Ezra 7 (BOLCB)

1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, mu biro eby’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya, 2 muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu, 3 muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi, 4 muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki, 5 muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu, 6 n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, MUKAMA Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa MUKAMA Katonda we gwali wamu naye. 7 Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi. 8 N’atuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. 9 Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. 10 Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya MUKAMA, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri. 11 Eno ye kopi ey’ebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ez’amateeka n’ebiragiro bya MUKAMA eri Isirayiri. 12 Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka,Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu:Nkulamusizza. 13 Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda. 14 Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi. 15 Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi, 16 awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi. 17 Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi. 18 Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli. 19 Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olw’okusinza Katonda wa Yerusaalemi. 20 N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka. 21 Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga 22 n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna. 23 Ekintu kyonna ekyalagirwa Katonda w’eggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda w’eggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be? 24 Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo. 25 “Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi. 26 Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.” 27 MUKAMA Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya MUKAMA mu Yerusaalemi ekitiibwa, 28 era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa MUKAMA Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.

In Other Versions

Ezra 7 in the ANGEFD

Ezra 7 in the ANTPNG2D

Ezra 7 in the AS21

Ezra 7 in the BAGH

Ezra 7 in the BBPNG

Ezra 7 in the BBT1E

Ezra 7 in the BDS

Ezra 7 in the BEV

Ezra 7 in the BHAD

Ezra 7 in the BIB

Ezra 7 in the BLPT

Ezra 7 in the BNT

Ezra 7 in the BNTABOOT

Ezra 7 in the BNTLV

Ezra 7 in the BOATCB

Ezra 7 in the BOATCB2

Ezra 7 in the BOBCV

Ezra 7 in the BOCNT

Ezra 7 in the BOECS

Ezra 7 in the BOGWICC

Ezra 7 in the BOHCB

Ezra 7 in the BOHCV

Ezra 7 in the BOHLNT

Ezra 7 in the BOHNTLTAL

Ezra 7 in the BOICB

Ezra 7 in the BOILNTAP

Ezra 7 in the BOITCV

Ezra 7 in the BOKCV

Ezra 7 in the BOKCV2

Ezra 7 in the BOKHWOG

Ezra 7 in the BOKSSV

Ezra 7 in the BOLCB2

Ezra 7 in the BOMCV

Ezra 7 in the BONAV

Ezra 7 in the BONCB

Ezra 7 in the BONLT

Ezra 7 in the BONUT2

Ezra 7 in the BOPLNT

Ezra 7 in the BOSCB

Ezra 7 in the BOSNC

Ezra 7 in the BOTLNT

Ezra 7 in the BOVCB

Ezra 7 in the BOYCB

Ezra 7 in the BPBB

Ezra 7 in the BPH

Ezra 7 in the BSB

Ezra 7 in the CCB

Ezra 7 in the CUV

Ezra 7 in the CUVS

Ezra 7 in the DBT

Ezra 7 in the DGDNT

Ezra 7 in the DHNT

Ezra 7 in the DNT

Ezra 7 in the ELBE

Ezra 7 in the EMTV

Ezra 7 in the ESV

Ezra 7 in the FBV

Ezra 7 in the FEB

Ezra 7 in the GGMNT

Ezra 7 in the GNT

Ezra 7 in the HARY

Ezra 7 in the HNT

Ezra 7 in the IRVA

Ezra 7 in the IRVB

Ezra 7 in the IRVG

Ezra 7 in the IRVH

Ezra 7 in the IRVK

Ezra 7 in the IRVM

Ezra 7 in the IRVM2

Ezra 7 in the IRVO

Ezra 7 in the IRVP

Ezra 7 in the IRVT

Ezra 7 in the IRVT2

Ezra 7 in the IRVU

Ezra 7 in the ISVN

Ezra 7 in the JSNT

Ezra 7 in the KAPI

Ezra 7 in the KBT1ETNIK

Ezra 7 in the KBV

Ezra 7 in the KJV

Ezra 7 in the KNFD

Ezra 7 in the LBA

Ezra 7 in the LBLA

Ezra 7 in the LNT

Ezra 7 in the LSV

Ezra 7 in the MAAL

Ezra 7 in the MBV

Ezra 7 in the MBV2

Ezra 7 in the MHNT

Ezra 7 in the MKNFD

Ezra 7 in the MNG

Ezra 7 in the MNT

Ezra 7 in the MNT2

Ezra 7 in the MRS1T

Ezra 7 in the NAA

Ezra 7 in the NASB

Ezra 7 in the NBLA

Ezra 7 in the NBS

Ezra 7 in the NBVTP

Ezra 7 in the NET2

Ezra 7 in the NIV11

Ezra 7 in the NNT

Ezra 7 in the NNT2

Ezra 7 in the NNT3

Ezra 7 in the PDDPT

Ezra 7 in the PFNT

Ezra 7 in the RMNT

Ezra 7 in the SBIAS

Ezra 7 in the SBIBS

Ezra 7 in the SBIBS2

Ezra 7 in the SBICS

Ezra 7 in the SBIDS

Ezra 7 in the SBIGS

Ezra 7 in the SBIHS

Ezra 7 in the SBIIS

Ezra 7 in the SBIIS2

Ezra 7 in the SBIIS3

Ezra 7 in the SBIKS

Ezra 7 in the SBIKS2

Ezra 7 in the SBIMS

Ezra 7 in the SBIOS

Ezra 7 in the SBIPS

Ezra 7 in the SBISS

Ezra 7 in the SBITS

Ezra 7 in the SBITS2

Ezra 7 in the SBITS3

Ezra 7 in the SBITS4

Ezra 7 in the SBIUS

Ezra 7 in the SBIVS

Ezra 7 in the SBT

Ezra 7 in the SBT1E

Ezra 7 in the SCHL

Ezra 7 in the SNT

Ezra 7 in the SUSU

Ezra 7 in the SUSU2

Ezra 7 in the SYNO

Ezra 7 in the TBIAOTANT

Ezra 7 in the TBT1E

Ezra 7 in the TBT1E2

Ezra 7 in the TFTIP

Ezra 7 in the TFTU

Ezra 7 in the TGNTATF3T

Ezra 7 in the THAI

Ezra 7 in the TNFD

Ezra 7 in the TNT

Ezra 7 in the TNTIK

Ezra 7 in the TNTIL

Ezra 7 in the TNTIN

Ezra 7 in the TNTIP

Ezra 7 in the TNTIZ

Ezra 7 in the TOMA

Ezra 7 in the TTENT

Ezra 7 in the UBG

Ezra 7 in the UGV

Ezra 7 in the UGV2

Ezra 7 in the UGV3

Ezra 7 in the VBL

Ezra 7 in the VDCC

Ezra 7 in the YALU

Ezra 7 in the YAPE

Ezra 7 in the YBVTP

Ezra 7 in the ZBP