Joshua 23 (BOLCB)
1 Bwe waayitawo ekiseera, MUKAMA Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi, 2 n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; 3 mmwe bennyini mulabye byonna MUKAMA Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga MUKAMA Katonda wammwe yabalwaniridde. 4 Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. 5 MUKAMA Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga MUKAMA Katonda wammwe bwe yabasuubiza. 6 “Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. 7 Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira. 8 Naye munywerere ku MUKAMA Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero. 9 “Kubanga MUKAMA Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza. 10 Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga MUKAMA Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza. 11 Noolwekyo mwekuume, mwagale MUKAMA Katonda wammwe, 12 kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, 13 mukitegeererewo nti MUKAMA Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi MUKAMA Katonda wammwe gy’abawadde. 14 “Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde MUKAMA Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye. 15 Naye ng’ebintu byonna ebirungi MUKAMA Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo MUKAMA Katonda wammwe bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi gy’abawadde. 16 Bwe munaamenyanga endagaano ya MUKAMA Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa MUKAMA bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”
In Other Versions
Joshua 23 in the ANGEFD
Joshua 23 in the ANTPNG2D
Joshua 23 in the AS21
Joshua 23 in the BAGH
Joshua 23 in the BBPNG
Joshua 23 in the BBT1E
Joshua 23 in the BDS
Joshua 23 in the BEV
Joshua 23 in the BHAD
Joshua 23 in the BIB
Joshua 23 in the BLPT
Joshua 23 in the BNT
Joshua 23 in the BNTABOOT
Joshua 23 in the BNTLV
Joshua 23 in the BOATCB
Joshua 23 in the BOATCB2
Joshua 23 in the BOBCV
Joshua 23 in the BOCNT
Joshua 23 in the BOECS
Joshua 23 in the BOGWICC
Joshua 23 in the BOHCB
Joshua 23 in the BOHCV
Joshua 23 in the BOHLNT
Joshua 23 in the BOHNTLTAL
Joshua 23 in the BOICB
Joshua 23 in the BOILNTAP
Joshua 23 in the BOITCV
Joshua 23 in the BOKCV
Joshua 23 in the BOKCV2
Joshua 23 in the BOKHWOG
Joshua 23 in the BOKSSV
Joshua 23 in the BOLCB2
Joshua 23 in the BOMCV
Joshua 23 in the BONAV
Joshua 23 in the BONCB
Joshua 23 in the BONLT
Joshua 23 in the BONUT2
Joshua 23 in the BOPLNT
Joshua 23 in the BOSCB
Joshua 23 in the BOSNC
Joshua 23 in the BOTLNT
Joshua 23 in the BOVCB
Joshua 23 in the BOYCB
Joshua 23 in the BPBB
Joshua 23 in the BPH
Joshua 23 in the BSB
Joshua 23 in the CCB
Joshua 23 in the CUV
Joshua 23 in the CUVS
Joshua 23 in the DBT
Joshua 23 in the DGDNT
Joshua 23 in the DHNT
Joshua 23 in the DNT
Joshua 23 in the ELBE
Joshua 23 in the EMTV
Joshua 23 in the ESV
Joshua 23 in the FBV
Joshua 23 in the FEB
Joshua 23 in the GGMNT
Joshua 23 in the GNT
Joshua 23 in the HARY
Joshua 23 in the HNT
Joshua 23 in the IRVA
Joshua 23 in the IRVB
Joshua 23 in the IRVG
Joshua 23 in the IRVH
Joshua 23 in the IRVK
Joshua 23 in the IRVM
Joshua 23 in the IRVM2
Joshua 23 in the IRVO
Joshua 23 in the IRVP
Joshua 23 in the IRVT
Joshua 23 in the IRVT2
Joshua 23 in the IRVU
Joshua 23 in the ISVN
Joshua 23 in the JSNT
Joshua 23 in the KAPI
Joshua 23 in the KBT1ETNIK
Joshua 23 in the KBV
Joshua 23 in the KJV
Joshua 23 in the KNFD
Joshua 23 in the LBA
Joshua 23 in the LBLA
Joshua 23 in the LNT
Joshua 23 in the LSV
Joshua 23 in the MAAL
Joshua 23 in the MBV
Joshua 23 in the MBV2
Joshua 23 in the MHNT
Joshua 23 in the MKNFD
Joshua 23 in the MNG
Joshua 23 in the MNT
Joshua 23 in the MNT2
Joshua 23 in the MRS1T
Joshua 23 in the NAA
Joshua 23 in the NASB
Joshua 23 in the NBLA
Joshua 23 in the NBS
Joshua 23 in the NBVTP
Joshua 23 in the NET2
Joshua 23 in the NIV11
Joshua 23 in the NNT
Joshua 23 in the NNT2
Joshua 23 in the NNT3
Joshua 23 in the PDDPT
Joshua 23 in the PFNT
Joshua 23 in the RMNT
Joshua 23 in the SBIAS
Joshua 23 in the SBIBS
Joshua 23 in the SBIBS2
Joshua 23 in the SBICS
Joshua 23 in the SBIDS
Joshua 23 in the SBIGS
Joshua 23 in the SBIHS
Joshua 23 in the SBIIS
Joshua 23 in the SBIIS2
Joshua 23 in the SBIIS3
Joshua 23 in the SBIKS
Joshua 23 in the SBIKS2
Joshua 23 in the SBIMS
Joshua 23 in the SBIOS
Joshua 23 in the SBIPS
Joshua 23 in the SBISS
Joshua 23 in the SBITS
Joshua 23 in the SBITS2
Joshua 23 in the SBITS3
Joshua 23 in the SBITS4
Joshua 23 in the SBIUS
Joshua 23 in the SBIVS
Joshua 23 in the SBT
Joshua 23 in the SBT1E
Joshua 23 in the SCHL
Joshua 23 in the SNT
Joshua 23 in the SUSU
Joshua 23 in the SUSU2
Joshua 23 in the SYNO
Joshua 23 in the TBIAOTANT
Joshua 23 in the TBT1E
Joshua 23 in the TBT1E2
Joshua 23 in the TFTIP
Joshua 23 in the TFTU
Joshua 23 in the TGNTATF3T
Joshua 23 in the THAI
Joshua 23 in the TNFD
Joshua 23 in the TNT
Joshua 23 in the TNTIK
Joshua 23 in the TNTIL
Joshua 23 in the TNTIN
Joshua 23 in the TNTIP
Joshua 23 in the TNTIZ
Joshua 23 in the TOMA
Joshua 23 in the TTENT
Joshua 23 in the UBG
Joshua 23 in the UGV
Joshua 23 in the UGV2
Joshua 23 in the UGV3
Joshua 23 in the VBL
Joshua 23 in the VDCC
Joshua 23 in the YALU
Joshua 23 in the YAPE
Joshua 23 in the YBVTP
Joshua 23 in the ZBP