Psalms 23 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Dawudi. 1 MUKAMA ye Musumba wange, seetaagenga. 2 Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.Antwala awali amazzi amateefu. 3 Akomyawo emmeeme yange.Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivuolw’erinnya lye. 4 Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;kubanga ggwe oli nange.Oluga lwo n’omuggo gwobye binsanyusa. 5 Onsosootolera emmereabalabe bange nga balaba;onsiize amafuta ku mutwe,ekikompe kyange kiyiwa. 6 Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nangeennaku zonna ez’obulamu bwange;nange nnaabeeranga mu nnyumba ya MUKAMA,ennaku zonna.