Genesis 29 (BOLCB)

1 Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. 2 Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, 3 era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako. 4 Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.” 5 Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” 6 N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!” 7 N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.” 8 Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.” 9 Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe. 13 Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.” 15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.” 16 Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri. 17 Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. 18 Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.” 19 Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” 20 Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo. 21 Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.” 22 Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga. 23 Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we. 24 Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga. 25 Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?” 26 Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa. 27 Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.” 28 Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we. 29 Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga. 30 Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu. 31 MUKAMA bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba. 32 Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga MUKAMA alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.” 33 N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga MUKAMA alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.” 34 Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi. 35 Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza MUKAMA,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.

In Other Versions

Genesis 29 in the ANGEFD

Genesis 29 in the ANTPNG2D

Genesis 29 in the AS21

Genesis 29 in the BAGH

Genesis 29 in the BBPNG

Genesis 29 in the BBT1E

Genesis 29 in the BDS

Genesis 29 in the BEV

Genesis 29 in the BHAD

Genesis 29 in the BIB

Genesis 29 in the BLPT

Genesis 29 in the BNT

Genesis 29 in the BNTABOOT

Genesis 29 in the BNTLV

Genesis 29 in the BOATCB

Genesis 29 in the BOATCB2

Genesis 29 in the BOBCV

Genesis 29 in the BOCNT

Genesis 29 in the BOECS

Genesis 29 in the BOGWICC

Genesis 29 in the BOHCB

Genesis 29 in the BOHCV

Genesis 29 in the BOHLNT

Genesis 29 in the BOHNTLTAL

Genesis 29 in the BOICB

Genesis 29 in the BOILNTAP

Genesis 29 in the BOITCV

Genesis 29 in the BOKCV

Genesis 29 in the BOKCV2

Genesis 29 in the BOKHWOG

Genesis 29 in the BOKSSV

Genesis 29 in the BOLCB2

Genesis 29 in the BOMCV

Genesis 29 in the BONAV

Genesis 29 in the BONCB

Genesis 29 in the BONLT

Genesis 29 in the BONUT2

Genesis 29 in the BOPLNT

Genesis 29 in the BOSCB

Genesis 29 in the BOSNC

Genesis 29 in the BOTLNT

Genesis 29 in the BOVCB

Genesis 29 in the BOYCB

Genesis 29 in the BPBB

Genesis 29 in the BPH

Genesis 29 in the BSB

Genesis 29 in the CCB

Genesis 29 in the CUV

Genesis 29 in the CUVS

Genesis 29 in the DBT

Genesis 29 in the DGDNT

Genesis 29 in the DHNT

Genesis 29 in the DNT

Genesis 29 in the ELBE

Genesis 29 in the EMTV

Genesis 29 in the ESV

Genesis 29 in the FBV

Genesis 29 in the FEB

Genesis 29 in the GGMNT

Genesis 29 in the GNT

Genesis 29 in the HARY

Genesis 29 in the HNT

Genesis 29 in the IRVA

Genesis 29 in the IRVB

Genesis 29 in the IRVG

Genesis 29 in the IRVH

Genesis 29 in the IRVK

Genesis 29 in the IRVM

Genesis 29 in the IRVM2

Genesis 29 in the IRVO

Genesis 29 in the IRVP

Genesis 29 in the IRVT

Genesis 29 in the IRVT2

Genesis 29 in the IRVU

Genesis 29 in the ISVN

Genesis 29 in the JSNT

Genesis 29 in the KAPI

Genesis 29 in the KBT1ETNIK

Genesis 29 in the KBV

Genesis 29 in the KJV

Genesis 29 in the KNFD

Genesis 29 in the LBA

Genesis 29 in the LBLA

Genesis 29 in the LNT

Genesis 29 in the LSV

Genesis 29 in the MAAL

Genesis 29 in the MBV

Genesis 29 in the MBV2

Genesis 29 in the MHNT

Genesis 29 in the MKNFD

Genesis 29 in the MNG

Genesis 29 in the MNT

Genesis 29 in the MNT2

Genesis 29 in the MRS1T

Genesis 29 in the NAA

Genesis 29 in the NASB

Genesis 29 in the NBLA

Genesis 29 in the NBS

Genesis 29 in the NBVTP

Genesis 29 in the NET2

Genesis 29 in the NIV11

Genesis 29 in the NNT

Genesis 29 in the NNT2

Genesis 29 in the NNT3

Genesis 29 in the PDDPT

Genesis 29 in the PFNT

Genesis 29 in the RMNT

Genesis 29 in the SBIAS

Genesis 29 in the SBIBS

Genesis 29 in the SBIBS2

Genesis 29 in the SBICS

Genesis 29 in the SBIDS

Genesis 29 in the SBIGS

Genesis 29 in the SBIHS

Genesis 29 in the SBIIS

Genesis 29 in the SBIIS2

Genesis 29 in the SBIIS3

Genesis 29 in the SBIKS

Genesis 29 in the SBIKS2

Genesis 29 in the SBIMS

Genesis 29 in the SBIOS

Genesis 29 in the SBIPS

Genesis 29 in the SBISS

Genesis 29 in the SBITS

Genesis 29 in the SBITS2

Genesis 29 in the SBITS3

Genesis 29 in the SBITS4

Genesis 29 in the SBIUS

Genesis 29 in the SBIVS

Genesis 29 in the SBT

Genesis 29 in the SBT1E

Genesis 29 in the SCHL

Genesis 29 in the SNT

Genesis 29 in the SUSU

Genesis 29 in the SUSU2

Genesis 29 in the SYNO

Genesis 29 in the TBIAOTANT

Genesis 29 in the TBT1E

Genesis 29 in the TBT1E2

Genesis 29 in the TFTIP

Genesis 29 in the TFTU

Genesis 29 in the TGNTATF3T

Genesis 29 in the THAI

Genesis 29 in the TNFD

Genesis 29 in the TNT

Genesis 29 in the TNTIK

Genesis 29 in the TNTIL

Genesis 29 in the TNTIN

Genesis 29 in the TNTIP

Genesis 29 in the TNTIZ

Genesis 29 in the TOMA

Genesis 29 in the TTENT

Genesis 29 in the UBG

Genesis 29 in the UGV

Genesis 29 in the UGV2

Genesis 29 in the UGV3

Genesis 29 in the VBL

Genesis 29 in the VDCC

Genesis 29 in the YALU

Genesis 29 in the YAPE

Genesis 29 in the YBVTP

Genesis 29 in the ZBP