Leviticus 19 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa 2 ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze MUKAMA Katonda wammwe ndi mutukuvu. 3 “Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 4 “Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 5 “Bwe munaawangayo eri MUKAMA ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. 6 Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. 7 Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, 8 ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya MUKAMA ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. 9 “Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. 10 Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 11 “Tobbanga.“Tokumpanyanga.“Temulimbagananga. 12 “Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze MUKAMA. 13 “Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula. 14 “Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze MUKAMA. 15 “Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya. 16 “Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno.“Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze MUKAMA. 17 “Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye. 18 “Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze MUKAMA. 19 “Okwatanga amateeka gange.“Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo.“Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri.“Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri. 20 “Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye. 21 Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri MUKAMA eky’omusango. 22 Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri MUKAMA; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga. 23 “Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga. 24 Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri MUKAMA eky’okumutendereza. 25 Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 26 “Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi;“so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula. 27 “Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga. 28 “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze MUKAMA. 29 “Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona. 30 “Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze MUKAMA. 31 “Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 32 “Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze MUKAMA. 33 “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. 34 Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze MUKAMA Katonda wammwe. 35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze MUKAMA Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri. 37 “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze MUKAMA.”

In Other Versions

Leviticus 19 in the ANGEFD

Leviticus 19 in the ANTPNG2D

Leviticus 19 in the AS21

Leviticus 19 in the BAGH

Leviticus 19 in the BBPNG

Leviticus 19 in the BBT1E

Leviticus 19 in the BDS

Leviticus 19 in the BEV

Leviticus 19 in the BHAD

Leviticus 19 in the BIB

Leviticus 19 in the BLPT

Leviticus 19 in the BNT

Leviticus 19 in the BNTABOOT

Leviticus 19 in the BNTLV

Leviticus 19 in the BOATCB

Leviticus 19 in the BOATCB2

Leviticus 19 in the BOBCV

Leviticus 19 in the BOCNT

Leviticus 19 in the BOECS

Leviticus 19 in the BOGWICC

Leviticus 19 in the BOHCB

Leviticus 19 in the BOHCV

Leviticus 19 in the BOHLNT

Leviticus 19 in the BOHNTLTAL

Leviticus 19 in the BOICB

Leviticus 19 in the BOILNTAP

Leviticus 19 in the BOITCV

Leviticus 19 in the BOKCV

Leviticus 19 in the BOKCV2

Leviticus 19 in the BOKHWOG

Leviticus 19 in the BOKSSV

Leviticus 19 in the BOLCB2

Leviticus 19 in the BOMCV

Leviticus 19 in the BONAV

Leviticus 19 in the BONCB

Leviticus 19 in the BONLT

Leviticus 19 in the BONUT2

Leviticus 19 in the BOPLNT

Leviticus 19 in the BOSCB

Leviticus 19 in the BOSNC

Leviticus 19 in the BOTLNT

Leviticus 19 in the BOVCB

Leviticus 19 in the BOYCB

Leviticus 19 in the BPBB

Leviticus 19 in the BPH

Leviticus 19 in the BSB

Leviticus 19 in the CCB

Leviticus 19 in the CUV

Leviticus 19 in the CUVS

Leviticus 19 in the DBT

Leviticus 19 in the DGDNT

Leviticus 19 in the DHNT

Leviticus 19 in the DNT

Leviticus 19 in the ELBE

Leviticus 19 in the EMTV

Leviticus 19 in the ESV

Leviticus 19 in the FBV

Leviticus 19 in the FEB

Leviticus 19 in the GGMNT

Leviticus 19 in the GNT

Leviticus 19 in the HARY

Leviticus 19 in the HNT

Leviticus 19 in the IRVA

Leviticus 19 in the IRVB

Leviticus 19 in the IRVG

Leviticus 19 in the IRVH

Leviticus 19 in the IRVK

Leviticus 19 in the IRVM

Leviticus 19 in the IRVM2

Leviticus 19 in the IRVO

Leviticus 19 in the IRVP

Leviticus 19 in the IRVT

Leviticus 19 in the IRVT2

Leviticus 19 in the IRVU

Leviticus 19 in the ISVN

Leviticus 19 in the JSNT

Leviticus 19 in the KAPI

Leviticus 19 in the KBT1ETNIK

Leviticus 19 in the KBV

Leviticus 19 in the KJV

Leviticus 19 in the KNFD

Leviticus 19 in the LBA

Leviticus 19 in the LBLA

Leviticus 19 in the LNT

Leviticus 19 in the LSV

Leviticus 19 in the MAAL

Leviticus 19 in the MBV

Leviticus 19 in the MBV2

Leviticus 19 in the MHNT

Leviticus 19 in the MKNFD

Leviticus 19 in the MNG

Leviticus 19 in the MNT

Leviticus 19 in the MNT2

Leviticus 19 in the MRS1T

Leviticus 19 in the NAA

Leviticus 19 in the NASB

Leviticus 19 in the NBLA

Leviticus 19 in the NBS

Leviticus 19 in the NBVTP

Leviticus 19 in the NET2

Leviticus 19 in the NIV11

Leviticus 19 in the NNT

Leviticus 19 in the NNT2

Leviticus 19 in the NNT3

Leviticus 19 in the PDDPT

Leviticus 19 in the PFNT

Leviticus 19 in the RMNT

Leviticus 19 in the SBIAS

Leviticus 19 in the SBIBS

Leviticus 19 in the SBIBS2

Leviticus 19 in the SBICS

Leviticus 19 in the SBIDS

Leviticus 19 in the SBIGS

Leviticus 19 in the SBIHS

Leviticus 19 in the SBIIS

Leviticus 19 in the SBIIS2

Leviticus 19 in the SBIIS3

Leviticus 19 in the SBIKS

Leviticus 19 in the SBIKS2

Leviticus 19 in the SBIMS

Leviticus 19 in the SBIOS

Leviticus 19 in the SBIPS

Leviticus 19 in the SBISS

Leviticus 19 in the SBITS

Leviticus 19 in the SBITS2

Leviticus 19 in the SBITS3

Leviticus 19 in the SBITS4

Leviticus 19 in the SBIUS

Leviticus 19 in the SBIVS

Leviticus 19 in the SBT

Leviticus 19 in the SBT1E

Leviticus 19 in the SCHL

Leviticus 19 in the SNT

Leviticus 19 in the SUSU

Leviticus 19 in the SUSU2

Leviticus 19 in the SYNO

Leviticus 19 in the TBIAOTANT

Leviticus 19 in the TBT1E

Leviticus 19 in the TBT1E2

Leviticus 19 in the TFTIP

Leviticus 19 in the TFTU

Leviticus 19 in the TGNTATF3T

Leviticus 19 in the THAI

Leviticus 19 in the TNFD

Leviticus 19 in the TNT

Leviticus 19 in the TNTIK

Leviticus 19 in the TNTIL

Leviticus 19 in the TNTIN

Leviticus 19 in the TNTIP

Leviticus 19 in the TNTIZ

Leviticus 19 in the TOMA

Leviticus 19 in the TTENT

Leviticus 19 in the UBG

Leviticus 19 in the UGV

Leviticus 19 in the UGV2

Leviticus 19 in the UGV3

Leviticus 19 in the VBL

Leviticus 19 in the VDCC

Leviticus 19 in the YALU

Leviticus 19 in the YAPE

Leviticus 19 in the YBVTP

Leviticus 19 in the ZBP