Luke 5 (BOLCB)

1 Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, 2 n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. 3 Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina. 4 Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!” 5 Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.” 6 Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. 7 Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo. 8 Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” 9 Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, 10 Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.” 11 Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye. 12 Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.” 13 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako. 14 Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.” 15 Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu ly’obuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16 Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula n’alagako mu bifo eteri bantu, okusaba. 17 Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo eky’e Ggaliraaya ne Buyudaaya era n’e Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya. 18 Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. 19 Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu. 20 Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 21 Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?” 22 Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? 23 Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? 24 Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” N’agamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.” 25 Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda. 26 Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.” 27 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.” 28 Leevi n’aleka awo byonna, n’asitukiramu n’amugoberera. 29 Awo Leevi n’afumbira Yesu ekijjulo eky’amaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne ab’omusolo bangi, n’abantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo. 30 Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya, olw’abayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza b’omusolo n’abalina ebibi?” 31 Yesu n’abaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde. 32 Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.” 33 Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.” 34 Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo? 35 Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ng’abaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.” 36 Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde. 37 Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike. 38 Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya. 39 Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”

In Other Versions

Luke 5 in the ANGEFD

Luke 5 in the ANTPNG2D

Luke 5 in the AS21

Luke 5 in the BAGH

Luke 5 in the BBPNG

Luke 5 in the BBT1E

Luke 5 in the BDS

Luke 5 in the BEV

Luke 5 in the BHAD

Luke 5 in the BIB

Luke 5 in the BLPT

Luke 5 in the BNT

Luke 5 in the BNTABOOT

Luke 5 in the BNTLV

Luke 5 in the BOATCB

Luke 5 in the BOATCB2

Luke 5 in the BOBCV

Luke 5 in the BOCNT

Luke 5 in the BOECS

Luke 5 in the BOGWICC

Luke 5 in the BOHCB

Luke 5 in the BOHCV

Luke 5 in the BOHLNT

Luke 5 in the BOHNTLTAL

Luke 5 in the BOICB

Luke 5 in the BOILNTAP

Luke 5 in the BOITCV

Luke 5 in the BOKCV

Luke 5 in the BOKCV2

Luke 5 in the BOKHWOG

Luke 5 in the BOKSSV

Luke 5 in the BOLCB2

Luke 5 in the BOMCV

Luke 5 in the BONAV

Luke 5 in the BONCB

Luke 5 in the BONLT

Luke 5 in the BONUT2

Luke 5 in the BOPLNT

Luke 5 in the BOSCB

Luke 5 in the BOSNC

Luke 5 in the BOTLNT

Luke 5 in the BOVCB

Luke 5 in the BOYCB

Luke 5 in the BPBB

Luke 5 in the BPH

Luke 5 in the BSB

Luke 5 in the CCB

Luke 5 in the CUV

Luke 5 in the CUVS

Luke 5 in the DBT

Luke 5 in the DGDNT

Luke 5 in the DHNT

Luke 5 in the DNT

Luke 5 in the ELBE

Luke 5 in the EMTV

Luke 5 in the ESV

Luke 5 in the FBV

Luke 5 in the FEB

Luke 5 in the GGMNT

Luke 5 in the GNT

Luke 5 in the HARY

Luke 5 in the HNT

Luke 5 in the IRVA

Luke 5 in the IRVB

Luke 5 in the IRVG

Luke 5 in the IRVH

Luke 5 in the IRVK

Luke 5 in the IRVM

Luke 5 in the IRVM2

Luke 5 in the IRVO

Luke 5 in the IRVP

Luke 5 in the IRVT

Luke 5 in the IRVT2

Luke 5 in the IRVU

Luke 5 in the ISVN

Luke 5 in the JSNT

Luke 5 in the KAPI

Luke 5 in the KBT1ETNIK

Luke 5 in the KBV

Luke 5 in the KJV

Luke 5 in the KNFD

Luke 5 in the LBA

Luke 5 in the LBLA

Luke 5 in the LNT

Luke 5 in the LSV

Luke 5 in the MAAL

Luke 5 in the MBV

Luke 5 in the MBV2

Luke 5 in the MHNT

Luke 5 in the MKNFD

Luke 5 in the MNG

Luke 5 in the MNT

Luke 5 in the MNT2

Luke 5 in the MRS1T

Luke 5 in the NAA

Luke 5 in the NASB

Luke 5 in the NBLA

Luke 5 in the NBS

Luke 5 in the NBVTP

Luke 5 in the NET2

Luke 5 in the NIV11

Luke 5 in the NNT

Luke 5 in the NNT2

Luke 5 in the NNT3

Luke 5 in the PDDPT

Luke 5 in the PFNT

Luke 5 in the RMNT

Luke 5 in the SBIAS

Luke 5 in the SBIBS

Luke 5 in the SBIBS2

Luke 5 in the SBICS

Luke 5 in the SBIDS

Luke 5 in the SBIGS

Luke 5 in the SBIHS

Luke 5 in the SBIIS

Luke 5 in the SBIIS2

Luke 5 in the SBIIS3

Luke 5 in the SBIKS

Luke 5 in the SBIKS2

Luke 5 in the SBIMS

Luke 5 in the SBIOS

Luke 5 in the SBIPS

Luke 5 in the SBISS

Luke 5 in the SBITS

Luke 5 in the SBITS2

Luke 5 in the SBITS3

Luke 5 in the SBITS4

Luke 5 in the SBIUS

Luke 5 in the SBIVS

Luke 5 in the SBT

Luke 5 in the SBT1E

Luke 5 in the SCHL

Luke 5 in the SNT

Luke 5 in the SUSU

Luke 5 in the SUSU2

Luke 5 in the SYNO

Luke 5 in the TBIAOTANT

Luke 5 in the TBT1E

Luke 5 in the TBT1E2

Luke 5 in the TFTIP

Luke 5 in the TFTU

Luke 5 in the TGNTATF3T

Luke 5 in the THAI

Luke 5 in the TNFD

Luke 5 in the TNT

Luke 5 in the TNTIK

Luke 5 in the TNTIL

Luke 5 in the TNTIN

Luke 5 in the TNTIP

Luke 5 in the TNTIZ

Luke 5 in the TOMA

Luke 5 in the TTENT

Luke 5 in the UBG

Luke 5 in the UGV

Luke 5 in the UGV2

Luke 5 in the UGV3

Luke 5 in the VBL

Luke 5 in the VDCC

Luke 5 in the YALU

Luke 5 in the YAPE

Luke 5 in the YBVTP

Luke 5 in the ZBP