Jeremiah 52 (BOLCB)

1 Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 2 Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga MUKAMA, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. 3 Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga MUKAMA yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, MUKAMA n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni. 4 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. 5 Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya. 6 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. 7 Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. 8 Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. 9 N’akwatibwa.Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa. 12 Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi. 13 Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya MUKAMA n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya. 14 Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi. 15 Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. 16 Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga. 17 Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya MUKAMA ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni. 18 Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu. 19 Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza. 20 Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya MUKAMA, byali bizito nnyo ebitapimika. 21 Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka. 22 Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga. 23 Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi. 24 Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. 25 Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 26 Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. 27 Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe. 28 Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse: mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu; 29 mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza,n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi; 30 mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu,Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka. Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga. 31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 33 Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. 34 Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.

In Other Versions

Jeremiah 52 in the ANGEFD

Jeremiah 52 in the ANTPNG2D

Jeremiah 52 in the AS21

Jeremiah 52 in the BAGH

Jeremiah 52 in the BBPNG

Jeremiah 52 in the BBT1E

Jeremiah 52 in the BDS

Jeremiah 52 in the BEV

Jeremiah 52 in the BHAD

Jeremiah 52 in the BIB

Jeremiah 52 in the BLPT

Jeremiah 52 in the BNT

Jeremiah 52 in the BNTABOOT

Jeremiah 52 in the BNTLV

Jeremiah 52 in the BOATCB

Jeremiah 52 in the BOATCB2

Jeremiah 52 in the BOBCV

Jeremiah 52 in the BOCNT

Jeremiah 52 in the BOECS

Jeremiah 52 in the BOGWICC

Jeremiah 52 in the BOHCB

Jeremiah 52 in the BOHCV

Jeremiah 52 in the BOHLNT

Jeremiah 52 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 52 in the BOICB

Jeremiah 52 in the BOILNTAP

Jeremiah 52 in the BOITCV

Jeremiah 52 in the BOKCV

Jeremiah 52 in the BOKCV2

Jeremiah 52 in the BOKHWOG

Jeremiah 52 in the BOKSSV

Jeremiah 52 in the BOLCB2

Jeremiah 52 in the BOMCV

Jeremiah 52 in the BONAV

Jeremiah 52 in the BONCB

Jeremiah 52 in the BONLT

Jeremiah 52 in the BONUT2

Jeremiah 52 in the BOPLNT

Jeremiah 52 in the BOSCB

Jeremiah 52 in the BOSNC

Jeremiah 52 in the BOTLNT

Jeremiah 52 in the BOVCB

Jeremiah 52 in the BOYCB

Jeremiah 52 in the BPBB

Jeremiah 52 in the BPH

Jeremiah 52 in the BSB

Jeremiah 52 in the CCB

Jeremiah 52 in the CUV

Jeremiah 52 in the CUVS

Jeremiah 52 in the DBT

Jeremiah 52 in the DGDNT

Jeremiah 52 in the DHNT

Jeremiah 52 in the DNT

Jeremiah 52 in the ELBE

Jeremiah 52 in the EMTV

Jeremiah 52 in the ESV

Jeremiah 52 in the FBV

Jeremiah 52 in the FEB

Jeremiah 52 in the GGMNT

Jeremiah 52 in the GNT

Jeremiah 52 in the HARY

Jeremiah 52 in the HNT

Jeremiah 52 in the IRVA

Jeremiah 52 in the IRVB

Jeremiah 52 in the IRVG

Jeremiah 52 in the IRVH

Jeremiah 52 in the IRVK

Jeremiah 52 in the IRVM

Jeremiah 52 in the IRVM2

Jeremiah 52 in the IRVO

Jeremiah 52 in the IRVP

Jeremiah 52 in the IRVT

Jeremiah 52 in the IRVT2

Jeremiah 52 in the IRVU

Jeremiah 52 in the ISVN

Jeremiah 52 in the JSNT

Jeremiah 52 in the KAPI

Jeremiah 52 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 52 in the KBV

Jeremiah 52 in the KJV

Jeremiah 52 in the KNFD

Jeremiah 52 in the LBA

Jeremiah 52 in the LBLA

Jeremiah 52 in the LNT

Jeremiah 52 in the LSV

Jeremiah 52 in the MAAL

Jeremiah 52 in the MBV

Jeremiah 52 in the MBV2

Jeremiah 52 in the MHNT

Jeremiah 52 in the MKNFD

Jeremiah 52 in the MNG

Jeremiah 52 in the MNT

Jeremiah 52 in the MNT2

Jeremiah 52 in the MRS1T

Jeremiah 52 in the NAA

Jeremiah 52 in the NASB

Jeremiah 52 in the NBLA

Jeremiah 52 in the NBS

Jeremiah 52 in the NBVTP

Jeremiah 52 in the NET2

Jeremiah 52 in the NIV11

Jeremiah 52 in the NNT

Jeremiah 52 in the NNT2

Jeremiah 52 in the NNT3

Jeremiah 52 in the PDDPT

Jeremiah 52 in the PFNT

Jeremiah 52 in the RMNT

Jeremiah 52 in the SBIAS

Jeremiah 52 in the SBIBS

Jeremiah 52 in the SBIBS2

Jeremiah 52 in the SBICS

Jeremiah 52 in the SBIDS

Jeremiah 52 in the SBIGS

Jeremiah 52 in the SBIHS

Jeremiah 52 in the SBIIS

Jeremiah 52 in the SBIIS2

Jeremiah 52 in the SBIIS3

Jeremiah 52 in the SBIKS

Jeremiah 52 in the SBIKS2

Jeremiah 52 in the SBIMS

Jeremiah 52 in the SBIOS

Jeremiah 52 in the SBIPS

Jeremiah 52 in the SBISS

Jeremiah 52 in the SBITS

Jeremiah 52 in the SBITS2

Jeremiah 52 in the SBITS3

Jeremiah 52 in the SBITS4

Jeremiah 52 in the SBIUS

Jeremiah 52 in the SBIVS

Jeremiah 52 in the SBT

Jeremiah 52 in the SBT1E

Jeremiah 52 in the SCHL

Jeremiah 52 in the SNT

Jeremiah 52 in the SUSU

Jeremiah 52 in the SUSU2

Jeremiah 52 in the SYNO

Jeremiah 52 in the TBIAOTANT

Jeremiah 52 in the TBT1E

Jeremiah 52 in the TBT1E2

Jeremiah 52 in the TFTIP

Jeremiah 52 in the TFTU

Jeremiah 52 in the TGNTATF3T

Jeremiah 52 in the THAI

Jeremiah 52 in the TNFD

Jeremiah 52 in the TNT

Jeremiah 52 in the TNTIK

Jeremiah 52 in the TNTIL

Jeremiah 52 in the TNTIN

Jeremiah 52 in the TNTIP

Jeremiah 52 in the TNTIZ

Jeremiah 52 in the TOMA

Jeremiah 52 in the TTENT

Jeremiah 52 in the UBG

Jeremiah 52 in the UGV

Jeremiah 52 in the UGV2

Jeremiah 52 in the UGV3

Jeremiah 52 in the VBL

Jeremiah 52 in the VDCC

Jeremiah 52 in the YALU

Jeremiah 52 in the YAPE

Jeremiah 52 in the YBVTP

Jeremiah 52 in the ZBP