Leviticus 22 (BOLCB)

1 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze MUKAMA Katonda. 3 Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri MUKAMA Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze MUKAMA Katonda. 4 Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo, 5 oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana. 6 Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi. 7 Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye. 8 Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze MUKAMA. 9 Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze MUKAMA Katonda abatukuza. 10 “Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. 11 Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo. 12 Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. 13 Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo. 14 Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona. 15 Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri MUKAMA, 16 nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze MUKAMA Katonda abatukuza.” 17 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, 18 “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga MUKAMA Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, 19 kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe. 20 Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga. 21 Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo. 22 Temuwangayo eri MUKAMA Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri MUKAMA Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa. 23 Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo. 24 MUKAMA Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe, 25 wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.” 26 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 27 “Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri MUKAMA Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro. 28 Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu. 29 Bwe muwangayo eri MUKAMA Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa. 30 Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze MUKAMA Katonda. 31 “Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze MUKAMA Katonda. 32 Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze MUKAMA Katonda abatukuza mmwe, 33 era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze MUKAMA Katonda.”

In Other Versions

Leviticus 22 in the ANGEFD

Leviticus 22 in the ANTPNG2D

Leviticus 22 in the AS21

Leviticus 22 in the BAGH

Leviticus 22 in the BBPNG

Leviticus 22 in the BBT1E

Leviticus 22 in the BDS

Leviticus 22 in the BEV

Leviticus 22 in the BHAD

Leviticus 22 in the BIB

Leviticus 22 in the BLPT

Leviticus 22 in the BNT

Leviticus 22 in the BNTABOOT

Leviticus 22 in the BNTLV

Leviticus 22 in the BOATCB

Leviticus 22 in the BOATCB2

Leviticus 22 in the BOBCV

Leviticus 22 in the BOCNT

Leviticus 22 in the BOECS

Leviticus 22 in the BOGWICC

Leviticus 22 in the BOHCB

Leviticus 22 in the BOHCV

Leviticus 22 in the BOHLNT

Leviticus 22 in the BOHNTLTAL

Leviticus 22 in the BOICB

Leviticus 22 in the BOILNTAP

Leviticus 22 in the BOITCV

Leviticus 22 in the BOKCV

Leviticus 22 in the BOKCV2

Leviticus 22 in the BOKHWOG

Leviticus 22 in the BOKSSV

Leviticus 22 in the BOLCB2

Leviticus 22 in the BOMCV

Leviticus 22 in the BONAV

Leviticus 22 in the BONCB

Leviticus 22 in the BONLT

Leviticus 22 in the BONUT2

Leviticus 22 in the BOPLNT

Leviticus 22 in the BOSCB

Leviticus 22 in the BOSNC

Leviticus 22 in the BOTLNT

Leviticus 22 in the BOVCB

Leviticus 22 in the BOYCB

Leviticus 22 in the BPBB

Leviticus 22 in the BPH

Leviticus 22 in the BSB

Leviticus 22 in the CCB

Leviticus 22 in the CUV

Leviticus 22 in the CUVS

Leviticus 22 in the DBT

Leviticus 22 in the DGDNT

Leviticus 22 in the DHNT

Leviticus 22 in the DNT

Leviticus 22 in the ELBE

Leviticus 22 in the EMTV

Leviticus 22 in the ESV

Leviticus 22 in the FBV

Leviticus 22 in the FEB

Leviticus 22 in the GGMNT

Leviticus 22 in the GNT

Leviticus 22 in the HARY

Leviticus 22 in the HNT

Leviticus 22 in the IRVA

Leviticus 22 in the IRVB

Leviticus 22 in the IRVG

Leviticus 22 in the IRVH

Leviticus 22 in the IRVK

Leviticus 22 in the IRVM

Leviticus 22 in the IRVM2

Leviticus 22 in the IRVO

Leviticus 22 in the IRVP

Leviticus 22 in the IRVT

Leviticus 22 in the IRVT2

Leviticus 22 in the IRVU

Leviticus 22 in the ISVN

Leviticus 22 in the JSNT

Leviticus 22 in the KAPI

Leviticus 22 in the KBT1ETNIK

Leviticus 22 in the KBV

Leviticus 22 in the KJV

Leviticus 22 in the KNFD

Leviticus 22 in the LBA

Leviticus 22 in the LBLA

Leviticus 22 in the LNT

Leviticus 22 in the LSV

Leviticus 22 in the MAAL

Leviticus 22 in the MBV

Leviticus 22 in the MBV2

Leviticus 22 in the MHNT

Leviticus 22 in the MKNFD

Leviticus 22 in the MNG

Leviticus 22 in the MNT

Leviticus 22 in the MNT2

Leviticus 22 in the MRS1T

Leviticus 22 in the NAA

Leviticus 22 in the NASB

Leviticus 22 in the NBLA

Leviticus 22 in the NBS

Leviticus 22 in the NBVTP

Leviticus 22 in the NET2

Leviticus 22 in the NIV11

Leviticus 22 in the NNT

Leviticus 22 in the NNT2

Leviticus 22 in the NNT3

Leviticus 22 in the PDDPT

Leviticus 22 in the PFNT

Leviticus 22 in the RMNT

Leviticus 22 in the SBIAS

Leviticus 22 in the SBIBS

Leviticus 22 in the SBIBS2

Leviticus 22 in the SBICS

Leviticus 22 in the SBIDS

Leviticus 22 in the SBIGS

Leviticus 22 in the SBIHS

Leviticus 22 in the SBIIS

Leviticus 22 in the SBIIS2

Leviticus 22 in the SBIIS3

Leviticus 22 in the SBIKS

Leviticus 22 in the SBIKS2

Leviticus 22 in the SBIMS

Leviticus 22 in the SBIOS

Leviticus 22 in the SBIPS

Leviticus 22 in the SBISS

Leviticus 22 in the SBITS

Leviticus 22 in the SBITS2

Leviticus 22 in the SBITS3

Leviticus 22 in the SBITS4

Leviticus 22 in the SBIUS

Leviticus 22 in the SBIVS

Leviticus 22 in the SBT

Leviticus 22 in the SBT1E

Leviticus 22 in the SCHL

Leviticus 22 in the SNT

Leviticus 22 in the SUSU

Leviticus 22 in the SUSU2

Leviticus 22 in the SYNO

Leviticus 22 in the TBIAOTANT

Leviticus 22 in the TBT1E

Leviticus 22 in the TBT1E2

Leviticus 22 in the TFTIP

Leviticus 22 in the TFTU

Leviticus 22 in the TGNTATF3T

Leviticus 22 in the THAI

Leviticus 22 in the TNFD

Leviticus 22 in the TNT

Leviticus 22 in the TNTIK

Leviticus 22 in the TNTIL

Leviticus 22 in the TNTIN

Leviticus 22 in the TNTIP

Leviticus 22 in the TNTIZ

Leviticus 22 in the TOMA

Leviticus 22 in the TTENT

Leviticus 22 in the UBG

Leviticus 22 in the UGV

Leviticus 22 in the UGV2

Leviticus 22 in the UGV3

Leviticus 22 in the VBL

Leviticus 22 in the VDCC

Leviticus 22 in the YALU

Leviticus 22 in the YAPE

Leviticus 22 in the YBVTP

Leviticus 22 in the ZBP