Judges 11 (BOLCB)

1 Yefusa Omugireyaadi yali mulwanyi w’amaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya. 2 Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.” 3 Awo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera. 4 Oluvannyuma lw’ebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri. 5 Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu. 6 Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.” 7 Yefusa n’agamba abakadde b’e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?” 8 Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.” 9 Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, MUKAMA n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?” 10 Abakadde b’e Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “MUKAMA ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.” 11 Awo Yefusa n’agenda n’abakadde b’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, n’addamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga MUKAMA mu Mizupa. 12 Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?” 13 Kabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.” 14 Awo Yefusa n’addamu n’aweereza ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni 15 ng’agamba nti,“Yefusa bw’ati bw’ayogera nti, ‘Isirayiri teyatwala nsi ya Mowaabu newaakubadde ensi y’abaana ba Amoni. 16 Naye Isirayiri bwe baava mu Misiri ne baba nga bayita mu ddungu nga balaga ku Nnyanja Emyufu n’e Kadesi, 17 Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi. 18 “ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu. 19 “ ‘Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli era kabaka w’e Kesuboni, ng’amusaba ng’agamba nti, Tukkirize tuyitemu tulage mu nsi yaffe. 20 Naye Sikoni n’ateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni n’akuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, n’alwanyisa Isirayiri.’ 21 “ ‘MUKAMA Katonda wa Isirayiri n’agabula Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, n’abawangula, era Isirayiri n’atwala ensi yonna ey’Abamoli. 22 Ne bawamba ensalo yonna ey’Abamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani. 23 “ ‘Kaakano obanga MUKAMA Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri? 24 Lwaki totwala ensi lubaale wo Kemosi gye yakuwa, naffe ne tutwala eyo MUKAMA Katonda waffe gye yatuwa? 25 Ddala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa? 26 Isirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni n’ebyalo byayo, ne mu Aloweri n’ebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? 27 Kaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale MUKAMA, Omulamuzi, leero alamule wakati w’abaana ba Isirayiri n’abaana ba Amoni.’ ” 28 Naye kabaka w’abaana ba Amoni n’atassaayo mwoyo ku bubaka Yefusa bwe yamutumira. 29 Awo Omwoyo wa MUKAMA Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. 30 Yefusa ne yeeyama eri MUKAMA Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, 31 ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri MUKAMA.” 32 Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era MUKAMA Katonda n’abagabula mu mukono gwe. 33 N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni. 34 Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina. 35 Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri MUKAMA Katonda, so siyinza kukimenyawo.” 36 Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri MUKAMA. Kola ekyo kye weeyama eri MUKAMA Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” 37 N’agamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.” 38 N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. 39 Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera.Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri 40 okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.

