Jeremiah 41 (BOLCB)

1 Mu mwezi ogw’omusanvu Isimayiri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, omu ku balangira ate nga ye omu ku bakulu b’eggye lya Yuda n’ajja n’abasajja kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali nga balya, 2 Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n’ekitala, gavana, kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi. 3 Isimayiri n’atta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n’abaserikale Abakaludaaya abaaliyo. 4 Olunaku olwaddirira Gedaliya ng’amaze okuttibwa, nga tewannabaawo akimanyiiko, 5 abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’obubaane eby’omu nnyumba ya MUKAMA. 6 Isimayiri omwana wa Nesaniya n’ava e Mizupa okubasisinkana ng’agenda bw’akaaba. Bwe yabatuukako, n’abagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.” 7 Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya. 8 Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala. 9 Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu. 10 Isimayiri n’awamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka n’abalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni. 11 Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze, 12 ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi n’amazzi amangi e Gibyoni. 13 Abantu bonna abaali ne Isimayiri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka. 14 Abantu bonna Isimayiri be yali awambye e Mizupa ne bakyuka ne bagenda eri Yokanaani mutabani wa Kaleya. 15 Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni. 16 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, n’abakazi, n’abaana n’abakungu b’omu lubiri be yali aggye e Gibyoni. 17 Ne beeyongerayo ne bayimirirako e Gerusukimamu okumpi ne Besirekemu, nga boolekedde e Misiri, 18 badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.

In Other Versions

Jeremiah 41 in the ANGEFD

Jeremiah 41 in the ANTPNG2D

Jeremiah 41 in the AS21

Jeremiah 41 in the BAGH

Jeremiah 41 in the BBPNG

Jeremiah 41 in the BBT1E

Jeremiah 41 in the BDS

Jeremiah 41 in the BEV

Jeremiah 41 in the BHAD

Jeremiah 41 in the BIB

Jeremiah 41 in the BLPT

Jeremiah 41 in the BNT

Jeremiah 41 in the BNTABOOT

Jeremiah 41 in the BNTLV

Jeremiah 41 in the BOATCB

Jeremiah 41 in the BOATCB2

Jeremiah 41 in the BOBCV

Jeremiah 41 in the BOCNT

Jeremiah 41 in the BOECS

Jeremiah 41 in the BOGWICC

Jeremiah 41 in the BOHCB

Jeremiah 41 in the BOHCV

Jeremiah 41 in the BOHLNT

Jeremiah 41 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 41 in the BOICB

