Genesis 24 (BOLCB)

1 Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era MUKAMA yamuwa emikisa mingi mu byonna. 2 Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange 3 ndyoke nkulayize mu maaso ga MUKAMA Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera, 4 wabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.” 5 Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” 6 Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. 7 MUKAMA, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. 8 Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.” 9 Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu. 10 Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli. 11 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi. 12 N’asaba nti, “Ayi MUKAMA Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. 13 Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. 14 Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.” 15 Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 16 Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo. 17 Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.” 18 N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi. 19 Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” 20 Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna, 21 omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga MUKAMA awadde olugendo lwe omukisa oba nedda. 22 Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike. 23 N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” 24 N’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.” 25 N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.” 26 Awo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza MUKAMA. 27 N’agamba nti, “Yeebazibwe MUKAMA Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange MUKAMA ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.” 28 Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna. 29 Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30 Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 31 Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa MUKAMA omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.” 32 Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere. 33 Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.”Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.” 34 Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 35 MUKAMA yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 36 Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 37 Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 38 Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’ 39 “Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’ 40 “Ye n’anziramu nti, ‘MUKAMA oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. 41 Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’ 42 “Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi MUKAMA, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 43 laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44 n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi MUKAMA gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’ 45 “Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’ 46 “Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’ 47 “Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 48 Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza MUKAMA ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 49 Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.” 50 Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa MUKAMA, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. 51 Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga MUKAMA bw’alagidde.” 52 Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga MUKAMA. 53 N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 54 Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.” 55 Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.” 56 Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga MUKAMA awadde olugendo lwange omukisa.” 57 Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.” 58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.” 59 Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 60 Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,“Mwannyinaffe beera nnyinaw’enkumi n’enkumi,abaana n’abazzukulu bo balyengaebibuga by’abalabe baabwe.” 61 Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda. 62 Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 63 Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64 Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65 n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira. 66 Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 67 Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.

