Numbers 15 (BOLCB)

1 MUKAMA Katonda n’agamba Musa 2 ayogere n’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe, 3 ne muleetera MUKAMA Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa MUKAMA; 4 kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini ey’amafuta ag’omuzeeyituuni. 5 Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa. 6 “Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini, 7 era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. 8 “Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri MUKAMA Katonda, 9 ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu. 10 Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. 11 Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo. 12 Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi. 13 “Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda. 14 Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa MUKAMA Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola. 15 Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga MUKAMA Katonda. 16 Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.” 17 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 18 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala, 19 ne mulya ku mmere y’omu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri MUKAMA. 20 Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro. 21 Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri MUKAMA Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’  22 “Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna MUKAMA Katonda g’awadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera, 23 amateeka ago gonna MUKAMA Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku MUKAMA lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja, 24 ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri MUKAMA Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi. 25 Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere. 26 Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde. 27 “Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 28 Kabona anaatangiririranga, eri MUKAMA, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga. 29 Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe. 30 “Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde MUKAMA Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala. 31 Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya MUKAMA Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.” 32 Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. 33 Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna, 34 ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera. 35 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.” 36 Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 37 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 38 “Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu. 39 Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga MUKAMA Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe. 40 Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe. 41 Nze MUKAMA Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze MUKAMA Katonda wammwe.”

In Other Versions

Numbers 15 in the ANGEFD

Numbers 15 in the ANTPNG2D

Numbers 15 in the AS21

Numbers 15 in the BAGH

Numbers 15 in the BBPNG

Numbers 15 in the BBT1E

Numbers 15 in the BDS

Numbers 15 in the BEV

Numbers 15 in the BHAD

Numbers 15 in the BIB

Numbers 15 in the BLPT

Numbers 15 in the BNT

Numbers 15 in the BNTABOOT

Numbers 15 in the BNTLV

Numbers 15 in the BOATCB

Numbers 15 in the BOATCB2

Numbers 15 in the BOBCV

Numbers 15 in the BOCNT

Numbers 15 in the BOECS

Numbers 15 in the BOGWICC

Numbers 15 in the BOHCB

Numbers 15 in the BOHCV

Numbers 15 in the BOHLNT

Numbers 15 in the BOHNTLTAL

Numbers 15 in the BOICB

Numbers 15 in the BOILNTAP

Numbers 15 in the BOITCV

Numbers 15 in the BOKCV

Numbers 15 in the BOKCV2

Numbers 15 in the BOKHWOG

Numbers 15 in the BOKSSV

Numbers 15 in the BOLCB2

Numbers 15 in the BOMCV

Numbers 15 in the BONAV

Numbers 15 in the BONCB

Numbers 15 in the BONLT

Numbers 15 in the BONUT2

Numbers 15 in the BOPLNT

Numbers 15 in the BOSCB

Numbers 15 in the BOSNC

Numbers 15 in the BOTLNT

Numbers 15 in the BOVCB

Numbers 15 in the BOYCB

Numbers 15 in the BPBB

Numbers 15 in the BPH

Numbers 15 in the BSB

Numbers 15 in the CCB

Numbers 15 in the CUV

Numbers 15 in the CUVS

Numbers 15 in the DBT

Numbers 15 in the DGDNT

Numbers 15 in the DHNT

Numbers 15 in the DNT

Numbers 15 in the ELBE

Numbers 15 in the EMTV

Numbers 15 in the ESV

Numbers 15 in the FBV

Numbers 15 in the FEB

Numbers 15 in the GGMNT

Numbers 15 in the GNT

Numbers 15 in the HARY

Numbers 15 in the HNT

Numbers 15 in the IRVA

Numbers 15 in the IRVB

Numbers 15 in the IRVG

Numbers 15 in the IRVH

Numbers 15 in the IRVK

Numbers 15 in the IRVM

Numbers 15 in the IRVM2

Numbers 15 in the IRVO

Numbers 15 in the IRVP

Numbers 15 in the IRVT

Numbers 15 in the IRVT2

Numbers 15 in the IRVU

Numbers 15 in the ISVN

Numbers 15 in the JSNT

Numbers 15 in the KAPI

Numbers 15 in the KBT1ETNIK

Numbers 15 in the KBV

Numbers 15 in the KJV

Numbers 15 in the KNFD

Numbers 15 in the LBA

Numbers 15 in the LBLA

Numbers 15 in the LNT

Numbers 15 in the LSV

Numbers 15 in the MAAL

Numbers 15 in the MBV

Numbers 15 in the MBV2

Numbers 15 in the MHNT

Numbers 15 in the MKNFD

Numbers 15 in the MNG

Numbers 15 in the MNT

Numbers 15 in the MNT2

Numbers 15 in the MRS1T

Numbers 15 in the NAA

Numbers 15 in the NASB

Numbers 15 in the NBLA

Numbers 15 in the NBS

Numbers 15 in the NBVTP

Numbers 15 in the NET2

Numbers 15 in the NIV11

Numbers 15 in the NNT

Numbers 15 in the NNT2

Numbers 15 in the NNT3

Numbers 15 in the PDDPT

Numbers 15 in the PFNT

Numbers 15 in the RMNT

Numbers 15 in the SBIAS

Numbers 15 in the SBIBS

Numbers 15 in the SBIBS2

Numbers 15 in the SBICS

Numbers 15 in the SBIDS

Numbers 15 in the SBIGS

Numbers 15 in the SBIHS

Numbers 15 in the SBIIS

Numbers 15 in the SBIIS2

Numbers 15 in the SBIIS3

Numbers 15 in the SBIKS

Numbers 15 in the SBIKS2

Numbers 15 in the SBIMS

Numbers 15 in the SBIOS

Numbers 15 in the SBIPS

Numbers 15 in the SBISS

Numbers 15 in the SBITS

Numbers 15 in the SBITS2

Numbers 15 in the SBITS3

Numbers 15 in the SBITS4

Numbers 15 in the SBIUS

Numbers 15 in the SBIVS

Numbers 15 in the SBT

Numbers 15 in the SBT1E

Numbers 15 in the SCHL

Numbers 15 in the SNT

Numbers 15 in the SUSU

Numbers 15 in the SUSU2

Numbers 15 in the SYNO

Numbers 15 in the TBIAOTANT

Numbers 15 in the TBT1E

Numbers 15 in the TBT1E2

Numbers 15 in the TFTIP

Numbers 15 in the TFTU

Numbers 15 in the TGNTATF3T

Numbers 15 in the THAI

Numbers 15 in the TNFD

Numbers 15 in the TNT

Numbers 15 in the TNTIK

Numbers 15 in the TNTIL

Numbers 15 in the TNTIN

Numbers 15 in the TNTIP

Numbers 15 in the TNTIZ

Numbers 15 in the TOMA

Numbers 15 in the TTENT

Numbers 15 in the UBG

Numbers 15 in the UGV

Numbers 15 in the UGV2

Numbers 15 in the UGV3

Numbers 15 in the VBL

Numbers 15 in the VDCC

Numbers 15 in the YALU

Numbers 15 in the YAPE

Numbers 15 in the YBVTP

Numbers 15 in the ZBP