1 Chronicles 15 (BOLCB)

1 Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. 2 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga MUKAMA be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.” 3 Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya MUKAMA mu kifo kyayo kye yali agitegekedde. 4 N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi: 5 ku bazzukulu ba Kokasi,Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri; 6 ku bazzukulu ba Merali,Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri; 7 ku bazzukulu ba Gerusomu,Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu; 8 ku bazzukulu ba Erizafani,Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri, 9 ku bazzukulu ba Kebbulooni,Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana; 10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri. 11 Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, 12 n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya MUKAMA Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. 13 Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka MUKAMA Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya MUKAMA, Katonda wa Isirayiri. 15 Abaleevi ne basitulira essanduuko ya MUKAMA ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali. 16 Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa. 17 Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; 18 ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, 19 ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; 20 ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; 21 naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. 22 Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo. 23 Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 24 Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 25 Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. 26 Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. 27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. 28 Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga. 29 Awo essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.

In Other Versions

1 Chronicles 15 in the ANGEFD

1 Chronicles 15 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 15 in the AS21

1 Chronicles 15 in the BAGH

1 Chronicles 15 in the BBPNG

1 Chronicles 15 in the BBT1E

1 Chronicles 15 in the BDS

1 Chronicles 15 in the BEV

1 Chronicles 15 in the BHAD

1 Chronicles 15 in the BIB

1 Chronicles 15 in the BLPT

1 Chronicles 15 in the BNT

1 Chronicles 15 in the BNTABOOT

1 Chronicles 15 in the BNTLV

1 Chronicles 15 in the BOATCB

1 Chronicles 15 in the BOATCB2

1 Chronicles 15 in the BOBCV

1 Chronicles 15 in the BOCNT

1 Chronicles 15 in the BOECS

1 Chronicles 15 in the BOGWICC

1 Chronicles 15 in the BOHCB

1 Chronicles 15 in the BOHCV

1 Chronicles 15 in the BOHLNT

1 Chronicles 15 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 15 in the BOICB

1 Chronicles 15 in the BOILNTAP

1 Chronicles 15 in the BOITCV

1 Chronicles 15 in the BOKCV

1 Chronicles 15 in the BOKCV2

1 Chronicles 15 in the BOKHWOG

1 Chronicles 15 in the BOKSSV

1 Chronicles 15 in the BOLCB2

1 Chronicles 15 in the BOMCV

1 Chronicles 15 in the BONAV

1 Chronicles 15 in the BONCB

1 Chronicles 15 in the BONLT

1 Chronicles 15 in the BONUT2

1 Chronicles 15 in the BOPLNT

1 Chronicles 15 in the BOSCB

1 Chronicles 15 in the BOSNC

1 Chronicles 15 in the BOTLNT

1 Chronicles 15 in the BOVCB

1 Chronicles 15 in the BOYCB

1 Chronicles 15 in the BPBB

