Genesis 9 (BOLCB)
1 Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. 2 Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. 3 Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu. 4 “Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. 5 Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne. 6 “Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,n’ogugwe gunaayiibwanga,kubanga mu kifaananyi kya Katonda,Katonda mwe yakolera omuntu. 7 Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.” 8 Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali 9 nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.” 12 Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi. 14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.” 17 Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.” 18 Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu. 20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe. 24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,“Kanani akolimirwe,abeere muddu wa baddu eri baganda be.” 26 Era n’agamba nti,“MUKAMA Katonda wange, awe Seemu omukisa,Kanani abeere muddu we.” 27 Katonda yaza Yafeesi,abeere mu weema za Seemu,Kanani abeere muddu we. 28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
In Other Versions
Genesis 9 in the ANGEFD
Genesis 9 in the ANTPNG2D
Genesis 9 in the AS21
Genesis 9 in the BAGH
Genesis 9 in the BBPNG
Genesis 9 in the BBT1E
Genesis 9 in the BDS
Genesis 9 in the BEV
Genesis 9 in the BHAD
Genesis 9 in the BIB
Genesis 9 in the BLPT
Genesis 9 in the BNT
Genesis 9 in the BNTABOOT
Genesis 9 in the BNTLV
Genesis 9 in the BOATCB
Genesis 9 in the BOATCB2
Genesis 9 in the BOBCV
Genesis 9 in the BOCNT
Genesis 9 in the BOECS
Genesis 9 in the BOGWICC
Genesis 9 in the BOHCB
Genesis 9 in the BOHCV
Genesis 9 in the BOHLNT
Genesis 9 in the BOHNTLTAL
Genesis 9 in the BOICB
Genesis 9 in the BOILNTAP
Genesis 9 in the BOITCV
Genesis 9 in the BOKCV
Genesis 9 in the BOKCV2
Genesis 9 in the BOKHWOG
Genesis 9 in the BOKSSV
Genesis 9 in the BOLCB2
Genesis 9 in the BOMCV
Genesis 9 in the BONAV
Genesis 9 in the BONCB
Genesis 9 in the BONLT
Genesis 9 in the BONUT2
Genesis 9 in the BOPLNT
Genesis 9 in the BOSCB
Genesis 9 in the BOSNC
Genesis 9 in the BOTLNT
Genesis 9 in the BOVCB
Genesis 9 in the BOYCB
Genesis 9 in the BPBB
Genesis 9 in the BPH
Genesis 9 in the BSB
Genesis 9 in the CCB
Genesis 9 in the CUV
Genesis 9 in the CUVS
Genesis 9 in the DBT
Genesis 9 in the DGDNT
Genesis 9 in the DHNT
Genesis 9 in the DNT
Genesis 9 in the ELBE
Genesis 9 in the EMTV
Genesis 9 in the ESV
Genesis 9 in the FBV
Genesis 9 in the FEB
Genesis 9 in the GGMNT
Genesis 9 in the GNT
Genesis 9 in the HARY
Genesis 9 in the HNT
Genesis 9 in the IRVA
Genesis 9 in the IRVB
Genesis 9 in the IRVG
Genesis 9 in the IRVH
Genesis 9 in the IRVK
Genesis 9 in the IRVM
Genesis 9 in the IRVM2
Genesis 9 in the IRVO
Genesis 9 in the IRVP
Genesis 9 in the IRVT
Genesis 9 in the IRVT2
Genesis 9 in the IRVU
Genesis 9 in the ISVN
Genesis 9 in the JSNT
Genesis 9 in the KAPI
Genesis 9 in the KBT1ETNIK
Genesis 9 in the KBV
Genesis 9 in the KJV
Genesis 9 in the KNFD
Genesis 9 in the LBA
Genesis 9 in the LBLA
Genesis 9 in the LNT
Genesis 9 in the LSV
Genesis 9 in the MAAL
Genesis 9 in the MBV
Genesis 9 in the MBV2
Genesis 9 in the MHNT
Genesis 9 in the MKNFD
Genesis 9 in the MNG
Genesis 9 in the MNT
Genesis 9 in the MNT2
Genesis 9 in the MRS1T
Genesis 9 in the NAA
Genesis 9 in the NASB
Genesis 9 in the NBLA
Genesis 9 in the NBS
Genesis 9 in the NBVTP
Genesis 9 in the NET2
Genesis 9 in the NIV11
Genesis 9 in the NNT
Genesis 9 in the NNT2
Genesis 9 in the NNT3
Genesis 9 in the PDDPT
Genesis 9 in the PFNT
Genesis 9 in the RMNT
Genesis 9 in the SBIAS
Genesis 9 in the SBIBS
Genesis 9 in the SBIBS2
Genesis 9 in the SBICS
Genesis 9 in the SBIDS
Genesis 9 in the SBIGS
Genesis 9 in the SBIHS
Genesis 9 in the SBIIS
Genesis 9 in the SBIIS2
Genesis 9 in the SBIIS3
Genesis 9 in the SBIKS
Genesis 9 in the SBIKS2
Genesis 9 in the SBIMS
Genesis 9 in the SBIOS
Genesis 9 in the SBIPS
Genesis 9 in the SBISS
Genesis 9 in the SBITS
Genesis 9 in the SBITS2
Genesis 9 in the SBITS3
Genesis 9 in the SBITS4
Genesis 9 in the SBIUS
Genesis 9 in the SBIVS
Genesis 9 in the SBT
Genesis 9 in the SBT1E
Genesis 9 in the SCHL
Genesis 9 in the SNT
Genesis 9 in the SUSU
Genesis 9 in the SUSU2
Genesis 9 in the SYNO
Genesis 9 in the TBIAOTANT
Genesis 9 in the TBT1E
Genesis 9 in the TBT1E2
Genesis 9 in the TFTIP
Genesis 9 in the TFTU
Genesis 9 in the TGNTATF3T
Genesis 9 in the THAI
Genesis 9 in the TNFD
Genesis 9 in the TNT
Genesis 9 in the TNTIK
Genesis 9 in the TNTIL
Genesis 9 in the TNTIN
Genesis 9 in the TNTIP
Genesis 9 in the TNTIZ
Genesis 9 in the TOMA
Genesis 9 in the TTENT
Genesis 9 in the UBG
Genesis 9 in the UGV
Genesis 9 in the UGV2
Genesis 9 in the UGV3
Genesis 9 in the VBL
Genesis 9 in the VDCC
Genesis 9 in the YALU
Genesis 9 in the YAPE
Genesis 9 in the YBVTP
Genesis 9 in the ZBP