Jeremiah 41 in the BOILNTAP

Jeremiah 41 in the BOITCV

Jeremiah 41 in the BOKCV

Jeremiah 41 in the BOKCV2

Jeremiah 41 in the BOKHWOG

Jeremiah 41 in the BOKSSV

Jeremiah 41 in the BOLCB2

Jeremiah 41 in the BOMCV

Jeremiah 41 in the BONAV

Jeremiah 41 in the BONCB

Jeremiah 41 in the BONLT

Jeremiah 41 in the BONUT2

Jeremiah 41 in the BOPLNT

Jeremiah 41 in the BOSCB

Jeremiah 41 in the BOSNC

Jeremiah 41 in the BOTLNT

Jeremiah 41 in the BOVCB

Jeremiah 41 in the BOYCB

Jeremiah 41 in the BPBB

Jeremiah 41 in the BPH

Jeremiah 41 in the BSB

Jeremiah 41 in the CCB

Jeremiah 41 in the CUV

Jeremiah 41 in the CUVS

Jeremiah 41 in the DBT

Jeremiah 41 in the DGDNT

Jeremiah 41 in the DHNT

Jeremiah 41 in the DNT

Jeremiah 41 in the ELBE

Jeremiah 41 in the EMTV

Jeremiah 41 in the ESV

Jeremiah 41 in the FBV

Jeremiah 41 in the FEB

Jeremiah 41 in the GGMNT

Jeremiah 41 in the GNT

Jeremiah 41 in the HARY

Jeremiah 41 in the HNT

Jeremiah 41 in the IRVA

Jeremiah 41 in the IRVB

Jeremiah 41 in the IRVG

Jeremiah 41 in the IRVH

Jeremiah 41 in the IRVK

Jeremiah 41 in the IRVM

Jeremiah 41 in the IRVM2

Jeremiah 41 in the IRVO

Jeremiah 41 in the IRVP

Jeremiah 41 in the IRVT

Jeremiah 41 in the IRVT2

Jeremiah 41 in the IRVU

Jeremiah 41 in the ISVN

Jeremiah 41 in the JSNT

Jeremiah 41 in the KAPI

Jeremiah 41 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 41 in the KBV

Jeremiah 41 in the KJV

Jeremiah 41 in the KNFD

Jeremiah 41 in the LBA

Jeremiah 41 in the LBLA

Jeremiah 41 in the LNT

Jeremiah 41 in the LSV

Jeremiah 41 in the MAAL

Jeremiah 41 in the MBV

Jeremiah 41 in the MBV2

Jeremiah 41 in the MHNT

Jeremiah 41 in the MKNFD

Jeremiah 41 in the MNG

Jeremiah 41 in the MNT

Jeremiah 41 in the MNT2

Jeremiah 41 in the MRS1T

Jeremiah 41 in the NAA

Jeremiah 41 in the NASB

Jeremiah 41 in the NBLA

Jeremiah 41 in the NBS

Jeremiah 41 in the NBVTP

Jeremiah 41 in the NET2

Jeremiah 41 in the NIV11

Jeremiah 41 in the NNT

Jeremiah 41 in the NNT2

Jeremiah 41 in the NNT3

Jeremiah 41 in the PDDPT

Jeremiah 41 in the PFNT

Jeremiah 41 in the RMNT

Jeremiah 41 in the SBIAS

Jeremiah 41 in the SBIBS

Jeremiah 41 in the SBIBS2

Jeremiah 41 in the SBICS

Jeremiah 41 in the SBIDS

Jeremiah 41 in the SBIGS

Jeremiah 41 in the SBIHS

Jeremiah 41 in the SBIIS

Jeremiah 41 in the SBIIS2

Jeremiah 41 in the SBIIS3

Jeremiah 41 in the SBIKS

Jeremiah 41 in the SBIKS2

Jeremiah 41 in the SBIMS

Jeremiah 41 in the SBIOS

Jeremiah 41 in the SBIPS

Jeremiah 41 in the SBISS

Jeremiah 41 in the SBITS

Jeremiah 41 in the SBITS2

Jeremiah 41 in the SBITS3

Jeremiah 41 in the SBITS4

Jeremiah 41 in the SBIUS

Jeremiah 41 in the SBIVS

Jeremiah 41 in the SBT

Jeremiah 41 in the SBT1E

Jeremiah 41 in the SCHL

Jeremiah 41 in the SNT

Jeremiah 41 in the SUSU

Jeremiah 41 in the SUSU2

Jeremiah 41 in the SYNO

Jeremiah 41 in the TBIAOTANT

Jeremiah 41 in the TBT1E

Jeremiah 41 in the TBT1E2

Jeremiah 41 in the TFTIP

Jeremiah 41 in the TFTU

Jeremiah 41 in the TGNTATF3T

Jeremiah 41 in the THAI

Jeremiah 41 in the TNFD

Jeremiah 41 in the TNT

Jeremiah 41 in the TNTIK

Jeremiah 41 in the TNTIL

Jeremiah 41 in the TNTIN

Jeremiah 41 in the TNTIP

Jeremiah 41 in the TNTIZ

Jeremiah 41 in the TOMA

Jeremiah 41 in the TTENT

Jeremiah 41 in the UBG

Jeremiah 41 in the UGV

Jeremiah 41 in the UGV2

Jeremiah 41 in the UGV3

Jeremiah 41 in the VBL

Jeremiah 41 in the VDCC

Jeremiah 41 in the YALU

Jeremiah 41 in the YAPE

Jeremiah 41 in the YBVTP

Jeremiah 41 in the ZBP