’ennyanja; balyoke bamanye nga nze MUKAMA. 7 “ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze MUKAMA, Omutukuvu mu Isirayiri. 8 Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera MUKAMA Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako. 9 “ ‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu. 10 Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 11 “ ‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo. Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi. 12 “ ‘Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi. 13 Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 14 Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu.“ ‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa. 15 Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi. 16 (Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’ 17 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi. 18 Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani. 19 Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera. 20 Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera MUKAMA Katonda. 21 “Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze MUKAMA Katonda waabwe. 23 N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 24 Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange. 25 “Noolwekyo MUKAMA Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 26 Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 27 Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28 Olwo balimanya nga nze MUKAMA Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 29 Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera MUKAMA Katonda.”

In Other Versions

Ezekiel 39 in the ANGEFD

Ezekiel 39 in the ANTPNG2D

Ezekiel 39 in the AS21

Ezekiel 39 in the BAGH

Ezekiel 39 in the BBPNG

Ezekiel 39 in the BBT1E

Ezekiel 39 in the BDS

Ezekiel 39 in the BEV

Ezekiel 39 in the BHAD

Ezekiel 39 in the BIB

Ezekiel 39 in the BLPT

Ezekiel 39 in the BNT

Ezekiel 39 in the BNTABOOT

Ezekiel 39 in the BNTLV

Ezekiel 39 in the BOATCB

Ezekiel 39 in the BOATCB2

Ezekiel 39 in the BOBCV

Ezekiel 39 in the BOCNT

Ezekiel 39 in the BOECS

Ezekiel 39 in the BOGWICC

Ezekiel 39 in the BOHCB

Ezekiel 39 in the BOHCV

Ezekiel 39 in the BOHLNT

Ezekiel 39 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 39 in the BOICB

Ezekiel 39 in the BOILNTAP

Ezekiel 39 in the BOITCV

Ezekiel 39 in the BOKCV

Ezekiel 39 in the BOKCV2

Ezekiel 39 in the BOKHWOG

Ezekiel 39 in the BOKSSV

Ezekiel 39 in the BOLCB2

Ezekiel 39 in the BOMCV

Ezekiel 39 in the BONAV

Ezekiel 39 in the BONCB

Ezekiel 39 in the BONLT

Ezekiel 39 in the BONUT2

Ezekiel 39 in the BOPLNT

Ezekiel 39 in the BOSCB

Ezekiel 39 in the BOSNC

Ezekiel 39 in the BOTLNT

Ezekiel 39 in the BOVCB

Ezekiel 39 in the BOYCB

Ezekiel 39 in the BPBB

Ezekiel 39 in the BPH

Ezekiel 39 in the BSB

Ezekiel 39 in the CCB

Ezekiel 39 in the CUV

Ezekiel 39 in the CUVS

Ezekiel 39 in the DBT

Ezekiel 39 in the DGDNT

Ezekiel 39 in the DHNT

Ezekiel 39 in the DNT

Ezekiel 39 in the ELBE

Ezekiel 39 in the EMTV

Ezekiel 39 in the ESV

Ezekiel 39 in the FBV

Ezekiel 39 in the FEB

Ezekiel 39 in the GGMNT

Ezekiel 39 in the GNT

Ezekiel 39 in the HARY

Ezekiel 39 in the HNT

Ezekiel 39 in the IRVA

Ezekiel 39 in the IRVB

Ezekiel 39 in the IRVG

Ezekiel 39 in the IRVH

Ezekiel 39 in the IRVK

Ezekiel 39 in the IRVM

Ezekiel 39 in the IRVM2

Ezekiel 39 in the IRVO

Ezekiel 39 in the IRVP

Ezekiel 39 in the IRVT

Ezekiel 39 in the IRVT2

Ezekiel 39 in the IRVU

Ezekiel 39 in the ISVN

Ezekiel 39 in the JSNT

Ezekiel 39 in the KAPI

Ezekiel 39 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 39 in the KBV

Ezekiel 39 in the KJV

Ezekiel 39 in the KNFD

Ezekiel 39 in the LBA

Ezekiel 39 in the LBLA

Ezekiel 39 in the LNT

Ezekiel 39 in the LSV

Ezekiel 39 in the MAAL

Ezekiel 39 in the MBV

Ezekiel 39 in the MBV2

Ezekiel 39 in the MHNT

Ezekiel 39 in the MKNFD

Ezekiel 39 in the MNG

Ezekiel 39 in the MNT

Ezekiel 39 in the MNT2

Ezekiel 39 in the MRS1T

Ezekiel 39 in the NAA

Ezekiel 39 in the NASB

Ezekiel 39 in the NBLA

Ezekiel 39 in the NBS

Ezekiel 39 in the NBVTP

Ezekiel 39 in the NET2

Ezekiel 39 in the NIV11

Ezekiel 39 in the NNT

Ezekiel 39 in the NNT2

Ezekiel 39 in the NNT3

Ezekiel 39 in the PDDPT

Ezekiel 39 in the PFNT

Ezekiel 39 in the RMNT

Ezekiel 39 in the SBIAS

Ezekiel 39 in the SBIBS

Ezekiel 39 in the SBIBS2

Ezekiel 39 in the SBICS

Ezekiel 39 in the SBIDS

Ezekiel 39 in the SBIGS

Ezekiel 39 in the SBIHS

Ezekiel 39 in the SBIIS

Ezekiel 39 in the SBIIS2

Ezekiel 39 in the SBIIS3

Ezekiel 39 in the SBIKS

Ezekiel 39 in the SBIKS2

Ezekiel 39 in the SBIMS

Ezekiel 39 in the SBIOS

Ezekiel 39 in the SBIPS

Ezekiel 39 in the SBISS

Ezekiel 39 in the SBITS

Ezekiel 39 in the SBITS2

Ezekiel 39 in the SBITS3

Ezekiel 39 in the SBITS4

Ezekiel 39 in the SBIUS

Ezekiel 39 in the SBIVS

Ezekiel 39 in the SBT

Ezekiel 39 in the SBT1E

Ezekiel 39 in the SCHL

Ezekiel 39 in the SNT

Ezekiel 39 in the SUSU

Ezekiel 39 in the SUSU2

Ezekiel 39 in the SYNO

Ezekiel 39 in the TBIAOTANT

Ezekiel 39 in the TBT1E

Ezekiel 39 in the TBT1E2

Ezekiel 39 in the TFTIP

Ezekiel 39 in the TFTU

Ezekiel 39 in the TGNTATF3T

Ezekiel 39 in the THAI

Ezekiel 39 in the TNFD

Ezekiel 39 in the TNT

Ezekiel 39 in the TNTIK

Ezekiel 39 in the TNTIL

Ezekiel 39 in the TNTIN

Ezekiel 39 in the TNTIP

Ezekiel 39 in the TNTIZ

Ezekiel 39 in the TOMA

Ezekiel 39 in the TTENT

Ezekiel 39 in the UBG

Ezekiel 39 in the UGV

Ezekiel 39 in the UGV2

Ezekiel 39 in the UGV3

Ezekiel 39 in the VBL

Ezekiel 39 in the VDCC

Ezekiel 39 in the YALU

Ezekiel 39 in the YAPE

Ezekiel 39 in the YBVTP

Ezekiel 39 in the ZBP