Genesis 8 (BOLCB)
1 Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; 2 ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, 3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; 4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. 5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika. 6 Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato 7 n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira. 8 Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; 9 naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; 11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi. 12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda. 13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde. 14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde. 15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 “Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.” 18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja. 20 Awo Nuuwa n’azimbira MUKAMA ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 21 MUKAMA n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze. 22 “Ensi ng’ekyaliwo,okusiga n’amakungula,obunnyogovu n’ebbugumu,ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti,emisana n’ekiro,tebiggwengawo.”
In Other Versions
Genesis 8 in the ANGEFD
Genesis 8 in the ANTPNG2D
Genesis 8 in the AS21
Genesis 8 in the BAGH
Genesis 8 in the BBPNG
Genesis 8 in the BBT1E
Genesis 8 in the BDS
Genesis 8 in the BEV
Genesis 8 in the BHAD
Genesis 8 in the BIB
Genesis 8 in the BLPT
Genesis 8 in the BNT
Genesis 8 in the BNTABOOT
Genesis 8 in the BNTLV
Genesis 8 in the BOATCB
Genesis 8 in the BOATCB2
Genesis 8 in the BOBCV
Genesis 8 in the BOCNT
Genesis 8 in the BOECS
Genesis 8 in the BOGWICC
Genesis 8 in the BOHCB
Genesis 8 in the BOHCV
Genesis 8 in the BOHLNT
Genesis 8 in the BOHNTLTAL
Genesis 8 in the BOICB
Genesis 8 in the BOILNTAP
Genesis 8 in the BOITCV
Genesis 8 in the BOKCV
Genesis 8 in the BOKCV2
Genesis 8 in the BOKHWOG
Genesis 8 in the BOKSSV
Genesis 8 in the BOLCB2
Genesis 8 in the BOMCV
Genesis 8 in the BONAV
Genesis 8 in the BONCB
Genesis 8 in the BONLT
Genesis 8 in the BONUT2
Genesis 8 in the BOPLNT
Genesis 8 in the BOSCB
Genesis 8 in the BOSNC
Genesis 8 in the BOTLNT
Genesis 8 in the BOVCB
Genesis 8 in the BOYCB
Genesis 8 in the BPBB
Genesis 8 in the BPH
Genesis 8 in the BSB
Genesis 8 in the CCB
Genesis 8 in the CUV
Genesis 8 in the CUVS
Genesis 8 in the DBT
Genesis 8 in the DGDNT
Genesis 8 in the DHNT
Genesis 8 in the DNT
Genesis 8 in the ELBE
Genesis 8 in the EMTV
Genesis 8 in the ESV
Genesis 8 in the FBV
Genesis 8 in the FEB
Genesis 8 in the GGMNT
Genesis 8 in the GNT
Genesis 8 in the HARY
Genesis 8 in the HNT
Genesis 8 in the IRVA
Genesis 8 in the IRVB
Genesis 8 in the IRVG
Genesis 8 in the IRVH
Genesis 8 in the IRVK
Genesis 8 in the IRVM
Genesis 8 in the IRVM2
Genesis 8 in the IRVO
Genesis 8 in the IRVP
Genesis 8 in the IRVT
Genesis 8 in the IRVT2
Genesis 8 in the IRVU
Genesis 8 in the ISVN
Genesis 8 in the JSNT
Genesis 8 in the KAPI
Genesis 8 in the KBT1ETNIK
Genesis 8 in the KBV
Genesis 8 in the KJV
Genesis 8 in the KNFD
Genesis 8 in the LBA
Genesis 8 in the LBLA
Genesis 8 in the LNT
Genesis 8 in the LSV
Genesis 8 in the MAAL
Genesis 8 in the MBV
Genesis 8 in the MBV2
Genesis 8 in the MHNT
Genesis 8 in the MKNFD
Genesis 8 in the MNG
Genesis 8 in the MNT
Genesis 8 in the MNT2
Genesis 8 in the MRS1T
Genesis 8 in the NAA
Genesis 8 in the NASB
Genesis 8 in the NBLA
Genesis 8 in the NBS
Genesis 8 in the NBVTP
Genesis 8 in the NET2
Genesis 8 in the NIV11
Genesis 8 in the NNT
Genesis 8 in the NNT2
Genesis 8 in the NNT3
Genesis 8 in the PDDPT
Genesis 8 in the PFNT
Genesis 8 in the RMNT
Genesis 8 in the SBIAS
Genesis 8 in the SBIBS
Genesis 8 in the SBIBS2
Genesis 8 in the SBICS
Genesis 8 in the SBIDS
Genesis 8 in the SBIGS
Genesis 8 in the SBIHS
Genesis 8 in the SBIIS
Genesis 8 in the SBIIS2
Genesis 8 in the SBIIS3
Genesis 8 in the SBIKS
Genesis 8 in the SBIKS2
Genesis 8 in the SBIMS
Genesis 8 in the SBIOS
Genesis 8 in the SBIPS
Genesis 8 in the SBISS
Genesis 8 in the SBITS
Genesis 8 in the SBITS2
Genesis 8 in the SBITS3
Genesis 8 in the SBITS4
Genesis 8 in the SBIUS
Genesis 8 in the SBIVS
Genesis 8 in the SBT
Genesis 8 in the SBT1E
Genesis 8 in the SCHL
Genesis 8 in the SNT
Genesis 8 in the SUSU
Genesis 8 in the SUSU2
Genesis 8 in the SYNO
Genesis 8 in the TBIAOTANT
Genesis 8 in the TBT1E
Genesis 8 in the TBT1E2
Genesis 8 in the TFTIP
Genesis 8 in the TFTU
Genesis 8 in the TGNTATF3T
Genesis 8 in the THAI
Genesis 8 in the TNFD
Genesis 8 in the TNT
Genesis 8 in the TNTIK
Genesis 8 in the TNTIL
Genesis 8 in the TNTIN
Genesis 8 in the TNTIP
Genesis 8 in the TNTIZ
Genesis 8 in the TOMA
Genesis 8 in the TTENT
Genesis 8 in the UBG
Genesis 8 in the UGV
Genesis 8 in the UGV2
Genesis 8 in the UGV3
Genesis 8 in the VBL
Genesis 8 in the VDCC
Genesis 8 in the YALU
Genesis 8 in the YAPE
Genesis 8 in the YBVTP
Genesis 8 in the ZBP