Joshua 10 (BOLCB)
1 Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ng’akizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu b’omu Gibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abayisirayiri era nga kaakano babeera nabo, 2 Adonizedeki n’atya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ng’ebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga n’abasajja baamu bakirimaanyi. 3 Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, 4 “Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.” 5 Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, n’ow’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’owe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni. 6 Abasajja b’omu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.” 7 Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige. 8 MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.” 9 Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu. 10 MUKAMA n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda. 11 Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, MUKAMA n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri. 12 Yoswa n’agamba MUKAMA ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.” 13 Enjuba n’omwezi ne bikola nga bwe babiragiddeokutuusa Abayisirayiri lwe baamala okuseseggula abalabe baabwe.Bino byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.Enjuba n’eyimirira butengerera ku ggulu n’eteva mu kifo okumala olunaku lulamba. 14 Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, MUKAMA okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; MUKAMA yalwanirira nnyo Isirayiri. 15 Oluvannyuma lw’ebyo Yoswa n’Abayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali. 16 Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda. 17 Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.” 18 Yoswa n’alagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gw’empuku era mufuneeyo n’abasajja bagikuume; 19 naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo MUKAMA Katonda wammwe abibawadde.” 20 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo, 21 olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule. 22 Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.” 23 Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka w’e Yerusaalemi, n’ow’e Kebbulooni, n’ow’e Yalamusi, n’ow’e Lakisi n’ow’e Eguloni. 24 Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde. 25 Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri MUKAMA gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.” 26 Yoswa bwe yamala okwogera ebyo n’addira bakabaka bali n’abatta, emirambo gyabwe n’agiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi. 27 Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko. 28 Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda. 29 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda, 30 era nakyo MUKAMA n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna. 31 Yoswa n’Abayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba. 32 Ku lunaku olwokubiri MUKAMA n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna. 33 Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be. 34 Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba. 35 Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi. 36 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni, 37 ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni. 38 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba. 39 Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri. 40 Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga MUKAMA Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira. 41 Yoswa n’awangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna ey’e Goseni okutuukira ddala e Gibyoni. 42 N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga MUKAMA Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri. 43 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.