Ezekiel 8 (BOLCB)
1 Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa MUKAMA Katonda ne gunzikako. 2 Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. 3 N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. 4 Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi. 5 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya. 6 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.” 7 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. 8 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango. 9 Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” 10 Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. 11 Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo. 12 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘MUKAMA tatulaba, era MUKAMA yeerabira ensi.’ ” 13 N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.” 14 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya MUKAMA, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. 15 N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.” 16 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya MUKAMA, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya MUKAMA wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya MUKAMA, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba. 17 N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! 18 Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”
In Other Versions
Ezekiel 8 in the ANGEFD
Ezekiel 8 in the ANTPNG2D
Ezekiel 8 in the AS21
Ezekiel 8 in the BAGH
Ezekiel 8 in the BBPNG
Ezekiel 8 in the BBT1E
Ezekiel 8 in the BDS
Ezekiel 8 in the BEV
Ezekiel 8 in the BHAD
Ezekiel 8 in the BIB
Ezekiel 8 in the BLPT
Ezekiel 8 in the BNT
Ezekiel 8 in the BNTABOOT
Ezekiel 8 in the BNTLV
Ezekiel 8 in the BOATCB
Ezekiel 8 in the BOATCB2
Ezekiel 8 in the BOBCV
Ezekiel 8 in the BOCNT
Ezekiel 8 in the BOECS
Ezekiel 8 in the BOGWICC
Ezekiel 8 in the BOHCB
Ezekiel 8 in the BOHCV
Ezekiel 8 in the BOHLNT
Ezekiel 8 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 8 in the BOICB
Ezekiel 8 in the BOILNTAP
Ezekiel 8 in the BOITCV
Ezekiel 8 in the BOKCV
Ezekiel 8 in the BOKCV2
Ezekiel 8 in the BOKHWOG
Ezekiel 8 in the BOKSSV
Ezekiel 8 in the BOLCB2
Ezekiel 8 in the BOMCV
Ezekiel 8 in the BONAV
Ezekiel 8 in the BONCB
Ezekiel 8 in the BONLT
Ezekiel 8 in the BONUT2
Ezekiel 8 in the BOPLNT
Ezekiel 8 in the BOSCB
Ezekiel 8 in the BOSNC
Ezekiel 8 in the BOTLNT
Ezekiel 8 in the BOVCB
Ezekiel 8 in the BOYCB
Ezekiel 8 in the BPBB
Ezekiel 8 in the BPH
Ezekiel 8 in the BSB
Ezekiel 8 in the CCB
Ezekiel 8 in the CUV
Ezekiel 8 in the CUVS
Ezekiel 8 in the DBT
Ezekiel 8 in the DGDNT
Ezekiel 8 in the DHNT
Ezekiel 8 in the DNT
Ezekiel 8 in the ELBE
Ezekiel 8 in the EMTV
Ezekiel 8 in the ESV
Ezekiel 8 in the FBV
Ezekiel 8 in the FEB
Ezekiel 8 in the GGMNT
Ezekiel 8 in the GNT
Ezekiel 8 in the HARY
Ezekiel 8 in the HNT
Ezekiel 8 in the IRVA
Ezekiel 8 in the IRVB
Ezekiel 8 in the IRVG
Ezekiel 8 in the IRVH
Ezekiel 8 in the IRVK
Ezekiel 8 in the IRVM
Ezekiel 8 in the IRVM2
Ezekiel 8 in the IRVO
Ezekiel 8 in the IRVP
Ezekiel 8 in the IRVT
Ezekiel 8 in the IRVT2
Ezekiel 8 in the IRVU
Ezekiel 8 in the ISVN
Ezekiel 8 in the JSNT
Ezekiel 8 in the KAPI
Ezekiel 8 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 8 in the KBV
Ezekiel 8 in the KJV
Ezekiel 8 in the KNFD
Ezekiel 8 in the LBA
Ezekiel 8 in the LBLA
Ezekiel 8 in the LNT
Ezekiel 8 in the LSV
Ezekiel 8 in the MAAL
Ezekiel 8 in the MBV
Ezekiel 8 in the MBV2
Ezekiel 8 in the MHNT
Ezekiel 8 in the MKNFD
Ezekiel 8 in the MNG
Ezekiel 8 in the MNT
Ezekiel 8 in the MNT2
Ezekiel 8 in the MRS1T
Ezekiel 8 in the NAA
Ezekiel 8 in the NASB
Ezekiel 8 in the NBLA
Ezekiel 8 in the NBS
Ezekiel 8 in the NBVTP
Ezekiel 8 in the NET2
Ezekiel 8 in the NIV11
Ezekiel 8 in the NNT
Ezekiel 8 in the NNT2
Ezekiel 8 in the NNT3
Ezekiel 8 in the PDDPT
Ezekiel 8 in the PFNT
Ezekiel 8 in the RMNT
Ezekiel 8 in the SBIAS
Ezekiel 8 in the SBIBS
Ezekiel 8 in the SBIBS2
Ezekiel 8 in the SBICS
Ezekiel 8 in the SBIDS
Ezekiel 8 in the SBIGS
Ezekiel 8 in the SBIHS
Ezekiel 8 in the SBIIS
Ezekiel 8 in the SBIIS2
Ezekiel 8 in the SBIIS3
Ezekiel 8 in the SBIKS
Ezekiel 8 in the SBIKS2
Ezekiel 8 in the SBIMS
Ezekiel 8 in the SBIOS
Ezekiel 8 in the SBIPS
Ezekiel 8 in the SBISS
Ezekiel 8 in the SBITS
Ezekiel 8 in the SBITS2
Ezekiel 8 in the SBITS3
Ezekiel 8 in the SBITS4
Ezekiel 8 in the SBIUS
Ezekiel 8 in the SBIVS
Ezekiel 8 in the SBT
Ezekiel 8 in the SBT1E
Ezekiel 8 in the SCHL
Ezekiel 8 in the SNT
Ezekiel 8 in the SUSU
Ezekiel 8 in the SUSU2
Ezekiel 8 in the SYNO
Ezekiel 8 in the TBIAOTANT
Ezekiel 8 in the TBT1E
Ezekiel 8 in the TBT1E2
Ezekiel 8 in the TFTIP
Ezekiel 8 in the TFTU
Ezekiel 8 in the TGNTATF3T
Ezekiel 8 in the THAI
Ezekiel 8 in the TNFD
Ezekiel 8 in the TNT
Ezekiel 8 in the TNTIK
Ezekiel 8 in the TNTIL
Ezekiel 8 in the TNTIN
Ezekiel 8 in the TNTIP
Ezekiel 8 in the TNTIZ
Ezekiel 8 in the TOMA
Ezekiel 8 in the TTENT
Ezekiel 8 in the UBG
Ezekiel 8 in the UGV
Ezekiel 8 in the UGV2
Ezekiel 8 in the UGV3
Ezekiel 8 in the VBL
Ezekiel 8 in the VDCC
Ezekiel 8 in the YALU
Ezekiel 8 in the YAPE
Ezekiel 8 in the YBVTP
Ezekiel 8 in the ZBP