In Other Versions

Genesis 24 in the ANGEFD

Genesis 24 in the ANTPNG2D

Genesis 24 in the AS21

Genesis 24 in the BAGH

Genesis 24 in the BBPNG

Genesis 24 in the BBT1E

Genesis 24 in the BDS

Genesis 24 in the BEV

Genesis 24 in the BHAD

Genesis 24 in the BIB

Genesis 24 in the BLPT

Genesis 24 in the BNT

Genesis 24 in the BNTABOOT

Genesis 24 in the BNTLV

Genesis 24 in the BOATCB

Genesis 24 in the BOATCB2

Genesis 24 in the BOBCV

Genesis 24 in the BOCNT

Genesis 24 in the BOECS

Genesis 24 in the BOGWICC

Genesis 24 in the BOHCB

Genesis 24 in the BOHCV

Genesis 24 in the BOHLNT

Genesis 24 in the BOHNTLTAL

Genesis 24 in the BOICB

Genesis 24 in the BOILNTAP

Genesis 24 in the BOITCV

Genesis 24 in the BOKCV

Genesis 24 in the BOKCV2

Genesis 24 in the BOKHWOG

Genesis 24 in the BOKSSV

Genesis 24 in the BOLCB2

Genesis 24 in the BOMCV

Genesis 24 in the BONAV

Genesis 24 in the BONCB

Genesis 24 in the BONLT

Genesis 24 in the BONUT2

Genesis 24 in the BOPLNT

Genesis 24 in the BOSCB

Genesis 24 in the BOSNC

Genesis 24 in the BOTLNT

Genesis 24 in the BOVCB

Genesis 24 in the BOYCB

Genesis 24 in the BPBB

Genesis 24 in the BPH

Genesis 24 in the BSB

Genesis 24 in the CCB

Genesis 24 in the CUV

Genesis 24 in the CUVS

Genesis 24 in the DBT

Genesis 24 in the DGDNT

Genesis 24 in the DHNT

Genesis 24 in the DNT

Genesis 24 in the ELBE

Genesis 24 in the EMTV

Genesis 24 in the ESV

Genesis 24 in the FBV

Genesis 24 in the FEB

Genesis 24 in the GGMNT

Genesis 24 in the GNT

Genesis 24 in the HARY

Genesis 24 in the HNT

Genesis 24 in the IRVA

Genesis 24 in the IRVB

Genesis 24 in the IRVG

Genesis 24 in the IRVH

Genesis 24 in the IRVK

Genesis 24 in the IRVM

Genesis 24 in the IRVM2

Genesis 24 in the IRVO

Genesis 24 in the IRVP

Genesis 24 in the IRVT

Genesis 24 in the IRVT2

Genesis 24 in the IRVU

Genesis 24 in the ISVN

Genesis 24 in the JSNT

Genesis 24 in the KAPI

Genesis 24 in the KBT1ETNIK

Genesis 24 in the KBV

Genesis 24 in the KJV

Genesis 24 in the KNFD

Genesis 24 in the LBA

Genesis 24 in the LBLA

Genesis 24 in the LNT

Genesis 24 in the LSV

Genesis 24 in the MAAL

Genesis 24 in the MBV

Genesis 24 in the MBV2

Genesis 24 in the MHNT

Genesis 24 in the MKNFD

Genesis 24 in the MNG

Genesis 24 in the MNT

Genesis 24 in the MNT2

Genesis 24 in the MRS1T

Genesis 24 in the NAA

Genesis 24 in the NASB

Genesis 24 in the NBLA

Genesis 24 in the NBS

Genesis 24 in the NBVTP

Genesis 24 in the NET2

Genesis 24 in the NIV11

Genesis 24 in the NNT

Genesis 24 in the NNT2

Genesis 24 in the NNT3

Genesis 24 in the PDDPT

Genesis 24 in the PFNT

Genesis 24 in the RMNT

Genesis 24 in the SBIAS

Genesis 24 in the SBIBS

Genesis 24 in the SBIBS2

Genesis 24 in the SBICS

Genesis 24 in the SBIDS

Genesis 24 in the SBIGS

Genesis 24 in the SBIHS

Genesis 24 in the SBIIS

Genesis 24 in the SBIIS2

Genesis 24 in the SBIIS3

Genesis 24 in the SBIKS

Genesis 24 in the SBIKS2

Genesis 24 in the SBIMS

Genesis 24 in the SBIOS

Genesis 24 in the SBIPS

Genesis 24 in the SBISS

Genesis 24 in the SBITS

Genesis 24 in the SBITS2

Genesis 24 in the SBITS3

Genesis 24 in the SBITS4

Genesis 24 in the SBIUS

Genesis 24 in the SBIVS

Genesis 24 in the SBT

Genesis 24 in the SBT1E

Genesis 24 in the SCHL

Genesis 24 in the SNT

Genesis 24 in the SUSU

Genesis 24 in the SUSU2

Genesis 24 in the SYNO

Genesis 24 in the TBIAOTANT

Genesis 24 in the TBT1E

Genesis 24 in the TBT1E2

Genesis 24 in the TFTIP

Genesis 24 in the TFTU

Genesis 24 in the TGNTATF3T

Genesis 24 in the THAI

Genesis 24 in the TNFD

Genesis 24 in the TNT

Genesis 24 in the TNTIK

Genesis 24 in the TNTIL

Genesis 24 in the TNTIN

Genesis 24 in the TNTIP

Genesis 24 in the TNTIZ

Genesis 24 in the TOMA

Genesis 24 in the TTENT

Genesis 24 in the UBG

Genesis 24 in the UGV

Genesis 24 in the UGV2

Genesis 24 in the UGV3

Genesis 24 in the VBL

Genesis 24 in the VDCC

Genesis 24 in the YALU

Genesis 24 in the YAPE

Genesis 24 in the YBVTP

Genesis 24 in the ZBP