Proverbs 12 (BOLCB)

1 Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru. 2 Omuntu omulungi aganja mu maaso ga MUKAMA,naye MUKAMA asalira omusango omuntu ow’enkwe. 3 Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa. 4 Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba. 5 Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba. 6 Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya. 7 Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna. 8 Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,naye eby’omusirusiru bimunyoomesa. 9 Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya. 10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere. 11 Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi. 12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera. 13 Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,naye omutuukirivu awona akabi. 14 Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi. 15 Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa. 16 Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume. 17 Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba. 18 Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya. 19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera. 20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe. 21 Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana. 22 MUKAMA akyawa emimwa egirimba,naye asanyukira ab’amazima. 23 Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe. 24 Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu. 25 Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa. 26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,naye ekkubo ly’ababi libabuza. 27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali. 28 Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,era mu kkubo eryo temuli kufa.

In Other Versions

Proverbs 12 in the ANGEFD

Proverbs 12 in the ANTPNG2D

Proverbs 12 in the AS21

Proverbs 12 in the BAGH

Proverbs 12 in the BBPNG

Proverbs 12 in the BBT1E

Proverbs 12 in the BDS

Proverbs 12 in the BEV

Proverbs 12 in the BHAD

Proverbs 12 in the BIB

Proverbs 12 in the BLPT

Proverbs 12 in the BNT

Proverbs 12 in the BNTABOOT

Proverbs 12 in the BNTLV

Proverbs 12 in the BOATCB

Proverbs 12 in the BOATCB2

Proverbs 12 in the BOBCV

Proverbs 12 in the BOCNT

Proverbs 12 in the BOECS

Proverbs 12 in the BOGWICC

Proverbs 12 in the BOHCB

Proverbs 12 in the BOHCV

Proverbs 12 in the BOHLNT

Proverbs 12 in the BOHNTLTAL

Proverbs 12 in the BOICB

Proverbs 12 in the BOILNTAP

Proverbs 12 in the BOITCV

Proverbs 12 in the BOKCV

Proverbs 12 in the BOKCV2

Proverbs 12 in the BOKHWOG

Proverbs 12 in the BOKSSV

Proverbs 12 in the BOLCB2

Proverbs 12 in the BOMCV

Proverbs 12 in the BONAV

Proverbs 12 in the BONCB

Proverbs 12 in the BONLT

Proverbs 12 in the BONUT2

Proverbs 12 in the BOPLNT

Proverbs 12 in the BOSCB

Proverbs 12 in the BOSNC

Proverbs 12 in the BOTLNT

Proverbs 12 in the BOVCB

Proverbs 12 in the BOYCB

Proverbs 12 in the BPBB

Proverbs 12 in the BPH

Proverbs 12 in the BSB

Proverbs 12 in the CCB

Proverbs 12 in the CUV

Proverbs 12 in the CUVS

Proverbs 12 in the DBT

Proverbs 12 in the DGDNT

Proverbs 12 in the DHNT

Proverbs 12 in the DNT

Proverbs 12 in the ELBE

Proverbs 12 in the EMTV

Proverbs 12 in the ESV

Proverbs 12 in the FBV

Proverbs 12 in the FEB

Proverbs 12 in the GGMNT

Proverbs 12 in the GNT

Proverbs 12 in the HARY

Proverbs 12 in the HNT

Proverbs 12 in the IRVA

Proverbs 12 in the IRVB

Proverbs 12 in the IRVG

Proverbs 12 in the IRVH

Proverbs 12 in the IRVK

Proverbs 12 in the IRVM

Proverbs 12 in the IRVM2

Proverbs 12 in the IRVO

Proverbs 12 in the IRVP

Proverbs 12 in the IRVT

Proverbs 12 in the IRVT2

Proverbs 12 in the IRVU

Proverbs 12 in the ISVN

Proverbs 12 in the JSNT

Proverbs 12 in the KAPI

Proverbs 12 in the KBT1ETNIK

Proverbs 12 in the KBV

Proverbs 12 in the KJV

Proverbs 12 in the KNFD

Proverbs 12 in the LBA

Proverbs 12 in the LBLA

Proverbs 12 in the LNT

Proverbs 12 in the LSV

Proverbs 12 in the MAAL

Proverbs 12 in the MBV

Proverbs 12 in the MBV2

Proverbs 12 in the MHNT

Proverbs 12 in the MKNFD

Proverbs 12 in the MNG

Proverbs 12 in the MNT

Proverbs 12 in the MNT2

Proverbs 12 in the MRS1T

Proverbs 12 in the NAA

Proverbs 12 in the NASB

Proverbs 12 in the NBLA

Proverbs 12 in the NBS

Proverbs 12 in the NBVTP

Proverbs 12 in the NET2

Proverbs 12 in the NIV11

Proverbs 12 in the NNT

Proverbs 12 in the NNT2

Proverbs 12 in the NNT3

Proverbs 12 in the PDDPT

Proverbs 12 in the PFNT

Proverbs 12 in the RMNT

Proverbs 12 in the SBIAS

Proverbs 12 in the SBIBS

Proverbs 12 in the SBIBS2

Proverbs 12 in the SBICS

Proverbs 12 in the SBIDS

Proverbs 12 in the SBIGS

Proverbs 12 in the SBIHS

Proverbs 12 in the SBIIS

Proverbs 12 in the SBIIS2

Proverbs 12 in the SBIIS3

Proverbs 12 in the SBIKS

Proverbs 12 in the SBIKS2

Proverbs 12 in the SBIMS

Proverbs 12 in the SBIOS

Proverbs 12 in the SBIPS

Proverbs 12 in the SBISS

Proverbs 12 in the SBITS

Proverbs 12 in the SBITS2

Proverbs 12 in the SBITS3

Proverbs 12 in the SBITS4

Proverbs 12 in the SBIUS

Proverbs 12 in the SBIVS

Proverbs 12 in the SBT

Proverbs 12 in the SBT1E

Proverbs 12 in the SCHL

Proverbs 12 in the SNT

Proverbs 12 in the SUSU

Proverbs 12 in the SUSU2

Proverbs 12 in the SYNO

Proverbs 12 in the TBIAOTANT

Proverbs 12 in the TBT1E

Proverbs 12 in the TBT1E2

Proverbs 12 in the TFTIP

Proverbs 12 in the TFTU

Proverbs 12 in the TGNTATF3T

Proverbs 12 in the THAI

Proverbs 12 in the TNFD

Proverbs 12 in the TNT

Proverbs 12 in the TNTIK

Proverbs 12 in the TNTIL

Proverbs 12 in the TNTIN

Proverbs 12 in the TNTIP

Proverbs 12 in the TNTIZ

Proverbs 12 in the TOMA

Proverbs 12 in the TTENT

Proverbs 12 in the UBG

Proverbs 12 in the UGV

Proverbs 12 in the UGV2

Proverbs 12 in the UGV3

Proverbs 12 in the VBL

Proverbs 12 in the VDCC

Proverbs 12 in the YALU

Proverbs 12 in the YAPE

Proverbs 12 in the YBVTP

Proverbs 12 in the ZBP