In Other Versions

Judges 11 in the ANGEFD

Judges 11 in the ANTPNG2D

Judges 11 in the AS21

Judges 11 in the BAGH

Judges 11 in the BBPNG

Judges 11 in the BBT1E

Judges 11 in the BDS

Judges 11 in the BEV

Judges 11 in the BHAD

Judges 11 in the BIB

Judges 11 in the BLPT

Judges 11 in the BNT

Judges 11 in the BNTABOOT

Judges 11 in the BNTLV

Judges 11 in the BOATCB

Judges 11 in the BOATCB2

Judges 11 in the BOBCV

Judges 11 in the BOCNT

Judges 11 in the BOECS

Judges 11 in the BOGWICC

Judges 11 in the BOHCB

Judges 11 in the BOHCV

Judges 11 in the BOHLNT

Judges 11 in the BOHNTLTAL

Judges 11 in the BOICB

Judges 11 in the BOILNTAP

Judges 11 in the BOITCV

Judges 11 in the BOKCV

Judges 11 in the BOKCV2

Judges 11 in the BOKHWOG

Judges 11 in the BOKSSV

Judges 11 in the BOLCB2

Judges 11 in the BOMCV

Judges 11 in the BONAV

Judges 11 in the BONCB

Judges 11 in the BONLT

Judges 11 in the BONUT2

Judges 11 in the BOPLNT

Judges 11 in the BOSCB

Judges 11 in the BOSNC

Judges 11 in the BOTLNT

Judges 11 in the BOVCB

Judges 11 in the BOYCB

Judges 11 in the BPBB

Judges 11 in the BPH

Judges 11 in the BSB

Judges 11 in the CCB

Judges 11 in the CUV

Judges 11 in the CUVS

Judges 11 in the DBT

Judges 11 in the DGDNT

Judges 11 in the DHNT

Judges 11 in the DNT

Judges 11 in the ELBE

Judges 11 in the EMTV

Judges 11 in the ESV

Judges 11 in the FBV

Judges 11 in the FEB

Judges 11 in the GGMNT

Judges 11 in the GNT

Judges 11 in the HARY

Judges 11 in the HNT

Judges 11 in the IRVA

Judges 11 in the IRVB

Judges 11 in the IRVG

Judges 11 in the IRVH

Judges 11 in the IRVK

Judges 11 in the IRVM

Judges 11 in the IRVM2

Judges 11 in the IRVO

Judges 11 in the IRVP

Judges 11 in the IRVT

Judges 11 in the IRVT2

Judges 11 in the IRVU

Judges 11 in the ISVN

Judges 11 in the JSNT

Judges 11 in the KAPI

Judges 11 in the KBT1ETNIK

Judges 11 in the KBV

Judges 11 in the KJV

Judges 11 in the KNFD

Judges 11 in the LBA

Judges 11 in the LBLA

Judges 11 in the LNT

Judges 11 in the LSV

Judges 11 in the MAAL

Judges 11 in the MBV

Judges 11 in the MBV2

Judges 11 in the MHNT

Judges 11 in the MKNFD

Judges 11 in the MNG

Judges 11 in the MNT

Judges 11 in the MNT2

Judges 11 in the MRS1T

Judges 11 in the NAA

Judges 11 in the NASB

Judges 11 in the NBLA

Judges 11 in the NBS

Judges 11 in the NBVTP

Judges 11 in the NET2

Judges 11 in the NIV11

Judges 11 in the NNT

Judges 11 in the NNT2

Judges 11 in the NNT3

Judges 11 in the PDDPT

Judges 11 in the PFNT

Judges 11 in the RMNT

Judges 11 in the SBIAS

Judges 11 in the SBIBS

Judges 11 in the SBIBS2

Judges 11 in the SBICS

Judges 11 in the SBIDS

Judges 11 in the SBIGS

Judges 11 in the SBIHS

Judges 11 in the SBIIS

Judges 11 in the SBIIS2

Judges 11 in the SBIIS3

Judges 11 in the SBIKS

Judges 11 in the SBIKS2

Judges 11 in the SBIMS

Judges 11 in the SBIOS

Judges 11 in the SBIPS

Judges 11 in the SBISS

Judges 11 in the SBITS

Judges 11 in the SBITS2

Judges 11 in the SBITS3

Judges 11 in the SBITS4

Judges 11 in the SBIUS

Judges 11 in the SBIVS

Judges 11 in the SBT

Judges 11 in the SBT1E

Judges 11 in the SCHL

Judges 11 in the SNT

Judges 11 in the SUSU

Judges 11 in the SUSU2

Judges 11 in the SYNO

Judges 11 in the TBIAOTANT

Judges 11 in the TBT1E

Judges 11 in the TBT1E2

Judges 11 in the TFTIP

Judges 11 in the TFTU

Judges 11 in the TGNTATF3T

Judges 11 in the THAI

Judges 11 in the TNFD

Judges 11 in the TNT

Judges 11 in the TNTIK

Judges 11 in the TNTIL

Judges 11 in the TNTIN

Judges 11 in the TNTIP

Judges 11 in the TNTIZ

Judges 11 in the TOMA

Judges 11 in the TTENT

Judges 11 in the UBG

Judges 11 in the UGV

Judges 11 in the UGV2

Judges 11 in the UGV3

Judges 11 in the VBL

Judges 11 in the VDCC

Judges 11 in the YALU

Judges 11 in the YAPE

Judges 11 in the YBVTP

Judges 11 in the ZBP