Galatians 1 (BOLCB)
1 Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, 2 awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, 3 nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; 4 Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, 5 aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. 6 Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. 7 Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. 8 Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. 9 Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga. 10 Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. 11 Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, 12 era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 13 Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza, 14 era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. 15 Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 16 n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, 17 newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko. 18 Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 19 Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20 Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda. 21 Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22 Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 23 Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 24 Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
In Other Versions
Galatians 1 in the ANGEFD
Galatians 1 in the ANTPNG2D
Galatians 1 in the AS21
Galatians 1 in the BAGH
Galatians 1 in the BBPNG
Galatians 1 in the BBT1E
Galatians 1 in the BDS
Galatians 1 in the BEV
Galatians 1 in the BHAD
Galatians 1 in the BIB
Galatians 1 in the BLPT
Galatians 1 in the BNT
Galatians 1 in the BNTABOOT
Galatians 1 in the BNTLV
Galatians 1 in the BOATCB
Galatians 1 in the BOATCB2
Galatians 1 in the BOBCV
Galatians 1 in the BOCNT
Galatians 1 in the BOECS
Galatians 1 in the BOGWICC
Galatians 1 in the BOHCB
Galatians 1 in the BOHCV
Galatians 1 in the BOHLNT
Galatians 1 in the BOHNTLTAL
Galatians 1 in the BOICB
Galatians 1 in the BOILNTAP
Galatians 1 in the BOITCV
Galatians 1 in the BOKCV
Galatians 1 in the BOKCV2
Galatians 1 in the BOKHWOG
Galatians 1 in the BOKSSV
Galatians 1 in the BOLCB2
Galatians 1 in the BOMCV
Galatians 1 in the BONAV
Galatians 1 in the BONCB
Galatians 1 in the BONLT
Galatians 1 in the BONUT2
Galatians 1 in the BOPLNT
Galatians 1 in the BOSCB
Galatians 1 in the BOSNC
Galatians 1 in the BOTLNT
Galatians 1 in the BOVCB
Galatians 1 in the BOYCB
Galatians 1 in the BPBB
Galatians 1 in the BPH
Galatians 1 in the BSB
Galatians 1 in the CCB
Galatians 1 in the CUV
Galatians 1 in the CUVS
Galatians 1 in the DBT
Galatians 1 in the DGDNT
Galatians 1 in the DHNT
Galatians 1 in the DNT
Galatians 1 in the ELBE
Galatians 1 in the EMTV
Galatians 1 in the ESV
Galatians 1 in the FBV
Galatians 1 in the FEB
Galatians 1 in the GGMNT
Galatians 1 in the GNT
Galatians 1 in the HARY
Galatians 1 in the HNT
Galatians 1 in the IRVA
Galatians 1 in the IRVB
Galatians 1 in the IRVG
Galatians 1 in the IRVH
Galatians 1 in the IRVK
Galatians 1 in the IRVM
Galatians 1 in the IRVM2
Galatians 1 in the IRVO
Galatians 1 in the IRVP
Galatians 1 in the IRVT
Galatians 1 in the IRVT2
Galatians 1 in the IRVU
Galatians 1 in the ISVN
Galatians 1 in the JSNT
Galatians 1 in the KAPI
Galatians 1 in the KBT1ETNIK
Galatians 1 in the KBV
Galatians 1 in the KJV
Galatians 1 in the KNFD
Galatians 1 in the LBA
Galatians 1 in the LBLA
Galatians 1 in the LNT
Galatians 1 in the LSV
Galatians 1 in the MAAL
Galatians 1 in the MBV
Galatians 1 in the MBV2
Galatians 1 in the MHNT
Galatians 1 in the MKNFD
Galatians 1 in the MNG
Galatians 1 in the MNT
Galatians 1 in the MNT2
Galatians 1 in the MRS1T
Galatians 1 in the NAA
Galatians 1 in the NASB
Galatians 1 in the NBLA
Galatians 1 in the NBS
Galatians 1 in the NBVTP
Galatians 1 in the NET2
Galatians 1 in the NIV11
Galatians 1 in the NNT
Galatians 1 in the NNT2
Galatians 1 in the NNT3
Galatians 1 in the PDDPT
Galatians 1 in the PFNT
Galatians 1 in the RMNT
Galatians 1 in the SBIAS
Galatians 1 in the SBIBS
Galatians 1 in the SBIBS2
Galatians 1 in the SBICS
Galatians 1 in the SBIDS
Galatians 1 in the SBIGS
Galatians 1 in the SBIHS
Galatians 1 in the SBIIS
Galatians 1 in the SBIIS2
Galatians 1 in the SBIIS3
Galatians 1 in the SBIKS
Galatians 1 in the SBIKS2
Galatians 1 in the SBIMS
Galatians 1 in the SBIOS
Galatians 1 in the SBIPS
Galatians 1 in the SBISS
Galatians 1 in the SBITS
Galatians 1 in the SBITS2
Galatians 1 in the SBITS3
Galatians 1 in the SBITS4
Galatians 1 in the SBIUS
Galatians 1 in the SBIVS
Galatians 1 in the SBT
Galatians 1 in the SBT1E
Galatians 1 in the SCHL
Galatians 1 in the SNT
Galatians 1 in the SUSU
Galatians 1 in the SUSU2
Galatians 1 in the SYNO
Galatians 1 in the TBIAOTANT
Galatians 1 in the TBT1E
Galatians 1 in the TBT1E2
Galatians 1 in the TFTIP
Galatians 1 in the TFTU
Galatians 1 in the TGNTATF3T
Galatians 1 in the THAI
Galatians 1 in the TNFD
Galatians 1 in the TNT
Galatians 1 in the TNTIK
Galatians 1 in the TNTIL
Galatians 1 in the TNTIN
Galatians 1 in the TNTIP
Galatians 1 in the TNTIZ
Galatians 1 in the TOMA
Galatians 1 in the TTENT
Galatians 1 in the UBG
Galatians 1 in the UGV
Galatians 1 in the UGV2
Galatians 1 in the UGV3
Galatians 1 in the VBL
Galatians 1 in the VDCC
Galatians 1 in the YALU
Galatians 1 in the YAPE
Galatians 1 in the YBVTP
Galatians 1 in the ZBP