Proverbs 27 (BOLCB)
1 Teweenyumirizanga mu bya nkya,kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi. 2 Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,omuntu omulala so si mimwa gyo. 3 Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa. 4 Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya? 5 Okunenya mu lwatu,kisinga okwagala okukisibbwa. 6 Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa. 7 Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera. 8 Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge. 9 Ebyakaloosa bisanyusa omutima,n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima. 10 Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala. 11 Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera. 12 Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi. 13 Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye. 14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,obanga amukolimidde. 15 Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,ku lunaku olw’enkuba ennyingi. 16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo obang’anyweza omuzigo mu ngalo. 17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,n’omuntu bw’abangula muntu munne. 18 Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa. 19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana. 20 Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta. 21 Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa. 22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,obusirusiru bwe tobumuggyaamu. 23 Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,ossangayo omwoyo ku ggana lyo. 24 Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,n’engule tebeerera mirembe gyonna. 25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa, 26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi. 27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,n’okuliisa abaweereza bo abawala.
In Other Versions
Proverbs 27 in the ANGEFD
Proverbs 27 in the ANTPNG2D
Proverbs 27 in the AS21
Proverbs 27 in the BAGH
Proverbs 27 in the BBPNG
Proverbs 27 in the BBT1E
Proverbs 27 in the BDS
Proverbs 27 in the BEV
Proverbs 27 in the BHAD
Proverbs 27 in the BIB
Proverbs 27 in the BLPT
Proverbs 27 in the BNT
Proverbs 27 in the BNTABOOT
Proverbs 27 in the BNTLV
Proverbs 27 in the BOATCB
Proverbs 27 in the BOATCB2
Proverbs 27 in the BOBCV
Proverbs 27 in the BOCNT
Proverbs 27 in the BOECS
Proverbs 27 in the BOGWICC
Proverbs 27 in the BOHCB
Proverbs 27 in the BOHCV
Proverbs 27 in the BOHLNT
Proverbs 27 in the BOHNTLTAL
Proverbs 27 in the BOICB
Proverbs 27 in the BOILNTAP
Proverbs 27 in the BOITCV
Proverbs 27 in the BOKCV
Proverbs 27 in the BOKCV2
Proverbs 27 in the BOKHWOG
Proverbs 27 in the BOKSSV
Proverbs 27 in the BOLCB2
Proverbs 27 in the BOMCV
Proverbs 27 in the BONAV
Proverbs 27 in the BONCB
Proverbs 27 in the BONLT
Proverbs 27 in the BONUT2
Proverbs 27 in the BOPLNT
Proverbs 27 in the BOSCB
Proverbs 27 in the BOSNC
Proverbs 27 in the BOTLNT
Proverbs 27 in the BOVCB
Proverbs 27 in the BOYCB
Proverbs 27 in the BPBB
Proverbs 27 in the BPH
Proverbs 27 in the BSB
Proverbs 27 in the CCB
Proverbs 27 in the CUV
Proverbs 27 in the CUVS
Proverbs 27 in the DBT
Proverbs 27 in the DGDNT
Proverbs 27 in the DHNT
Proverbs 27 in the DNT
Proverbs 27 in the ELBE
Proverbs 27 in the EMTV
Proverbs 27 in the ESV
Proverbs 27 in the FBV
Proverbs 27 in the FEB
Proverbs 27 in the GGMNT
Proverbs 27 in the GNT
Proverbs 27 in the HARY
Proverbs 27 in the HNT
Proverbs 27 in the IRVA
Proverbs 27 in the IRVB
Proverbs 27 in the IRVG
Proverbs 27 in the IRVH
Proverbs 27 in the IRVK
Proverbs 27 in the IRVM
Proverbs 27 in the IRVM2
Proverbs 27 in the IRVO
Proverbs 27 in the IRVP
Proverbs 27 in the IRVT
Proverbs 27 in the IRVT2
Proverbs 27 in the IRVU
Proverbs 27 in the ISVN
Proverbs 27 in the JSNT
Proverbs 27 in the KAPI
Proverbs 27 in the KBT1ETNIK
Proverbs 27 in the KBV
Proverbs 27 in the KJV
Proverbs 27 in the KNFD
Proverbs 27 in the LBA
Proverbs 27 in the LBLA
Proverbs 27 in the LNT
Proverbs 27 in the LSV
Proverbs 27 in the MAAL
Proverbs 27 in the MBV
Proverbs 27 in the MBV2
Proverbs 27 in the MHNT
Proverbs 27 in the MKNFD
Proverbs 27 in the MNG
Proverbs 27 in the MNT
Proverbs 27 in the MNT2
Proverbs 27 in the MRS1T
Proverbs 27 in the NAA
Proverbs 27 in the NASB
Proverbs 27 in the NBLA
Proverbs 27 in the NBS
Proverbs 27 in the NBVTP
Proverbs 27 in the NET2
Proverbs 27 in the NIV11
Proverbs 27 in the NNT
Proverbs 27 in the NNT2
Proverbs 27 in the NNT3
Proverbs 27 in the PDDPT
Proverbs 27 in the PFNT
Proverbs 27 in the RMNT
Proverbs 27 in the SBIAS
Proverbs 27 in the SBIBS
Proverbs 27 in the SBIBS2
Proverbs 27 in the SBICS
Proverbs 27 in the SBIDS
Proverbs 27 in the SBIGS
Proverbs 27 in the SBIHS
Proverbs 27 in the SBIIS
Proverbs 27 in the SBIIS2
Proverbs 27 in the SBIIS3
Proverbs 27 in the SBIKS
Proverbs 27 in the SBIKS2
Proverbs 27 in the SBIMS
Proverbs 27 in the SBIOS
Proverbs 27 in the SBIPS
Proverbs 27 in the SBISS
Proverbs 27 in the SBITS
Proverbs 27 in the SBITS2
Proverbs 27 in the SBITS3
Proverbs 27 in the SBITS4
Proverbs 27 in the SBIUS
Proverbs 27 in the SBIVS
Proverbs 27 in the SBT
Proverbs 27 in the SBT1E
Proverbs 27 in the SCHL
Proverbs 27 in the SNT
Proverbs 27 in the SUSU
Proverbs 27 in the SUSU2
Proverbs 27 in the SYNO
Proverbs 27 in the TBIAOTANT
Proverbs 27 in the TBT1E
Proverbs 27 in the TBT1E2
Proverbs 27 in the TFTIP
Proverbs 27 in the TFTU
Proverbs 27 in the TGNTATF3T
Proverbs 27 in the THAI
Proverbs 27 in the TNFD
Proverbs 27 in the TNT
Proverbs 27 in the TNTIK
Proverbs 27 in the TNTIL
Proverbs 27 in the TNTIN
Proverbs 27 in the TNTIP
Proverbs 27 in the TNTIZ
Proverbs 27 in the TOMA
Proverbs 27 in the TTENT
Proverbs 27 in the UBG
Proverbs 27 in the UGV
Proverbs 27 in the UGV2
Proverbs 27 in the UGV3
Proverbs 27 in the VBL
Proverbs 27 in the VDCC
Proverbs 27 in the YALU
Proverbs 27 in the YAPE
Proverbs 27 in the YBVTP
Proverbs 27 in the ZBP