Genesis 22 (BOLCB)
1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!”N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 2 Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.” 3 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba. 4 Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo. 5 Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.” 6 Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi. 7 Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.”Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.”Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” 8 Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi. 9 Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku. 10 Awo Ibulayimu n’akwata ekiso, n’agolola omukono gwe atte omwana we. 11 Naye malayika wa MUKAMA n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!”Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti, 12 “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.” 13 Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we. 14 Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya MUKAMA alitugabirira, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa MUKAMA anaagabiriranga. 15 Awo malayika wa MUKAMA n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu, 16 n’amugamba nti, “Nze MUKAMA neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati, 17 ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, 18 era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.” 19 Ibulayimu n’alyoka addayo eri abavubuka be, ne basitula ne balaga e Beeruseba. 20 Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye, 21 ne muto we ye Buzi, ne Kemweri kitaawe wa Alamu, 22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.” 23 Era Besweri yazaala Lebbeeka.Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu. 24 Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano:Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.
In Other Versions
Genesis 22 in the ANGEFD
Genesis 22 in the ANTPNG2D
Genesis 22 in the AS21
Genesis 22 in the BAGH
Genesis 22 in the BBPNG
Genesis 22 in the BBT1E
Genesis 22 in the BDS
Genesis 22 in the BEV
Genesis 22 in the BHAD
Genesis 22 in the BIB
Genesis 22 in the BLPT
Genesis 22 in the BNT
Genesis 22 in the BNTABOOT
Genesis 22 in the BNTLV
Genesis 22 in the BOATCB
Genesis 22 in the BOATCB2
Genesis 22 in the BOBCV
Genesis 22 in the BOCNT
Genesis 22 in the BOECS
Genesis 22 in the BOGWICC
Genesis 22 in the BOHCB
Genesis 22 in the BOHCV
Genesis 22 in the BOHLNT
Genesis 22 in the BOHNTLTAL
Genesis 22 in the BOICB
Genesis 22 in the BOILNTAP
Genesis 22 in the BOITCV
Genesis 22 in the BOKCV
Genesis 22 in the BOKCV2
Genesis 22 in the BOKHWOG
Genesis 22 in the BOKSSV
Genesis 22 in the BOLCB2
Genesis 22 in the BOMCV
Genesis 22 in the BONAV
Genesis 22 in the BONCB
Genesis 22 in the BONLT
Genesis 22 in the BONUT2
Genesis 22 in the BOPLNT
Genesis 22 in the BOSCB
Genesis 22 in the BOSNC
Genesis 22 in the BOTLNT
Genesis 22 in the BOVCB
Genesis 22 in the BOYCB
Genesis 22 in the BPBB
Genesis 22 in the BPH
Genesis 22 in the BSB
Genesis 22 in the CCB
Genesis 22 in the CUV
Genesis 22 in the CUVS
Genesis 22 in the DBT
Genesis 22 in the DGDNT
Genesis 22 in the DHNT
Genesis 22 in the DNT
Genesis 22 in the ELBE
Genesis 22 in the EMTV
Genesis 22 in the ESV
Genesis 22 in the FBV
Genesis 22 in the FEB
Genesis 22 in the GGMNT
Genesis 22 in the GNT
Genesis 22 in the HARY
Genesis 22 in the HNT
Genesis 22 in the IRVA
Genesis 22 in the IRVB
Genesis 22 in the IRVG
Genesis 22 in the IRVH
Genesis 22 in the IRVK
Genesis 22 in the IRVM
Genesis 22 in the IRVM2
Genesis 22 in the IRVO
Genesis 22 in the IRVP
Genesis 22 in the IRVT
Genesis 22 in the IRVT2
Genesis 22 in the IRVU
Genesis 22 in the ISVN
Genesis 22 in the JSNT
Genesis 22 in the KAPI
Genesis 22 in the KBT1ETNIK
Genesis 22 in the KBV
Genesis 22 in the KJV
Genesis 22 in the KNFD
Genesis 22 in the LBA
Genesis 22 in the LBLA
Genesis 22 in the LNT
Genesis 22 in the LSV
Genesis 22 in the MAAL
Genesis 22 in the MBV
Genesis 22 in the MBV2
Genesis 22 in the MHNT
Genesis 22 in the MKNFD
Genesis 22 in the MNG
Genesis 22 in the MNT
Genesis 22 in the MNT2
Genesis 22 in the MRS1T
Genesis 22 in the NAA
Genesis 22 in the NASB
Genesis 22 in the NBLA
Genesis 22 in the NBS
Genesis 22 in the NBVTP
Genesis 22 in the NET2
Genesis 22 in the NIV11
Genesis 22 in the NNT
Genesis 22 in the NNT2
Genesis 22 in the NNT3
Genesis 22 in the PDDPT
Genesis 22 in the PFNT
Genesis 22 in the RMNT
Genesis 22 in the SBIAS
Genesis 22 in the SBIBS
Genesis 22 in the SBIBS2
Genesis 22 in the SBICS
Genesis 22 in the SBIDS
Genesis 22 in the SBIGS
Genesis 22 in the SBIHS
Genesis 22 in the SBIIS
Genesis 22 in the SBIIS2
Genesis 22 in the SBIIS3
Genesis 22 in the SBIKS
Genesis 22 in the SBIKS2
Genesis 22 in the SBIMS
Genesis 22 in the SBIOS
Genesis 22 in the SBIPS
Genesis 22 in the SBISS
Genesis 22 in the SBITS
Genesis 22 in the SBITS2
Genesis 22 in the SBITS3
Genesis 22 in the SBITS4
Genesis 22 in the SBIUS
Genesis 22 in the SBIVS
Genesis 22 in the SBT
Genesis 22 in the SBT1E
Genesis 22 in the SCHL
Genesis 22 in the SNT
Genesis 22 in the SUSU
Genesis 22 in the SUSU2
Genesis 22 in the SYNO
Genesis 22 in the TBIAOTANT
Genesis 22 in the TBT1E
Genesis 22 in the TBT1E2
Genesis 22 in the TFTIP
Genesis 22 in the TFTU
Genesis 22 in the TGNTATF3T
Genesis 22 in the THAI
Genesis 22 in the TNFD
Genesis 22 in the TNT
Genesis 22 in the TNTIK
Genesis 22 in the TNTIL
Genesis 22 in the TNTIN
Genesis 22 in the TNTIP
Genesis 22 in the TNTIZ
Genesis 22 in the TOMA
Genesis 22 in the TTENT
Genesis 22 in the UBG
Genesis 22 in the UGV
Genesis 22 in the UGV2
Genesis 22 in the UGV3
Genesis 22 in the VBL
Genesis 22 in the VDCC
Genesis 22 in the YALU
Genesis 22 in the YAPE
Genesis 22 in the YBVTP
Genesis 22 in the ZBP