Genesis 2 (BOLCB)
1 Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa. 2 Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. 3 Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda. 4 Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, MUKAMA Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi. 5 Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga MUKAMA Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6 Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 7 MUKAMA Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. 8 MUKAMA Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. 9 MUKAMA Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro. 10 Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. 11 Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; 12 ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. 13 Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi. 14 N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati. 15 MUKAMA Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. 16 MUKAMA Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, 17 naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.” 18 MUKAMA Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 19 Naye olwo MUKAMA Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. 20 Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21 MUKAMA Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 22 MUKAMA Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera. 23 Omusajja n’agamba nti,“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,ye nnyama ey’omu nnyama yange,anaayitibwanga mukazi;kubanga aggyibbwa mu musajja.” 24 Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. 25 Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
In Other Versions
Genesis 2 in the ANGEFD
Genesis 2 in the ANTPNG2D
Genesis 2 in the AS21
Genesis 2 in the BAGH
Genesis 2 in the BBPNG
Genesis 2 in the BBT1E
Genesis 2 in the BDS
Genesis 2 in the BEV
Genesis 2 in the BHAD
Genesis 2 in the BIB
Genesis 2 in the BLPT
Genesis 2 in the BNT
Genesis 2 in the BNTABOOT
Genesis 2 in the BNTLV
Genesis 2 in the BOATCB
Genesis 2 in the BOATCB2
Genesis 2 in the BOBCV
Genesis 2 in the BOCNT
Genesis 2 in the BOECS
Genesis 2 in the BOGWICC
Genesis 2 in the BOHCB
Genesis 2 in the BOHCV
Genesis 2 in the BOHLNT
Genesis 2 in the BOHNTLTAL
Genesis 2 in the BOICB
Genesis 2 in the BOILNTAP
Genesis 2 in the BOITCV
Genesis 2 in the BOKCV
Genesis 2 in the BOKCV2
Genesis 2 in the BOKHWOG
Genesis 2 in the BOKSSV
Genesis 2 in the BOLCB2
Genesis 2 in the BOMCV
Genesis 2 in the BONAV
Genesis 2 in the BONCB
Genesis 2 in the BONLT
Genesis 2 in the BONUT2
Genesis 2 in the BOPLNT
Genesis 2 in the BOSCB
Genesis 2 in the BOSNC
Genesis 2 in the BOTLNT
Genesis 2 in the BOVCB
Genesis 2 in the BOYCB
Genesis 2 in the BPBB
Genesis 2 in the BPH
Genesis 2 in the BSB
Genesis 2 in the CCB
Genesis 2 in the CUV
Genesis 2 in the CUVS
Genesis 2 in the DBT
Genesis 2 in the DGDNT
Genesis 2 in the DHNT
Genesis 2 in the DNT
Genesis 2 in the ELBE
Genesis 2 in the EMTV
Genesis 2 in the ESV
Genesis 2 in the FBV
Genesis 2 in the FEB
Genesis 2 in the GGMNT
Genesis 2 in the GNT
Genesis 2 in the HARY
Genesis 2 in the HNT
Genesis 2 in the IRVA
Genesis 2 in the IRVB
Genesis 2 in the IRVG
Genesis 2 in the IRVH
Genesis 2 in the IRVK
Genesis 2 in the IRVM
Genesis 2 in the IRVM2
Genesis 2 in the IRVO
Genesis 2 in the IRVP
Genesis 2 in the IRVT
Genesis 2 in the IRVT2
Genesis 2 in the IRVU
Genesis 2 in the ISVN
Genesis 2 in the JSNT
Genesis 2 in the KAPI
Genesis 2 in the KBT1ETNIK
Genesis 2 in the KBV
Genesis 2 in the KJV
Genesis 2 in the KNFD
Genesis 2 in the LBA
Genesis 2 in the LBLA
Genesis 2 in the LNT
Genesis 2 in the LSV
Genesis 2 in the MAAL
Genesis 2 in the MBV
Genesis 2 in the MBV2
Genesis 2 in the MHNT
Genesis 2 in the MKNFD
Genesis 2 in the MNG
Genesis 2 in the MNT
Genesis 2 in the MNT2
Genesis 2 in the MRS1T
Genesis 2 in the NAA
Genesis 2 in the NASB
Genesis 2 in the NBLA
Genesis 2 in the NBS
Genesis 2 in the NBVTP
Genesis 2 in the NET2
Genesis 2 in the NIV11
Genesis 2 in the NNT
Genesis 2 in the NNT2
Genesis 2 in the NNT3
Genesis 2 in the PDDPT
Genesis 2 in the PFNT
Genesis 2 in the RMNT
Genesis 2 in the SBIAS
Genesis 2 in the SBIBS
Genesis 2 in the SBIBS2
Genesis 2 in the SBICS
Genesis 2 in the SBIDS
Genesis 2 in the SBIGS
Genesis 2 in the SBIHS
Genesis 2 in the SBIIS
Genesis 2 in the SBIIS2
Genesis 2 in the SBIIS3
Genesis 2 in the SBIKS
Genesis 2 in the SBIKS2
Genesis 2 in the SBIMS
Genesis 2 in the SBIOS
Genesis 2 in the SBIPS
Genesis 2 in the SBISS
Genesis 2 in the SBITS
Genesis 2 in the SBITS2
Genesis 2 in the SBITS3
Genesis 2 in the SBITS4
Genesis 2 in the SBIUS
Genesis 2 in the SBIVS
Genesis 2 in the SBT
Genesis 2 in the SBT1E
Genesis 2 in the SCHL
Genesis 2 in the SNT
Genesis 2 in the SUSU
Genesis 2 in the SUSU2
Genesis 2 in the SYNO
Genesis 2 in the TBIAOTANT
Genesis 2 in the TBT1E
Genesis 2 in the TBT1E2
Genesis 2 in the TFTIP
Genesis 2 in the TFTU
Genesis 2 in the TGNTATF3T
Genesis 2 in the THAI
Genesis 2 in the TNFD
Genesis 2 in the TNT
Genesis 2 in the TNTIK
Genesis 2 in the TNTIL
Genesis 2 in the TNTIN
Genesis 2 in the TNTIP
Genesis 2 in the TNTIZ
Genesis 2 in the TOMA
Genesis 2 in the TTENT
Genesis 2 in the UBG
Genesis 2 in the UGV
Genesis 2 in the UGV2
Genesis 2 in the UGV3
Genesis 2 in the VBL
Genesis 2 in the VDCC
Genesis 2 in the YALU
Genesis 2 in the YAPE
Genesis 2 in the YBVTP
Genesis 2 in the ZBP