1 Chronicles 11 (BOLCB)

1 Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. 2 Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era MUKAMA Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” 3 Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga MUKAMA, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga MUKAMA bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri. 4 Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu. 5 Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi. 6 Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo. 7 Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi. 8 N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga. 9 Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga MUKAMA ow’Eggye yali wamu naye. 10 Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya MUKAMA kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali; 11 Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu. 12 Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu. 13 Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti. 14 Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga MUKAMA y’abawadde obuwanguzi. 15 Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 16 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu. 17 Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.” 18 Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri MUKAMA. 19 N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa.Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo. 20 Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu. 21 Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu. 22 Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma. 23 Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa. 24 Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi. 25 Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be. 26 Abasajja abazira ab’eggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu,ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu, 27 ne Sammosi Omukalooli,ne Kerezi Omuperoni; 28 ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,ne Abiyezeeri Omwanasosi, 29 ne Sibbekayi Omukusasi,ne Irayi Omwakowa, 30 ne Makalayi Omunetofa,ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa, 31 ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini,ne Benaya Omupirasoni, 32 ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,ne Abiyeeri Omwalubasi, 33 ne Azumavesi Omubakalumi,ne Eriyaba Omusaaluboni, 34 batabani ba Kasamu Omugizoni,ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali; 35 ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,ne Erifali mutabani wa Uli, 36 ne Keferi Omumekera,ne Akiya Omuperoni, 37 ne Kezulo Omukalumeeri,ne Naalayi mutabani wa Ezubayi, 38 ne Yoweeri muganda wa Nasani,ne Mibukali mutabani wa Kaguli; 39 ne Zereki Omwamoni,ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, 40 ne Ira Omuyisuli,ne Galebu Omuyisuli, 41 ne Uliya Omukiiti,ne Zabadi mutabani wa Akulayi, 42 ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye, 43 ne Kanani mutabani wa Maaka,ne Yosafaati Omumisuni, 44 ne Uzziya Omwasutaloosi,ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri, 45 ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi, 46 ne Eryeri Omumakavi,ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu, 47 ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.

