1 Chronicles 28 (BOLCB)

1 Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira. 2 Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. 3 Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’ 4 “Naye ate MUKAMA Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. 5 Mu batabani bange bonna, kubanga MUKAMA ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa MUKAMA mu Isirayiri. 6 Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. 7 Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’ 8 “Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya MUKAMA, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya MUKAMA Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna. 9 “Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga MUKAMA akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna. 10 Kaakano weekuume, kubanga MUKAMA akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.” 11 Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira. 12 Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya MUKAMA, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya MUKAMA, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe. 13 Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya MUKAMA, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya MUKAMA. 14 Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi; 15 n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo; 16 n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza; 17 n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza; 18 n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya MUKAMA. 19 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa MUKAMA gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.” 20 Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga MUKAMA Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye MUKAMA nga guwedde. 21 Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”

In Other Versions

1 Chronicles 28 in the ANGEFD

1 Chronicles 28 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 28 in the AS21

1 Chronicles 28 in the BAGH

1 Chronicles 28 in the BBPNG

1 Chronicles 28 in the BBT1E

1 Chronicles 28 in the BDS

1 Chronicles 28 in the BEV

1 Chronicles 28 in the BHAD

1 Chronicles 28 in the BIB

1 Chronicles 28 in the BLPT

1 Chronicles 28 in the BNT

1 Chronicles 28 in the BNTABOOT

1 Chronicles 28 in the BNTLV

1 Chronicles 28 in the BOATCB

1 Chronicles 28 in the BOATCB2

1 Chronicles 28 in the BOBCV

1 Chronicles 28 in the BOCNT

1 Chronicles 28 in the BOECS

1 Chronicles 28 in the BOGWICC

1 Chronicles 28 in the BOHCB

1 Chronicles 28 in the BOHCV

1 Chronicles 28 in the BOHLNT

1 Chronicles 28 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 28 in the BOICB

1 Chronicles 28 in the BOILNTAP

1 Chronicles 28 in the BOITCV

1 Chronicles 28 in the BOKCV

1 Chronicles 28 in the BOKCV2

1 Chronicles 28 in the BOKHWOG

1 Chronicles 28 in the BOKSSV

1 Chronicles 28 in the BOLCB2

1 Chronicles 28 in the BOMCV

1 Chronicles 28 in the BONAV

1 Chronicles 28 in the BONCB

1 Chronicles 28 in the BONLT

1 Chronicles 28 in the BONUT2

1 Chronicles 28 in the BOPLNT

1 Chronicles 28 in the BOSCB

1 Chronicles 28 in the BOSNC

1 Chronicles 28 in the BOTLNT

1 Chronicles 28 in the BOVCB

1 Chronicles 28 in the BOYCB

1 Chronicles 28 in the BPBB

1 Chronicles 28 in the BPH

1 Chronicles 28 in the BSB

1 Chronicles 28 in the CCB

1 Chronicles 28 in the CUV

1 Chronicles 28 in the CUVS

1 Chronicles 28 in the DBT

1 Chronicles 28 in the DGDNT

1 Chronicles 28 in the DHNT

1 Chronicles 28 in the DNT

1 Chronicles 28 in the ELBE

1 Chronicles 28 in the EMTV

1 Chronicles 28 in the ESV

1 Chronicles 28 in the FBV

1 Chronicles 28 in the FEB

1 Chronicles 28 in the GGMNT

1 Chronicles 28 in the GNT

1 Chronicles 28 in the HARY

1 Chronicles 28 in the HNT

1 Chronicles 28 in the IRVA

1 Chronicles 28 in the IRVB

1 Chronicles 28 in the IRVG

1 Chronicles 28 in the IRVH

1 Chronicles 28 in the IRVK

1 Chronicles 28 in the IRVM

1 Chronicles 28 in the IRVM2

1 Chronicles 28 in the IRVO

1 Chronicles 28 in the IRVP

1 Chronicles 28 in the IRVT

1 Chronicles 28 in the IRVT2

1 Chronicles 28 in the IRVU

1 Chronicles 28 in the ISVN

1 Chronicles 28 in the JSNT

1 Chronicles 28 in the KAPI

1 Chronicles 28 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 28 in the KBV

1 Chronicles 28 in the KJV

1 Chronicles 28 in the KNFD

1 Chronicles 28 in the LBA

1 Chronicles 28 in the LBLA

1 Chronicles 28 in the LNT

1 Chronicles 28 in the LSV

1 Chronicles 28 in the MAAL

1 Chronicles 28 in the MBV

1 Chronicles 28 in the MBV2

1 Chronicles 28 in the MHNT

1 Chronicles 28 in the MKNFD

1 Chronicles 28 in the MNG

1 Chronicles 28 in the MNT

1 Chronicles 28 in the MNT2

1 Chronicles 28 in the MRS1T

1 Chronicles 28 in the NAA

1 Chronicles 28 in the NASB

1 Chronicles 28 in the NBLA

1 Chronicles 28 in the NBS

1 Chronicles 28 in the NBVTP

1 Chronicles 28 in the NET2

1 Chronicles 28 in the NIV11

1 Chronicles 28 in the NNT

1 Chronicles 28 in the NNT2

1 Chronicles 28 in the NNT3

1 Chronicles 28 in the PDDPT

1 Chronicles 28 in the PFNT

1 Chronicles 28 in the RMNT

1 Chronicles 28 in the SBIAS

1 Chronicles 28 in the SBIBS

1 Chronicles 28 in the SBIBS2

1 Chronicles 28 in the SBICS

1 Chronicles 28 in the SBIDS

1 Chronicles 28 in the SBIGS

1 Chronicles 28 in the SBIHS

1 Chronicles 28 in the SBIIS

1 Chronicles 28 in the SBIIS2

1 Chronicles 28 in the SBIIS3

1 Chronicles 28 in the SBIKS

1 Chronicles 28 in the SBIKS2

1 Chronicles 28 in the SBIMS

1 Chronicles 28 in the SBIOS

1 Chronicles 28 in the SBIPS

1 Chronicles 28 in the SBISS

1 Chronicles 28 in the SBITS

1 Chronicles 28 in the SBITS2

1 Chronicles 28 in the SBITS3

1 Chronicles 28 in the SBITS4

1 Chronicles 28 in the SBIUS

1 Chronicles 28 in the SBIVS

1 Chronicles 28 in the SBT

1 Chronicles 28 in the SBT1E

1 Chronicles 28 in the SCHL

1 Chronicles 28 in the SNT

1 Chronicles 28 in the SUSU

1 Chronicles 28 in the SUSU2

1 Chronicles 28 in the SYNO

1 Chronicles 28 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 28 in the TBT1E

1 Chronicles 28 in the TBT1E2

1 Chronicles 28 in the TFTIP

1 Chronicles 28 in the TFTU

1 Chronicles 28 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 28 in the THAI

1 Chronicles 28 in the TNFD

1 Chronicles 28 in the TNT

1 Chronicles 28 in the TNTIK

1 Chronicles 28 in the TNTIL

1 Chronicles 28 in the TNTIN

1 Chronicles 28 in the TNTIP

1 Chronicles 28 in the TNTIZ

1 Chronicles 28 in the TOMA

1 Chronicles 28 in the TTENT

1 Chronicles 28 in the UBG

1 Chronicles 28 in the UGV

1 Chronicles 28 in the UGV2

1 Chronicles 28 in the UGV3

1 Chronicles 28 in the VBL

1 Chronicles 28 in the VDCC

1 Chronicles 28 in the YALU

1 Chronicles 28 in the YAPE

1 Chronicles 28 in the YBVTP

1 Chronicles 28 in the ZBP