Numbers 5 (BOLCB)

1 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. 3 Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” 4 Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 5 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 6 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri MUKAMA Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango, 7 era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango. 8 Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya MUKAMA Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona. 9 Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo. 10 Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ” 11 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 12 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba 13 ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola; 14 singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako, 15 kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa. 16 “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga MUKAMA Katonda. 17 Anaddiranga amazzi amatukuvu nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema. 18 Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga MUKAMA Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. 19 Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’ 20 Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa, 21 wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘MUKAMA Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba. 22 Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’ “Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’ 23 “ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa. 24 Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri. 25 Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga MUKAMA Katonda, n’akireeta ku kyoto. 26 Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali. 27 Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe. 28 Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’ 29 “ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, 30 oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri MUKAMA Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. 31 Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”

In Other Versions

Numbers 5 in the ANGEFD

Numbers 5 in the ANTPNG2D

Numbers 5 in the AS21

Numbers 5 in the BAGH

Numbers 5 in the BBPNG

Numbers 5 in the BBT1E

Numbers 5 in the BDS

Numbers 5 in the BEV

Numbers 5 in the BHAD

Numbers 5 in the BIB

Numbers 5 in the BLPT

Numbers 5 in the BNT

Numbers 5 in the BNTABOOT

Numbers 5 in the BNTLV

Numbers 5 in the BOATCB

Numbers 5 in the BOATCB2

Numbers 5 in the BOBCV

Numbers 5 in the BOCNT

Numbers 5 in the BOECS

Numbers 5 in the BOGWICC

Numbers 5 in the BOHCB

Numbers 5 in the BOHCV

Numbers 5 in the BOHLNT

Numbers 5 in the BOHNTLTAL

Numbers 5 in the BOICB

Numbers 5 in the BOILNTAP

Numbers 5 in the BOITCV

Numbers 5 in the BOKCV

Numbers 5 in the BOKCV2

Numbers 5 in the BOKHWOG

Numbers 5 in the BOKSSV

Numbers 5 in the BOLCB2

Numbers 5 in the BOMCV

Numbers 5 in the BONAV

Numbers 5 in the BONCB

Numbers 5 in the BONLT

Numbers 5 in the BONUT2

Numbers 5 in the BOPLNT

Numbers 5 in the BOSCB

Numbers 5 in the BOSNC

Numbers 5 in the BOTLNT

Numbers 5 in the BOVCB

Numbers 5 in the BOYCB

Numbers 5 in the BPBB

Numbers 5 in the BPH

Numbers 5 in the BSB

Numbers 5 in the CCB

Numbers 5 in the CUV

Numbers 5 in the CUVS

Numbers 5 in the DBT

Numbers 5 in the DGDNT

Numbers 5 in the DHNT

Numbers 5 in the DNT

Numbers 5 in the ELBE

Numbers 5 in the EMTV

Numbers 5 in the ESV

Numbers 5 in the FBV

Numbers 5 in the FEB

Numbers 5 in the GGMNT

Numbers 5 in the GNT

Numbers 5 in the HARY

Numbers 5 in the HNT

Numbers 5 in the IRVA

Numbers 5 in the IRVB

Numbers 5 in the IRVG

Numbers 5 in the IRVH

Numbers 5 in the IRVK

Numbers 5 in the IRVM

Numbers 5 in the IRVM2

Numbers 5 in the IRVO

Numbers 5 in the IRVP

Numbers 5 in the IRVT

Numbers 5 in the IRVT2

Numbers 5 in the IRVU

Numbers 5 in the ISVN

Numbers 5 in the JSNT

Numbers 5 in the KAPI

Numbers 5 in the KBT1ETNIK

Numbers 5 in the KBV

Numbers 5 in the KJV

Numbers 5 in the KNFD

Numbers 5 in the LBA

Numbers 5 in the LBLA

Numbers 5 in the LNT

Numbers 5 in the LSV

Numbers 5 in the MAAL

Numbers 5 in the MBV

Numbers 5 in the MBV2

Numbers 5 in the MHNT

Numbers 5 in the MKNFD

Numbers 5 in the MNG

Numbers 5 in the MNT

Numbers 5 in the MNT2

Numbers 5 in the MRS1T

Numbers 5 in the NAA

Numbers 5 in the NASB

Numbers 5 in the NBLA

Numbers 5 in the NBS

Numbers 5 in the NBVTP

Numbers 5 in the NET2

Numbers 5 in the NIV11

Numbers 5 in the NNT

Numbers 5 in the NNT2

Numbers 5 in the NNT3

Numbers 5 in the PDDPT

Numbers 5 in the PFNT

Numbers 5 in the RMNT

Numbers 5 in the SBIAS

Numbers 5 in the SBIBS

Numbers 5 in the SBIBS2

Numbers 5 in the SBICS

Numbers 5 in the SBIDS

Numbers 5 in the SBIGS

Numbers 5 in the SBIHS

Numbers 5 in the SBIIS

Numbers 5 in the SBIIS2

Numbers 5 in the SBIIS3

Numbers 5 in the SBIKS

Numbers 5 in the SBIKS2

Numbers 5 in the SBIMS

Numbers 5 in the SBIOS

Numbers 5 in the SBIPS

Numbers 5 in the SBISS

Numbers 5 in the SBITS

Numbers 5 in the SBITS2

Numbers 5 in the SBITS3

Numbers 5 in the SBITS4

Numbers 5 in the SBIUS

Numbers 5 in the SBIVS

Numbers 5 in the SBT

Numbers 5 in the SBT1E

Numbers 5 in the SCHL

Numbers 5 in the SNT

Numbers 5 in the SUSU

Numbers 5 in the SUSU2

Numbers 5 in the SYNO

Numbers 5 in the TBIAOTANT

Numbers 5 in the TBT1E

Numbers 5 in the TBT1E2

Numbers 5 in the TFTIP

Numbers 5 in the TFTU

Numbers 5 in the TGNTATF3T

Numbers 5 in the THAI

Numbers 5 in the TNFD

Numbers 5 in the TNT

Numbers 5 in the TNTIK

Numbers 5 in the TNTIL

Numbers 5 in the TNTIN

Numbers 5 in the TNTIP

Numbers 5 in the TNTIZ

Numbers 5 in the TOMA

Numbers 5 in the TTENT

Numbers 5 in the UBG

Numbers 5 in the UGV

Numbers 5 in the UGV2

Numbers 5 in the UGV3

Numbers 5 in the VBL

Numbers 5 in the VDCC

Numbers 5 in the YALU

Numbers 5 in the YAPE

Numbers 5 in the YBVTP

Numbers 5 in the ZBP