Genesis 35 (BOLCB)
1 Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.” 2 Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, 3 tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. 4 Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” 5 Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo. 6 Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. 7 N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we. 8 Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. 9 Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 10 Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 11 Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 12 Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 13 Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye. 14 Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 15 Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri. 16 Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 17 Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18 Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini. 19 Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 20 Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano. 21 Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 22 Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira. Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri. 23 Batabani ba Leeya baali:Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni. 24 Batabani ba Laakeeri ye:Yusufu ne Benyamini. 25 Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:Ddaani ne Nafutaali. 26 Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:Gaadi ne Aseri.Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu. 27 Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 29 Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.
In Other Versions
Genesis 35 in the ANGEFD
Genesis 35 in the ANTPNG2D
Genesis 35 in the AS21
Genesis 35 in the BAGH
Genesis 35 in the BBPNG
Genesis 35 in the BBT1E
Genesis 35 in the BDS
Genesis 35 in the BEV
Genesis 35 in the BHAD
Genesis 35 in the BIB
Genesis 35 in the BLPT
Genesis 35 in the BNT
Genesis 35 in the BNTABOOT
Genesis 35 in the BNTLV
Genesis 35 in the BOATCB
Genesis 35 in the BOATCB2
Genesis 35 in the BOBCV
Genesis 35 in the BOCNT
Genesis 35 in the BOECS
Genesis 35 in the BOGWICC
Genesis 35 in the BOHCB
Genesis 35 in the BOHCV
Genesis 35 in the BOHLNT
Genesis 35 in the BOHNTLTAL
Genesis 35 in the BOICB
Genesis 35 in the BOILNTAP
Genesis 35 in the BOITCV
Genesis 35 in the BOKCV
Genesis 35 in the BOKCV2
Genesis 35 in the BOKHWOG
Genesis 35 in the BOKSSV
Genesis 35 in the BOLCB2
Genesis 35 in the BOMCV
Genesis 35 in the BONAV
Genesis 35 in the BONCB
Genesis 35 in the BONLT
Genesis 35 in the BONUT2
Genesis 35 in the BOPLNT
Genesis 35 in the BOSCB
Genesis 35 in the BOSNC
Genesis 35 in the BOTLNT
Genesis 35 in the BOVCB
Genesis 35 in the BOYCB
Genesis 35 in the BPBB
Genesis 35 in the BPH
Genesis 35 in the BSB
Genesis 35 in the CCB
Genesis 35 in the CUV
Genesis 35 in the CUVS
Genesis 35 in the DBT
Genesis 35 in the DGDNT
Genesis 35 in the DHNT
Genesis 35 in the DNT
Genesis 35 in the ELBE
Genesis 35 in the EMTV
Genesis 35 in the ESV
Genesis 35 in the FBV
Genesis 35 in the FEB
Genesis 35 in the GGMNT
Genesis 35 in the GNT
Genesis 35 in the HARY
Genesis 35 in the HNT
Genesis 35 in the IRVA
Genesis 35 in the IRVB
Genesis 35 in the IRVG
Genesis 35 in the IRVH
Genesis 35 in the IRVK
Genesis 35 in the IRVM
Genesis 35 in the IRVM2
Genesis 35 in the IRVO
Genesis 35 in the IRVP
Genesis 35 in the IRVT
Genesis 35 in the IRVT2
Genesis 35 in the IRVU
Genesis 35 in the ISVN
Genesis 35 in the JSNT
Genesis 35 in the KAPI
Genesis 35 in the KBT1ETNIK
Genesis 35 in the KBV
Genesis 35 in the KJV
Genesis 35 in the KNFD
Genesis 35 in the LBA
Genesis 35 in the LBLA
Genesis 35 in the LNT
Genesis 35 in the LSV
Genesis 35 in the MAAL
Genesis 35 in the MBV
Genesis 35 in the MBV2
Genesis 35 in the MHNT
Genesis 35 in the MKNFD
Genesis 35 in the MNG
Genesis 35 in the MNT
Genesis 35 in the MNT2
Genesis 35 in the MRS1T
Genesis 35 in the NAA
Genesis 35 in the NASB
Genesis 35 in the NBLA
Genesis 35 in the NBS
Genesis 35 in the NBVTP
Genesis 35 in the NET2
Genesis 35 in the NIV11
Genesis 35 in the NNT
Genesis 35 in the NNT2
Genesis 35 in the NNT3
Genesis 35 in the PDDPT
Genesis 35 in the PFNT
Genesis 35 in the RMNT
Genesis 35 in the SBIAS
Genesis 35 in the SBIBS
Genesis 35 in the SBIBS2
Genesis 35 in the SBICS
Genesis 35 in the SBIDS
Genesis 35 in the SBIGS
Genesis 35 in the SBIHS
Genesis 35 in the SBIIS
Genesis 35 in the SBIIS2
Genesis 35 in the SBIIS3
Genesis 35 in the SBIKS
Genesis 35 in the SBIKS2
Genesis 35 in the SBIMS
Genesis 35 in the SBIOS
Genesis 35 in the SBIPS
Genesis 35 in the SBISS
Genesis 35 in the SBITS
Genesis 35 in the SBITS2
Genesis 35 in the SBITS3
Genesis 35 in the SBITS4
Genesis 35 in the SBIUS
Genesis 35 in the SBIVS
Genesis 35 in the SBT
Genesis 35 in the SBT1E
Genesis 35 in the SCHL
Genesis 35 in the SNT
Genesis 35 in the SUSU
Genesis 35 in the SUSU2
Genesis 35 in the SYNO
Genesis 35 in the TBIAOTANT
Genesis 35 in the TBT1E
Genesis 35 in the TBT1E2
Genesis 35 in the TFTIP
Genesis 35 in the TFTU
Genesis 35 in the TGNTATF3T
Genesis 35 in the THAI
Genesis 35 in the TNFD
Genesis 35 in the TNT
Genesis 35 in the TNTIK
Genesis 35 in the TNTIL
Genesis 35 in the TNTIN
Genesis 35 in the TNTIP
Genesis 35 in the TNTIZ
Genesis 35 in the TOMA
Genesis 35 in the TTENT
Genesis 35 in the UBG
Genesis 35 in the UGV
Genesis 35 in the UGV2
Genesis 35 in the UGV3
Genesis 35 in the VBL
Genesis 35 in the VDCC
Genesis 35 in the YALU
Genesis 35 in the YAPE
Genesis 35 in the YBVTP
Genesis 35 in the ZBP