In Other Versions

1 Chronicles 11 in the ANGEFD

1 Chronicles 11 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 11 in the AS21

1 Chronicles 11 in the BAGH

1 Chronicles 11 in the BBPNG

1 Chronicles 11 in the BBT1E

1 Chronicles 11 in the BDS

1 Chronicles 11 in the BEV

1 Chronicles 11 in the BHAD

1 Chronicles 11 in the BIB

1 Chronicles 11 in the BLPT

1 Chronicles 11 in the BNT

1 Chronicles 11 in the BNTABOOT

1 Chronicles 11 in the BNTLV

1 Chronicles 11 in the BOATCB

1 Chronicles 11 in the BOATCB2

1 Chronicles 11 in the BOBCV

1 Chronicles 11 in the BOCNT

1 Chronicles 11 in the BOECS

1 Chronicles 11 in the BOGWICC

1 Chronicles 11 in the BOHCB

1 Chronicles 11 in the BOHCV

1 Chronicles 11 in the BOHLNT

1 Chronicles 11 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 11 in the BOICB

1 Chronicles 11 in the BOILNTAP

1 Chronicles 11 in the BOITCV

1 Chronicles 11 in the BOKCV

1 Chronicles 11 in the BOKCV2

1 Chronicles 11 in the BOKHWOG

1 Chronicles 11 in the BOKSSV

1 Chronicles 11 in the BOLCB2

1 Chronicles 11 in the BOMCV

1 Chronicles 11 in the BONAV

1 Chronicles 11 in the BONCB

1 Chronicles 11 in the BONLT

1 Chronicles 11 in the BONUT2

1 Chronicles 11 in the BOPLNT

1 Chronicles 11 in the BOSCB

1 Chronicles 11 in the BOSNC

1 Chronicles 11 in the BOTLNT

1 Chronicles 11 in the BOVCB

1 Chronicles 11 in the BOYCB

1 Chronicles 11 in the BPBB

1 Chronicles 11 in the BPH

1 Chronicles 11 in the BSB

1 Chronicles 11 in the CCB

1 Chronicles 11 in the CUV

1 Chronicles 11 in the CUVS

1 Chronicles 11 in the DBT

1 Chronicles 11 in the DGDNT

1 Chronicles 11 in the DHNT

1 Chronicles 11 in the DNT

1 Chronicles 11 in the ELBE

1 Chronicles 11 in the EMTV

1 Chronicles 11 in the ESV

1 Chronicles 11 in the FBV

1 Chronicles 11 in the FEB

1 Chronicles 11 in the GGMNT

1 Chronicles 11 in the GNT

1 Chronicles 11 in the HARY

1 Chronicles 11 in the HNT

1 Chronicles 11 in the IRVA

1 Chronicles 11 in the IRVB

1 Chronicles 11 in the IRVG

1 Chronicles 11 in the IRVH

1 Chronicles 11 in the IRVK

1 Chronicles 11 in the IRVM

1 Chronicles 11 in the IRVM2

1 Chronicles 11 in the IRVO

1 Chronicles 11 in the IRVP

1 Chronicles 11 in the IRVT

1 Chronicles 11 in the IRVT2

1 Chronicles 11 in the IRVU

1 Chronicles 11 in the ISVN

1 Chronicles 11 in the JSNT

1 Chronicles 11 in the KAPI

1 Chronicles 11 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 11 in the KBV

1 Chronicles 11 in the KJV

1 Chronicles 11 in the KNFD

1 Chronicles 11 in the LBA

1 Chronicles 11 in the LBLA

1 Chronicles 11 in the LNT

1 Chronicles 11 in the LSV

1 Chronicles 11 in the MAAL

1 Chronicles 11 in the MBV

1 Chronicles 11 in the MBV2

1 Chronicles 11 in the MHNT

1 Chronicles 11 in the MKNFD

1 Chronicles 11 in the MNG

1 Chronicles 11 in the MNT

1 Chronicles 11 in the MNT2

1 Chronicles 11 in the MRS1T

1 Chronicles 11 in the NAA

1 Chronicles 11 in the NASB

1 Chronicles 11 in the NBLA

1 Chronicles 11 in the NBS

1 Chronicles 11 in the NBVTP

1 Chronicles 11 in the NET2

1 Chronicles 11 in the NIV11

1 Chronicles 11 in the NNT

1 Chronicles 11 in the NNT2

1 Chronicles 11 in the NNT3

1 Chronicles 11 in the PDDPT

1 Chronicles 11 in the PFNT

1 Chronicles 11 in the RMNT

1 Chronicles 11 in the SBIAS

1 Chronicles 11 in the SBIBS

1 Chronicles 11 in the SBIBS2

1 Chronicles 11 in the SBICS

1 Chronicles 11 in the SBIDS

1 Chronicles 11 in the SBIGS

1 Chronicles 11 in the SBIHS

1 Chronicles 11 in the SBIIS

1 Chronicles 11 in the SBIIS2

1 Chronicles 11 in the SBIIS3

1 Chronicles 11 in the SBIKS

1 Chronicles 11 in the SBIKS2

1 Chronicles 11 in the SBIMS

1 Chronicles 11 in the SBIOS

1 Chronicles 11 in the SBIPS

1 Chronicles 11 in the SBISS

1 Chronicles 11 in the SBITS

1 Chronicles 11 in the SBITS2

1 Chronicles 11 in the SBITS3

1 Chronicles 11 in the SBITS4

1 Chronicles 11 in the SBIUS

1 Chronicles 11 in the SBIVS

1 Chronicles 11 in the SBT

1 Chronicles 11 in the SBT1E

1 Chronicles 11 in the SCHL

1 Chronicles 11 in the SNT

1 Chronicles 11 in the SUSU

1 Chronicles 11 in the SUSU2

1 Chronicles 11 in the SYNO

1 Chronicles 11 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 11 in the TBT1E

1 Chronicles 11 in the TBT1E2

1 Chronicles 11 in the TFTIP

1 Chronicles 11 in the TFTU

1 Chronicles 11 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 11 in the THAI

1 Chronicles 11 in the TNFD

1 Chronicles 11 in the TNT

1 Chronicles 11 in the TNTIK

1 Chronicles 11 in the TNTIL

1 Chronicles 11 in the TNTIN

1 Chronicles 11 in the TNTIP

1 Chronicles 11 in the TNTIZ

1 Chronicles 11 in the TOMA

1 Chronicles 11 in the TTENT

1 Chronicles 11 in the UBG

1 Chronicles 11 in the UGV

1 Chronicles 11 in the UGV2

1 Chronicles 11 in the UGV3

1 Chronicles 11 in the VBL

1 Chronicles 11 in the VDCC

1 Chronicles 11 in the YALU

1 Chronicles 11 in the YAPE

1 Chronicles 11 in the YBVTP

1 Chronicles 11 in the ZBP