Psalms 128 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Balina omukisa abatya Katonda;era abatambulira mu makubo ge. 2 Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi. 3 Mu nnyumba yo,mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuninga beetoolodde emmeeza yo. 4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisaomuntu atya MUKAMA. 5 MUKAMA akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungiennaku zonna ez’obulamu bwo. 6 Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.