Leviticus 8 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; 3 okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” 4 Musa n’akola nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 5 Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino MUKAMA Katonda ky’atulagidde okukola.” 6 Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi. 7 N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza. 8 N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. 9 N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 10 Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya MUKAMA, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula. 11 N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza. 12 N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza. 13 Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 14 Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 15 Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra. 16 Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto. 17 Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 18 Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 19 Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto. 20 Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu. 21 Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri MUKAMA, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 22 Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo. 23 Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo. 24 Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula. 25 N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo; 26 n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga MUKAMA Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo; 27 ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga MUKAMA Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 28 Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri MUKAMA Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. 29 Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri MUKAMA ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 30 Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe. 31 Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ 32 Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. 33 Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. 34 MUKAMA alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. 35 Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo MUKAMA by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36 Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna MUKAMA Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.

In Other Versions

Leviticus 8 in the ANGEFD

Leviticus 8 in the ANTPNG2D

Leviticus 8 in the AS21

Leviticus 8 in the BAGH

Leviticus 8 in the BBPNG

Leviticus 8 in the BBT1E

Leviticus 8 in the BDS

Leviticus 8 in the BEV

Leviticus 8 in the BHAD

Leviticus 8 in the BIB

Leviticus 8 in the BLPT

Leviticus 8 in the BNT

Leviticus 8 in the BNTABOOT

Leviticus 8 in the BNTLV

Leviticus 8 in the BOATCB

Leviticus 8 in the BOATCB2

Leviticus 8 in the BOBCV

Leviticus 8 in the BOCNT

Leviticus 8 in the BOECS

Leviticus 8 in the BOGWICC

Leviticus 8 in the BOHCB

Leviticus 8 in the BOHCV

Leviticus 8 in the BOHLNT

Leviticus 8 in the BOHNTLTAL

Leviticus 8 in the BOICB

Leviticus 8 in the BOILNTAP

Leviticus 8 in the BOITCV

Leviticus 8 in the BOKCV

Leviticus 8 in the BOKCV2

Leviticus 8 in the BOKHWOG

Leviticus 8 in the BOKSSV

Leviticus 8 in the BOLCB2

Leviticus 8 in the BOMCV

Leviticus 8 in the BONAV

Leviticus 8 in the BONCB

Leviticus 8 in the BONLT

Leviticus 8 in the BONUT2

Leviticus 8 in the BOPLNT

Leviticus 8 in the BOSCB

Leviticus 8 in the BOSNC

Leviticus 8 in the BOTLNT

Leviticus 8 in the BOVCB

Leviticus 8 in the BOYCB

Leviticus 8 in the BPBB

Leviticus 8 in the BPH

Leviticus 8 in the BSB

Leviticus 8 in the CCB

Leviticus 8 in the CUV

Leviticus 8 in the CUVS

Leviticus 8 in the DBT

Leviticus 8 in the DGDNT

Leviticus 8 in the DHNT

Leviticus 8 in the DNT

Leviticus 8 in the ELBE

Leviticus 8 in the EMTV

Leviticus 8 in the ESV

Leviticus 8 in the FBV

Leviticus 8 in the FEB

Leviticus 8 in the GGMNT

Leviticus 8 in the GNT

Leviticus 8 in the HARY

Leviticus 8 in the HNT

Leviticus 8 in the IRVA

Leviticus 8 in the IRVB

Leviticus 8 in the IRVG

Leviticus 8 in the IRVH

Leviticus 8 in the IRVK

Leviticus 8 in the IRVM

Leviticus 8 in the IRVM2

Leviticus 8 in the IRVO

Leviticus 8 in the IRVP

Leviticus 8 in the IRVT

Leviticus 8 in the IRVT2

Leviticus 8 in the IRVU

Leviticus 8 in the ISVN

Leviticus 8 in the JSNT

Leviticus 8 in the KAPI

Leviticus 8 in the KBT1ETNIK

Leviticus 8 in the KBV

Leviticus 8 in the KJV

Leviticus 8 in the KNFD

Leviticus 8 in the LBA

Leviticus 8 in the LBLA

Leviticus 8 in the LNT

Leviticus 8 in the LSV

Leviticus 8 in the MAAL

Leviticus 8 in the MBV

Leviticus 8 in the MBV2

Leviticus 8 in the MHNT

Leviticus 8 in the MKNFD

Leviticus 8 in the MNG

Leviticus 8 in the MNT

Leviticus 8 in the MNT2

Leviticus 8 in the MRS1T

Leviticus 8 in the NAA

Leviticus 8 in the NASB

Leviticus 8 in the NBLA

Leviticus 8 in the NBS

Leviticus 8 in the NBVTP

Leviticus 8 in the NET2

Leviticus 8 in the NIV11

Leviticus 8 in the NNT

Leviticus 8 in the NNT2

Leviticus 8 in the NNT3

Leviticus 8 in the PDDPT

Leviticus 8 in the PFNT

Leviticus 8 in the RMNT

Leviticus 8 in the SBIAS

Leviticus 8 in the SBIBS

Leviticus 8 in the SBIBS2

Leviticus 8 in the SBICS

Leviticus 8 in the SBIDS

Leviticus 8 in the SBIGS

Leviticus 8 in the SBIHS

Leviticus 8 in the SBIIS

Leviticus 8 in the SBIIS2

Leviticus 8 in the SBIIS3

Leviticus 8 in the SBIKS

Leviticus 8 in the SBIKS2

Leviticus 8 in the SBIMS

Leviticus 8 in the SBIOS

Leviticus 8 in the SBIPS

Leviticus 8 in the SBISS

Leviticus 8 in the SBITS

Leviticus 8 in the SBITS2

Leviticus 8 in the SBITS3

Leviticus 8 in the SBITS4

Leviticus 8 in the SBIUS

Leviticus 8 in the SBIVS

Leviticus 8 in the SBT

Leviticus 8 in the SBT1E

Leviticus 8 in the SCHL

Leviticus 8 in the SNT

Leviticus 8 in the SUSU

Leviticus 8 in the SUSU2

Leviticus 8 in the SYNO

Leviticus 8 in the TBIAOTANT

Leviticus 8 in the TBT1E

Leviticus 8 in the TBT1E2

Leviticus 8 in the TFTIP

Leviticus 8 in the TFTU

Leviticus 8 in the TGNTATF3T

Leviticus 8 in the THAI

Leviticus 8 in the TNFD

Leviticus 8 in the TNT

Leviticus 8 in the TNTIK

Leviticus 8 in the TNTIL

Leviticus 8 in the TNTIN

Leviticus 8 in the TNTIP

Leviticus 8 in the TNTIZ

Leviticus 8 in the TOMA

Leviticus 8 in the TTENT

Leviticus 8 in the UBG

Leviticus 8 in the UGV

Leviticus 8 in the UGV2

Leviticus 8 in the UGV3

Leviticus 8 in the VBL

Leviticus 8 in the VDCC

Leviticus 8 in the YALU

Leviticus 8 in the YAPE

Leviticus 8 in the YBVTP

Leviticus 8 in the ZBP