Jeremiah 28 (BOLCB)
1 Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya MUKAMA nga bakabona n’abantu bonna we bali nti, 2 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni. 3 Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya MUKAMA mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni. 4 Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera MUKAMA, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’ ” 5 Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya MUKAMA, n’agamba nti, 6 “Amiina! Bw’atyo MUKAMA bw’aba akola! MUKAMA atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya MUKAMA era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni. 7 Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira. 8 Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi. 9 Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa MUKAMA era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.” 10 Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya, 11 n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’ ” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira. 12 Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeremiya nti, 13 “Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma. 14 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ” 15 Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! MUKAMA tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba. 16 Noolwekyo kino MUKAMA kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera MUKAMA.’ ” 17 Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.
In Other Versions
Jeremiah 28 in the ANGEFD
Jeremiah 28 in the ANTPNG2D
Jeremiah 28 in the AS21
Jeremiah 28 in the BAGH
Jeremiah 28 in the BBPNG
Jeremiah 28 in the BBT1E
Jeremiah 28 in the BDS
Jeremiah 28 in the BEV
Jeremiah 28 in the BHAD
Jeremiah 28 in the BIB
Jeremiah 28 in the BLPT
Jeremiah 28 in the BNT
Jeremiah 28 in the BNTABOOT
Jeremiah 28 in the BNTLV
Jeremiah 28 in the BOATCB
Jeremiah 28 in the BOATCB2
Jeremiah 28 in the BOBCV
Jeremiah 28 in the BOCNT
Jeremiah 28 in the BOECS
Jeremiah 28 in the BOGWICC
Jeremiah 28 in the BOHCB
Jeremiah 28 in the BOHCV
Jeremiah 28 in the BOHLNT
Jeremiah 28 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 28 in the BOICB
Jeremiah 28 in the BOILNTAP
Jeremiah 28 in the BOITCV
Jeremiah 28 in the BOKCV
Jeremiah 28 in the BOKCV2
Jeremiah 28 in the BOKHWOG
Jeremiah 28 in the BOKSSV
Jeremiah 28 in the BOLCB2
Jeremiah 28 in the BOMCV
Jeremiah 28 in the BONAV
Jeremiah 28 in the BONCB
Jeremiah 28 in the BONLT
Jeremiah 28 in the BONUT2
Jeremiah 28 in the BOPLNT
Jeremiah 28 in the BOSCB
Jeremiah 28 in the BOSNC
Jeremiah 28 in the BOTLNT
Jeremiah 28 in the BOVCB
Jeremiah 28 in the BOYCB
Jeremiah 28 in the BPBB
Jeremiah 28 in the BPH
Jeremiah 28 in the BSB
Jeremiah 28 in the CCB
Jeremiah 28 in the CUV
Jeremiah 28 in the CUVS
Jeremiah 28 in the DBT
Jeremiah 28 in the DGDNT
Jeremiah 28 in the DHNT
Jeremiah 28 in the DNT
Jeremiah 28 in the ELBE
Jeremiah 28 in the EMTV
Jeremiah 28 in the ESV
Jeremiah 28 in the FBV
Jeremiah 28 in the FEB
Jeremiah 28 in the GGMNT
Jeremiah 28 in the GNT
Jeremiah 28 in the HARY
Jeremiah 28 in the HNT
Jeremiah 28 in the IRVA
Jeremiah 28 in the IRVB
Jeremiah 28 in the IRVG
Jeremiah 28 in the IRVH
Jeremiah 28 in the IRVK
Jeremiah 28 in the IRVM
Jeremiah 28 in the IRVM2
Jeremiah 28 in the IRVO
Jeremiah 28 in the IRVP
Jeremiah 28 in the IRVT
Jeremiah 28 in the IRVT2
Jeremiah 28 in the IRVU
Jeremiah 28 in the ISVN
Jeremiah 28 in the JSNT
Jeremiah 28 in the KAPI
Jeremiah 28 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 28 in the KBV
Jeremiah 28 in the KJV
Jeremiah 28 in the KNFD
Jeremiah 28 in the LBA
Jeremiah 28 in the LBLA
Jeremiah 28 in the LNT
Jeremiah 28 in the LSV
Jeremiah 28 in the MAAL
Jeremiah 28 in the MBV
Jeremiah 28 in the MBV2
Jeremiah 28 in the MHNT
Jeremiah 28 in the MKNFD
Jeremiah 28 in the MNG
Jeremiah 28 in the MNT
Jeremiah 28 in the MNT2
Jeremiah 28 in the MRS1T
Jeremiah 28 in the NAA
Jeremiah 28 in the NASB
Jeremiah 28 in the NBLA
Jeremiah 28 in the NBS
Jeremiah 28 in the NBVTP
Jeremiah 28 in the NET2
Jeremiah 28 in the NIV11
Jeremiah 28 in the NNT
Jeremiah 28 in the NNT2
Jeremiah 28 in the NNT3
Jeremiah 28 in the PDDPT
Jeremiah 28 in the PFNT
Jeremiah 28 in the RMNT
Jeremiah 28 in the SBIAS
Jeremiah 28 in the SBIBS
Jeremiah 28 in the SBIBS2
Jeremiah 28 in the SBICS
Jeremiah 28 in the SBIDS
Jeremiah 28 in the SBIGS
Jeremiah 28 in the SBIHS
Jeremiah 28 in the SBIIS
Jeremiah 28 in the SBIIS2
Jeremiah 28 in the SBIIS3
Jeremiah 28 in the SBIKS
Jeremiah 28 in the SBIKS2
Jeremiah 28 in the SBIMS
Jeremiah 28 in the SBIOS
Jeremiah 28 in the SBIPS
Jeremiah 28 in the SBISS
Jeremiah 28 in the SBITS
Jeremiah 28 in the SBITS2
Jeremiah 28 in the SBITS3
Jeremiah 28 in the SBITS4
Jeremiah 28 in the SBIUS
Jeremiah 28 in the SBIVS
Jeremiah 28 in the SBT
Jeremiah 28 in the SBT1E
Jeremiah 28 in the SCHL
Jeremiah 28 in the SNT
Jeremiah 28 in the SUSU
Jeremiah 28 in the SUSU2
Jeremiah 28 in the SYNO
Jeremiah 28 in the TBIAOTANT
Jeremiah 28 in the TBT1E
Jeremiah 28 in the TBT1E2
Jeremiah 28 in the TFTIP
Jeremiah 28 in the TFTU
Jeremiah 28 in the TGNTATF3T
Jeremiah 28 in the THAI
Jeremiah 28 in the TNFD
Jeremiah 28 in the TNT
Jeremiah 28 in the TNTIK
Jeremiah 28 in the TNTIL
Jeremiah 28 in the TNTIN
Jeremiah 28 in the TNTIP
Jeremiah 28 in the TNTIZ
Jeremiah 28 in the TOMA
Jeremiah 28 in the TTENT
Jeremiah 28 in the UBG
Jeremiah 28 in the UGV
Jeremiah 28 in the UGV2
Jeremiah 28 in the UGV3
Jeremiah 28 in the VBL
Jeremiah 28 in the VDCC
Jeremiah 28 in the YALU
Jeremiah 28 in the YAPE
Jeremiah 28 in the YBVTP
Jeremiah 28 in the ZBP