Joshua 4 (BOLCB)
1 Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, MUKAMA n’agamba Yoswa nti, 2 “Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” 3 Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.” 4 Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, 5 “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya MUKAMA Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. 6 Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, 7 mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya MUKAMA bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.” 8 Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi n’abiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ng’omuwendo gw’ebika by’Abayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga MUKAMA bwe yagamba Yoswa. 9 Yoswa n’asimba amayinja kkumi n’abiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko ey’Endagaano we baalinnya era we gali ne kaakano. 10 Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna MUKAMA bye yabalagira ng’ayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro. 11 Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya MUKAMA abantu bonna nga babayeegese amaaso. 12 Awo abasajja ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba, 13 bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ng’ena mu maaso ga MUKAMA Katonda, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lw’e Yeriko. 14 Ku lunaku olwo MUKAMA n’agulumiza nnyo Yoswa mu maaso g’Abayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ez’obulamu bwe nga bwe baakolanga Musa. 15 Awo MUKAMA n’agamba Yoswa nti, 16 “Lagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Obujulirwa baveeyo mu mugga.” 17 Bw’atyo Yoswa n’alagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.” 18 Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya MUKAMA olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo. 19 Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’olubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi n’ensalo ey’ebuvanjuba eya Yeriko. 20 Amayinja ekkumi n’abiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa n’agasimba mu Girugaali. 21 N’agamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu g’amayinja gano, 22 mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani, 23 MUKAMA n’akaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga MUKAMA Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’ 24 Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa MUKAMA gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye MUKAMA Katonda wammwe emirembe gyonna.”
In Other Versions
Joshua 4 in the ANGEFD
Joshua 4 in the ANTPNG2D
Joshua 4 in the AS21
Joshua 4 in the BAGH
Joshua 4 in the BBPNG
Joshua 4 in the BBT1E
Joshua 4 in the BDS
Joshua 4 in the BEV
Joshua 4 in the BHAD
Joshua 4 in the BIB
Joshua 4 in the BLPT
Joshua 4 in the BNT
Joshua 4 in the BNTABOOT
Joshua 4 in the BNTLV
Joshua 4 in the BOATCB
Joshua 4 in the BOATCB2
Joshua 4 in the BOBCV
Joshua 4 in the BOCNT
Joshua 4 in the BOECS
Joshua 4 in the BOGWICC
Joshua 4 in the BOHCB
Joshua 4 in the BOHCV
Joshua 4 in the BOHLNT
Joshua 4 in the BOHNTLTAL
Joshua 4 in the BOICB
Joshua 4 in the BOILNTAP
Joshua 4 in the BOITCV
Joshua 4 in the BOKCV
Joshua 4 in the BOKCV2
Joshua 4 in the BOKHWOG
Joshua 4 in the BOKSSV
Joshua 4 in the BOLCB2
Joshua 4 in the BOMCV
Joshua 4 in the BONAV
Joshua 4 in the BONCB
Joshua 4 in the BONLT
Joshua 4 in the BONUT2
Joshua 4 in the BOPLNT
Joshua 4 in the BOSCB
Joshua 4 in the BOSNC
Joshua 4 in the BOTLNT
Joshua 4 in the BOVCB
Joshua 4 in the BOYCB
Joshua 4 in the BPBB
Joshua 4 in the BPH
Joshua 4 in the BSB
Joshua 4 in the CCB
Joshua 4 in the CUV
Joshua 4 in the CUVS
Joshua 4 in the DBT
Joshua 4 in the DGDNT
Joshua 4 in the DHNT
Joshua 4 in the DNT
Joshua 4 in the ELBE
Joshua 4 in the EMTV
Joshua 4 in the ESV
Joshua 4 in the FBV
Joshua 4 in the FEB
Joshua 4 in the GGMNT
Joshua 4 in the GNT
Joshua 4 in the HARY
Joshua 4 in the HNT
Joshua 4 in the IRVA
Joshua 4 in the IRVB
Joshua 4 in the IRVG
Joshua 4 in the IRVH
Joshua 4 in the IRVK
Joshua 4 in the IRVM
Joshua 4 in the IRVM2
Joshua 4 in the IRVO
Joshua 4 in the IRVP
Joshua 4 in the IRVT
Joshua 4 in the IRVT2
Joshua 4 in the IRVU
Joshua 4 in the ISVN
Joshua 4 in the JSNT
Joshua 4 in the KAPI
Joshua 4 in the KBT1ETNIK
Joshua 4 in the KBV
Joshua 4 in the KJV
Joshua 4 in the KNFD
Joshua 4 in the LBA
Joshua 4 in the LBLA
Joshua 4 in the LNT
Joshua 4 in the LSV
Joshua 4 in the MAAL
Joshua 4 in the MBV
Joshua 4 in the MBV2
Joshua 4 in the MHNT
Joshua 4 in the MKNFD
Joshua 4 in the MNG
Joshua 4 in the MNT
Joshua 4 in the MNT2
Joshua 4 in the MRS1T
Joshua 4 in the NAA
Joshua 4 in the NASB
Joshua 4 in the NBLA
Joshua 4 in the NBS
Joshua 4 in the NBVTP
Joshua 4 in the NET2
Joshua 4 in the NIV11
Joshua 4 in the NNT
Joshua 4 in the NNT2
Joshua 4 in the NNT3
Joshua 4 in the PDDPT
Joshua 4 in the PFNT
Joshua 4 in the RMNT
Joshua 4 in the SBIAS
Joshua 4 in the SBIBS
Joshua 4 in the SBIBS2
Joshua 4 in the SBICS
Joshua 4 in the SBIDS
Joshua 4 in the SBIGS
Joshua 4 in the SBIHS
Joshua 4 in the SBIIS
Joshua 4 in the SBIIS2
Joshua 4 in the SBIIS3
Joshua 4 in the SBIKS
Joshua 4 in the SBIKS2
Joshua 4 in the SBIMS
Joshua 4 in the SBIOS
Joshua 4 in the SBIPS
Joshua 4 in the SBISS
Joshua 4 in the SBITS
Joshua 4 in the SBITS2
Joshua 4 in the SBITS3
Joshua 4 in the SBITS4
Joshua 4 in the SBIUS
Joshua 4 in the SBIVS
Joshua 4 in the SBT
Joshua 4 in the SBT1E
Joshua 4 in the SCHL
Joshua 4 in the SNT
Joshua 4 in the SUSU
Joshua 4 in the SUSU2
Joshua 4 in the SYNO
Joshua 4 in the TBIAOTANT
Joshua 4 in the TBT1E
Joshua 4 in the TBT1E2
Joshua 4 in the TFTIP
Joshua 4 in the TFTU
Joshua 4 in the TGNTATF3T
Joshua 4 in the THAI
Joshua 4 in the TNFD
Joshua 4 in the TNT
Joshua 4 in the TNTIK
Joshua 4 in the TNTIL
Joshua 4 in the TNTIN
Joshua 4 in the TNTIP
Joshua 4 in the TNTIZ
Joshua 4 in the TOMA
Joshua 4 in the TTENT
Joshua 4 in the UBG
Joshua 4 in the UGV
Joshua 4 in the UGV2
Joshua 4 in the UGV3
Joshua 4 in the VBL
Joshua 4 in the VDCC
Joshua 4 in the YALU
Joshua 4 in the YAPE
Joshua 4 in the YBVTP
Joshua 4 in the ZBP