Psalms 98 (BOLCB)
undefined Zabbuli. 1 Muyimbire MUKAMA oluyimba oluggya,kubanga akoze eby’ekitalo.Omukono gwe ogwa ddyo,era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi. 2 MUKAMA ayolesezza obulokozi bwe,era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe. 3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoman’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.Enkomerero z’ensi yonna zirabyeobulokozi bwa Katonda waffe. 4 Muyimbire MUKAMA n’essanyu lingi mwe ensi yonna;muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu. 5 Mutendereze MUKAMA n’ennanga ez’enkoba;n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba, 6 n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.Muyimbe n’essanyu mu maaso ga MUKAMA era Kabaka. 7 Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze. 8 Emigga gikube mu ngalon’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu; 9 byonna biyimbe mu maaso ga MUKAMA,kubanga ajja okulamula ensi.Aliramula ensi mu butuukirivu;aliramula amawanga mu bwenkanya.