1 Chronicles 15 in the BPH

1 Chronicles 15 in the BSB

1 Chronicles 15 in the CCB

1 Chronicles 15 in the CUV

1 Chronicles 15 in the CUVS

1 Chronicles 15 in the DBT

1 Chronicles 15 in the DGDNT

1 Chronicles 15 in the DHNT

1 Chronicles 15 in the DNT

1 Chronicles 15 in the ELBE

1 Chronicles 15 in the EMTV

1 Chronicles 15 in the ESV

1 Chronicles 15 in the FBV

1 Chronicles 15 in the FEB

1 Chronicles 15 in the GGMNT

1 Chronicles 15 in the GNT

1 Chronicles 15 in the HARY

1 Chronicles 15 in the HNT

1 Chronicles 15 in the IRVA

1 Chronicles 15 in the IRVB

1 Chronicles 15 in the IRVG

1 Chronicles 15 in the IRVH

1 Chronicles 15 in the IRVK

1 Chronicles 15 in the IRVM

1 Chronicles 15 in the IRVM2

1 Chronicles 15 in the IRVO

1 Chronicles 15 in the IRVP

1 Chronicles 15 in the IRVT

1 Chronicles 15 in the IRVT2

1 Chronicles 15 in the IRVU

1 Chronicles 15 in the ISVN

1 Chronicles 15 in the JSNT

1 Chronicles 15 in the KAPI

1 Chronicles 15 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 15 in the KBV

1 Chronicles 15 in the KJV

1 Chronicles 15 in the KNFD

1 Chronicles 15 in the LBA

1 Chronicles 15 in the LBLA

1 Chronicles 15 in the LNT

1 Chronicles 15 in the LSV

1 Chronicles 15 in the MAAL

1 Chronicles 15 in the MBV

1 Chronicles 15 in the MBV2

1 Chronicles 15 in the MHNT

1 Chronicles 15 in the MKNFD

1 Chronicles 15 in the MNG

1 Chronicles 15 in the MNT

1 Chronicles 15 in the MNT2

1 Chronicles 15 in the MRS1T

1 Chronicles 15 in the NAA

1 Chronicles 15 in the NASB

1 Chronicles 15 in the NBLA

1 Chronicles 15 in the NBS

1 Chronicles 15 in the NBVTP

1 Chronicles 15 in the NET2

1 Chronicles 15 in the NIV11

1 Chronicles 15 in the NNT

1 Chronicles 15 in the NNT2

1 Chronicles 15 in the NNT3

1 Chronicles 15 in the PDDPT

1 Chronicles 15 in the PFNT

1 Chronicles 15 in the RMNT

1 Chronicles 15 in the SBIAS

1 Chronicles 15 in the SBIBS

1 Chronicles 15 in the SBIBS2

1 Chronicles 15 in the SBICS

1 Chronicles 15 in the SBIDS

1 Chronicles 15 in the SBIGS

1 Chronicles 15 in the SBIHS

1 Chronicles 15 in the SBIIS

1 Chronicles 15 in the SBIIS2

1 Chronicles 15 in the SBIIS3

1 Chronicles 15 in the SBIKS

1 Chronicles 15 in the SBIKS2

1 Chronicles 15 in the SBIMS

1 Chronicles 15 in the SBIOS

1 Chronicles 15 in the SBIPS

1 Chronicles 15 in the SBISS

1 Chronicles 15 in the SBITS

1 Chronicles 15 in the SBITS2

1 Chronicles 15 in the SBITS3

1 Chronicles 15 in the SBITS4

1 Chronicles 15 in the SBIUS

1 Chronicles 15 in the SBIVS

1 Chronicles 15 in the SBT

1 Chronicles 15 in the SBT1E

1 Chronicles 15 in the SCHL

1 Chronicles 15 in the SNT

1 Chronicles 15 in the SUSU

1 Chronicles 15 in the SUSU2

1 Chronicles 15 in the SYNO

1 Chronicles 15 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 15 in the TBT1E

1 Chronicles 15 in the TBT1E2

1 Chronicles 15 in the TFTIP

1 Chronicles 15 in the TFTU

1 Chronicles 15 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 15 in the THAI

1 Chronicles 15 in the TNFD

1 Chronicles 15 in the TNT

1 Chronicles 15 in the TNTIK

1 Chronicles 15 in the TNTIL

1 Chronicles 15 in the TNTIN

1 Chronicles 15 in the TNTIP

1 Chronicles 15 in the TNTIZ

1 Chronicles 15 in the TOMA

1 Chronicles 15 in the TTENT

1 Chronicles 15 in the UBG

1 Chronicles 15 in the UGV

1 Chronicles 15 in the UGV2

1 Chronicles 15 in the UGV3

1 Chronicles 15 in the VBL

1 Chronicles 15 in the VDCC

1 Chronicles 15 in the YALU

1 Chronicles 15 in the YAPE

1 Chronicles 15 in the YBVTP

1 Chronicles 15 in the ZBP