Revelation 20 (BOLCB)

1 Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe. 2 N’akwata ogusota guli ogw’edda, ye Setaani, n’agusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, 3 n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono. 4 Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. 5 Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka. 6 Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi. 7 Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 8 Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 9 Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. 10 Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe. 11 Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 12 Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 13 Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 14 Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 15 Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.

In Other Versions

Revelation 20 in the ANGEFD

Revelation 20 in the ANTPNG2D

Revelation 20 in the AS21

Revelation 20 in the BAGH

Revelation 20 in the BBPNG

Revelation 20 in the BBT1E

Revelation 20 in the BDS

Revelation 20 in the BEV

Revelation 20 in the BHAD

Revelation 20 in the BIB

Revelation 20 in the BLPT

Revelation 20 in the BNT

Revelation 20 in the BNTABOOT

Revelation 20 in the BNTLV

Revelation 20 in the BOATCB

Revelation 20 in the BOATCB2

Revelation 20 in the BOBCV

Revelation 20 in the BOCNT

Revelation 20 in the BOECS

Revelation 20 in the BOGWICC

Revelation 20 in the BOHCB

Revelation 20 in the BOHCV

Revelation 20 in the BOHLNT

Revelation 20 in the BOHNTLTAL

Revelation 20 in the BOICB

Revelation 20 in the BOILNTAP

Revelation 20 in the BOITCV

Revelation 20 in the BOKCV

Revelation 20 in the BOKCV2

Revelation 20 in the BOKHWOG

Revelation 20 in the BOKSSV

Revelation 20 in the BOLCB2

Revelation 20 in the BOMCV

Revelation 20 in the BONAV

Revelation 20 in the BONCB

Revelation 20 in the BONLT

Revelation 20 in the BONUT2

Revelation 20 in the BOPLNT

Revelation 20 in the BOSCB

Revelation 20 in the BOSNC

Revelation 20 in the BOTLNT

Revelation 20 in the BOVCB

Revelation 20 in the BOYCB

Revelation 20 in the BPBB

Revelation 20 in the BPH

Revelation 20 in the BSB

Revelation 20 in the CCB

Revelation 20 in the CUV

Revelation 20 in the CUVS

Revelation 20 in the DBT

Revelation 20 in the DGDNT

Revelation 20 in the DHNT

Revelation 20 in the DNT

Revelation 20 in the ELBE

Revelation 20 in the EMTV

Revelation 20 in the ESV

Revelation 20 in the FBV

Revelation 20 in the FEB

Revelation 20 in the GGMNT

Revelation 20 in the GNT

Revelation 20 in the HARY

Revelation 20 in the HNT

Revelation 20 in the IRVA

Revelation 20 in the IRVB

Revelation 20 in the IRVG

Revelation 20 in the IRVH

Revelation 20 in the IRVK

Revelation 20 in the IRVM

Revelation 20 in the IRVM2

Revelation 20 in the IRVO

Revelation 20 in the IRVP

Revelation 20 in the IRVT

Revelation 20 in the IRVT2

Revelation 20 in the IRVU

Revelation 20 in the ISVN

Revelation 20 in the JSNT

Revelation 20 in the KAPI

Revelation 20 in the KBT1ETNIK

Revelation 20 in the KBV

Revelation 20 in the KJV

Revelation 20 in the KNFD

Revelation 20 in the LBA

Revelation 20 in the LBLA

Revelation 20 in the LNT

Revelation 20 in the LSV

Revelation 20 in the MAAL

Revelation 20 in the MBV

Revelation 20 in the MBV2

Revelation 20 in the MHNT

Revelation 20 in the MKNFD

Revelation 20 in the MNG

Revelation 20 in the MNT

Revelation 20 in the MNT2

Revelation 20 in the MRS1T

Revelation 20 in the NAA

Revelation 20 in the NASB

Revelation 20 in the NBLA

Revelation 20 in the NBS

Revelation 20 in the NBVTP

Revelation 20 in the NET2

Revelation 20 in the NIV11

Revelation 20 in the NNT

Revelation 20 in the NNT2

Revelation 20 in the NNT3

Revelation 20 in the PDDPT

Revelation 20 in the PFNT

Revelation 20 in the RMNT

Revelation 20 in the SBIAS

Revelation 20 in the SBIBS

Revelation 20 in the SBIBS2

Revelation 20 in the SBICS

Revelation 20 in the SBIDS

Revelation 20 in the SBIGS

Revelation 20 in the SBIHS

Revelation 20 in the SBIIS

Revelation 20 in the SBIIS2

Revelation 20 in the SBIIS3

Revelation 20 in the SBIKS

Revelation 20 in the SBIKS2

Revelation 20 in the SBIMS

Revelation 20 in the SBIOS

Revelation 20 in the SBIPS

Revelation 20 in the SBISS

Revelation 20 in the SBITS

Revelation 20 in the SBITS2

Revelation 20 in the SBITS3

Revelation 20 in the SBITS4

Revelation 20 in the SBIUS

Revelation 20 in the SBIVS

Revelation 20 in the SBT

Revelation 20 in the SBT1E

Revelation 20 in the SCHL

Revelation 20 in the SNT

Revelation 20 in the SUSU

Revelation 20 in the SUSU2

Revelation 20 in the SYNO

Revelation 20 in the TBIAOTANT

Revelation 20 in the TBT1E

Revelation 20 in the TBT1E2

Revelation 20 in the TFTIP

Revelation 20 in the TFTU

Revelation 20 in the TGNTATF3T

Revelation 20 in the THAI

Revelation 20 in the TNFD

Revelation 20 in the TNT

Revelation 20 in the TNTIK

Revelation 20 in the TNTIL

Revelation 20 in the TNTIN

Revelation 20 in the TNTIP

Revelation 20 in the TNTIZ

Revelation 20 in the TOMA

Revelation 20 in the TTENT

Revelation 20 in the UBG

Revelation 20 in the UGV

Revelation 20 in the UGV2

Revelation 20 in the UGV3

Revelation 20 in the VBL

Revelation 20 in the VDCC

Revelation 20 in the YALU

Revelation 20 in the YAPE

Revelation 20 in the YBVTP

Revelation 20 in the ZBP