Psalms 150 (BOLCB)
1 Mutendereze MUKAMA! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi. 2 Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde. 3 Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere. 4 Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere! 5 Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo! 6 Buli ekissa omukka kitenderezenga MUKAMA! Mutendereze MUKAMA.